TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu ebikuuma laavu mu maka ebisuuliriddwa

Ebintu ebikuuma laavu mu maka ebisuuliriddwa

Added 23rd February 2016

Mu kino waliwo ebintu by’ateekeddwa obutasuulirira kuba byongera ggiya mu mukwano n’obufumbo.

 Mary Nasejje ne bba Junior Serwadda nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe mu maka gaabwe e Mpereerwe.

Mary Nasejje ne bba Junior Serwadda nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe mu maka gaabwe e Mpereerwe.

Embeera z’abantu bwe zigenda zikyuka waliwo ebintu bye batandika okulaba obulala. Wano mu buwangwa bwaffe, omukazi avunaanyizibwa kinene mu kukuuma obufumbo nga butambula bulungi.

Mu kino waliwo ebintu by’ateekeddwa obutasuulirira kuba byongera ggiya mu mukwano n’obufumbo.

Wabula ensangi zino, ebintu bingi bwe bigenze bikyuka, n’abakazi abamu ne bakyusa mu nneeyisa.

Waliwo ebintu ebyakolebwanga abakyala abafumbo, wabula ng’ab’ennaku zino babitunuulira ng’ebyawansi era ebitakyali ku mulembe. Ekivuddemu ge maka okudobonkana n’oluusi okufiira ddala.

EBYAKUUMANGA OMUKWANO:

Okutegekera omwami.

Muky. Diana Ssempala ng’ono ye nnaabakyala w’e Mengo Triangle zooni agamba nti omulimu gw’okutegekera nnyinimu gwabanga gwa mukazi we.

“ Omukyala y’amanya bba ky’anaayambala, engoye y’alina okuzooza n’okuzigolola, obugoye obutono nga obutambaala, obuwale, sitookisi ne kalonda omulala ateekeddwa okubiyonja era n’abitereka.

Kuno nga kw’otadde n’engatto. Amazzi g’okunaaba nabwo bwabanga buvunaanyizibwa bwa mukazi okugategekera bba era ng’oluusi amukuutako ne mu mugongo.

Bwe yamalanga okunaaba ng’ebbaafu ne by’anaabisizza omukyala y’abiggya mu kinaabiro. Wabula ensangi zino osanga musajja wattu ng’agalangatana n’ebbaafu, mwana byangwe ne sabbuuni ava mu kinaabiro! Kino kyongera okussaawo omuwaatwa wakati w’abafumbo era n’omukwano ne guggwaawo.”

Okulabirira awaka:

Buvunaanyizibwa bwa mukyala okumanya nti awaka wateredde so ssi mwami kutuuka kwogera na mukozi ku by’awaka. Kino kyatwalirangamu omukyala okusooka awaka ng’omwami tannadda, n’asobola okutereezaawo, munne asobole okutuuka nga kiri mulaala.

Naye omusajja bw’akomawo awaka n’asanga nga buli kimu kidobonkanye ekivaamu kunyiiga na kuyomba, ebigobera ddala omukwano mu maka.

Ate Rose Nakirijja ow’e Bulenga agamba nti ekireese embeera eno gy’emyaka abawala gye bafunirako abasajja. Edda abawala baafumbirwanga bakyali bato ng’omusajja y’amulaga ekkubo, naye ensangi zino omuwala amanyidde okweggulira n’okweyingiza ne bw’afumbirwa asigala yeeyisa nga bw’abadde awatali kumukuba ku mukono.

Okufumba:

Omukyala yateekerateekeranga omwami we obwokulya ebwenjawulo ng’omwami w’awaka. Ne bwe yabanga amufumbira kacaayi kaabanga kanjawulo ku balala ababeera mu maka ago.

Bino byonna byayongeranga omusajja okwagala munne kuba amufaako era amutwala nga wanjawulo.

Wabula ennaku zino omukazi amalako omwezi nga tayingiddeeko mu ffumbiro kumanya bifaayo, kuba emmere emusanga ku mmeeza.

Eby’okuyiiya baabivaako anti bakeera mu bunyonyi ate ne bayingira na nsiri nga bava okunoonya lupiiya. Olwo aba anaayiiya ddi ?

Muky.Sarah

Lukwanzi akkaatiriza nti abakyala batadde amalala mu nsonga y’okutegekera abasajja ebyokulya ne batamanya nti buvunaanyizibwa bwa mukazi okutegekera bba ebyokulya ebimuzzaamu amaanyi g’ekisajja.

Oyinza okwebuuza lwaki abasajja edda baabanga n’abakazi bangi naye nga babamatiza, kyokka ku mulembe guno n’omukazi omu alema munne okumumatiza.

Emmere y’omuttaka nga balugu endaggu amayuuni ebisebe n’endala ng’eyo erimu eminnyo ntoko egiyamba omubiri okuba omulamu omulungi, era omusajja bw’agirya tasigala kye kimu.

Akagonja akolweggulo omukazi ke yayonkyanga bba ng’eno bw’afumbanga ekyeggulo kaalaganga omukwano era n’omusajja yamanyanga nti munne yeetegese okwesanyusa ekiro.

Abakazi era baafumbanga emmwaanyi ne baziwa babbaabwe nga bagamba nti emmwaanyi gy’ofumbidde awaka ebaamu akawoowo. Emmwaanyi erimu ekirungo ekizibukula emisuwa ensonga z’ekisenge ne zitambula bukwakku.

Obukupa obugerekere ku mmere nga bufumbiddwa n’ebikuta nayo yabanga mmere ezzaamu omusajja amaanyi.

Ebinyeebwa bye yamugabulanga ku caayi olutatadde, enva endiirwa ezitaabulanga ku lujjuliro, entungo abakazi gye baalimanga ne babbaabwe ne bagibaweerako n’ebirabo, byonna byayambanga omusajja okumalako mu kisenge.

Ekirala omusajja yaweebwanga ekitiibwa ekimusaanira mu maka naye muli n’awulira ng’aggumidde.

Okugeza emmere teyajjulwanga okutuusa nga nnyinimu atuuse. Nnyinimu nga gwe basooka okusenera enva era nga y’afuna ekinene.

Mu ngeri eno omusajja yabanga yeekakasa nti gwe mutwe omukulu mu maka. Kino kyamwongeranga amaanyi.

Ekisenge:

Muky. Lukwanzi agamba nti ekisenge gwalinga mulimu gwa mukyala omukulu ssaako n’okukuuma ekitiibwa ate ng’ebibeerayo babikisa abantu abalala.

Wabula ensangi zino abakazi ensonga z’ekisenge tebakyafaayo kuzikuuma butiribiri era ekisenge tebakyakitwala ng’ekyekyama. Bino byonna birina engeri gye bikosaamu ensonga z’omukwano mu maka.

Okuyonja omusajja:

Diana Sempala agamba nti omwami bwe baamulabanga nga tanyirira nga bakiteeka ku mukyala we era bwabanga buvunaanyizibwa bwa mukyala okulaba ng’amuyonja omuli okumusala enjala, okumumwa ekyenyi, okumujjanjaba endwadde naddala ez’ensusu ng’oluwumu n’ebirala ng’ebyo.

Empuliziganya:

Eno bw’etebaawo kiba kizibu ensonga z’omu kisenge okutambula obulungi.
Ggwe kiki kye wandyagadde omwagalwa wo akukolere naye nga takikola. Genda ku peegi yaffe eya Facebook oteese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...