
Mutesi n’omwana we.
ERIISO ly’omukulu, awaddugala we walaba. Nange nalemwa okuwuliriza ebigambo by’abazadde bange ne mpaala n’omulenzi naye kati nnejjusa! Nze Sumaya Mutesi nga nnina emyaka 18.
Omulenzi yannimba nga bw’anjagala ne nziruka ewaffe ne tutandika okubeera ffembi kyokka laavu gye namuwa yonna, ansasuddemu kunsiibya ku miggo n’okunnimisa olutatadde.
Nzaalibwa Bugerere mu disitulikiti y’e Kayunga.
Omulenzi eyampabya ye Daga, 19. Daga ye bamuzaala Busakira mu ggombolola y’e Busakira mu disitulikiti y’e Mayuge.
Nasomako okutuuka mu P6, nga wano abazadde we bahhambira okutandika okutunda amatooke, eby’okusoma ne mbivaako.
Daga okunkwana yansanga ntunda matooke n’ansuubiza okumpa essanyu.
Nga wayise ennaku nga twagalana, yanzigya ewaffe n’andeeta e Busoga gye ndabidde ennaku eterojjeka.
Yandeeta mu 2014 nga kati mbeera naye mu disitulikiti y’e Mayuge era nnaakamuzaalira omwana omu.
Nali ndowooza nti omuvubuka agenda kundabirira nga mmanyi alina omulimu. Kyokka kyambuukako kubanga okufuna ekyokulya, tumala kupakasa.
Tukeera mu nnimiro z’abantu ne tulima ng’eno batusasula ssente oluusi mmere.
Okumanya Daga muzibu, buli lunaku ankuba nga bw’annangira obutaba na mikisa gya ssente ng’agamba nti okuva lwe yanfuna taddangamu kufuna ssente nga bwe yazifunanga.
Nnejjusa ekyanzirusa ewaffe kubanga eka bansasulanga ssente z’okutunda amatooke naye eno sirina kye nfunayo okuleka okundirika emigobante buli kadde.
Ssente ze batusasula mu bupakasi zonna azezza. Embeera gye ndimu n’omwana wange kati ow’emyaka ebiri, mbi nga n’omwana oyinza okulowooza nti taweza mwaka.
Kati nnoonya ssente eziyinza okunnyambako nfune entambula nzireyo ewaffe kubanga obulamu bugaanyi.
Mu butuufu mboneredde, siriddamu kupaala na basajja!