TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Laba engeri Sawuna ne Masaagi gye biwambyeemu ebikolebwa mu kisenge

Laba engeri Sawuna ne Masaagi gye biwambyeemu ebikolebwa mu kisenge

Added 2nd February 2016

Laba engeri Sawuna ne Masaagi gye biwambyeemu ebikolebwa mu kisenge

 Abasajja n’abakazi nga beesibye obusuuka mu sawuna.

Abasajja n’abakazi nga beesibye obusuuka mu sawuna.

BW’OBA obadde okuba muganzi wo omugongo ng’olowooza nti omuwa kibonerezo, ddamu wefumiitirize kuba wandiba ng’omusindika kunoonya ssanyu walala.

Obadde okimanyi nti Sawuna ne Masaagi ennaku zino zongedde okuwamba kumpi byonna ebikolebwa mu kisenge ky’abakulu ne ziteekamu n’ennyongeza!

Nange baasooka kunnyumiza okunyumirwa okubeera mu Sawuna ne Masaagi ne nsitukiramu nzuule ekituufu ng’omusajja. Nasookera mu masaagi gye nasasula 25,000/- naye kye nasooka okuzuula teweetaagayo wa kamiro kuba ku ssaawa 10.00 ez’olw’eggulo ze natuukirako mu kifo kino ekiri ku lw’e Ntebe, nnasanga olukalala luliko abantu mukaaga abaali balindiridde okugenda so nga bwe natunula we bawandiika nalinga wa 12.

Waaliwo abawala babiri abakola ku bakasitoma era oluwalo lwange nga lutuuse bansimba akasuuka ne ηηenda mu kinaabiro okunaabaako neggyeko ebbugumu.

OWA MASAAGI YALI BULINDAALA

Eyali agenda okunkolako masaagi nnamusanga anindiridde n’assaako akamwenyumwenyu n’ankulembera okwolekera akasenge gye nasanga ekitanda ekiringa bino eby’abalwadde b’e Mulago kwe basindikira abayi.

Kwali kwaliddwako essuuka nga mu kasenge mulimu ekitangaala ekyali ekitono ddala anti ettaala y’amasannyalaze ayalimu yali eyaka kimyufu. Omuwala eyali ayogera mu ddoboozi eseeneekerevu ng’alitaddemu okwekoza ng’ali mu mukwano n’ambuuza oba gwe gwali gusooka okukola masaagi.

Olwamubuulira nti gwe gwali gusooka n’aseka! Yampitiramu ku bye nalina okukola omwali n’okwesumulula akasuuka ke nali nneezingiridde okuva mu kiwato nga kakoma mu maviivi.

Engeri gye nali omupya mu nkola eno, munda nali nsigazzaamu akawale kuba empale y’oku ngulu n’essaati nali mbirese mu kasenge gye nasookera nga sinnanaabako.

Omuwala bwe yalaba nkyayambadde akawale ng’ansabye akasuuka nkamuwe kwe kumbuuza oba nalina ensonyi nga bw’asekereza! Nnalabira ddala ng’ampise w’e Bukomansimbi kyokka nga tatidde kwe kundagira nninnye akatanda atandike.

Mu kiseera kino nali mu kukuba bufaananyi nga nneebuuza ekiddako. OKUKUMALAMU ENSONYI Yasikayo akasuuka akalala nako akaali akampi ddala n’akansuulako nga kava mu kiwato okutuuka mu makkati g’ebisambi.

Yaηηamba nti engeri gye saalina nsonyi akawale kyandibadde kirungi nako ne nkambulamu ng’agamba nti lwe nja okunyumirwa masaagi. Yatandikira ku bigere ng’ansiimuula omubiri gwonna nga bw’ayambusa mu kiwato. Jjukira akawale nali nakaggyeemu dda.

Ensiimuula zaalinga ziino ne mpulira ng’omubiri gwonna gutabuse nga nange sikyetegeera. Nalabira ddala nga bw’ogeraageranya ne maama w’abaana (oba muyite Suzan) nga tuli mu kisenge, ddala baali bamufudde wa bigere. Mwanamuwala yansiimuulanga ambuuza engeri gye nali mpulira wamma ddala nzenna ne nzigwekerera.

Yakyuka n’adda ku mutwe, n’antakulako ne mu matu, n’asiimuula ku lubuto, omugongo era gye byaggweera nga nzenna njebye!Amangu ddala nga nzenna omutima gumpakunkana ng’ava okudduka mayiro 10, omuwala yantegeeza ng’ekitundu ekisooka kye nasasulidde bwe kiweddeko.

Nali nkyewuunaganya ekiddako omuwala kwe kuntegeeza nga bwe waliwo ‘Masaagi ey’enjawulo’. Okumanya nanyumirwa omuwala namugamba agende bugenzi mu maaso nga bugolo.

Omuwala oluvannyuma eyagamba nti ye Sarah yaddamu okunsiimuula kyokka ku mutendera guno yali ataddemu n’ebisoko olwo ate nga naye alinga asinda. Gye twamalira wamma ddala nga sikyalina kye njula ku bibeera mu kisenge kuba yasiimuula omubiri gwonna ne mmatira. Nga bulijjo, nga nkomyewo awaka, Suzan yeesogga obuliri nga yeekapise mu kawale akawanvu akamukutte era teyakyusaamu kuba era ku olwo yankuba mugongo.

Nze nno muli nali mmukongooza bigere! Rebecca naye eyagenda mu Masaagi yagamba nti abawala be basinga okubakolako wabula bwe weesabira omusajja naye awamu bamukuwa. Rebecca yagamba nti nabo babasiimuula era we baviirayo babeera batoowolokose omubiri. Rebecca lwe yasaba omusajja okumukolako yasaba omuwala asigalewo ng’abasuubizza okubawaayo akasente ak’enjawulo.

Agamba nti omusajja yamusiimuulanga omubiri nga bw’amuwaana nga bwe guweweera era gye byaggweera nga naye anyumiddwa. Rebecca agamba nti naye yalabawo enjawulo ku ngeri omusajja ono gye yamukwatamu ng’amugeraageranyizza ku bba era yasigala agendayo obw’olumu okufuna masaagi.

Sarah yahhamba nti olunaku akola ku basajja abali wakati w’abataano n’omusanvu. Buli musajja kimutwalira wakati w’eddakiika 45 n’essaawa okumukolako kyokka abakolwako mu ngeri ey’enjawulo bamwongerayo wakati wa 10,000/- ne 20,000/-. Mu bifo ebirala basasula ssente eziri wakati wa 50,000/- ne 70,000/-.Mu Sawuna tewabeera ba nsonyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...