
Abaagala nga bali mu mukwano
ABAKAZI abafumbo bangi mu kiseera kino baagala okukola okusobola okwekolera ku bizibu byabwe abasajja bye batasobola kutuukiriza.
Wabula abakazi ab’ekika kino bangi balowooleza mu mirimu minene naddala egy’okutambula ehhendo okuva awaka egitabaganya kuddukanya maka.
Mu mbeera eno abafunye emirimu beesanga ng’obudde bw’awaka tebakyabulina ekivaako amaka okukosebwa mu ngeri ezitali zimu.Waliwo emirimu ng’omufumbo gy’osobola okukolera awaka n’osigala ng’olabirira amakaago ate ng’oyingiza ne ku nsimbi ezeegasa. Mu ngeri eno teweetaaga ssente za ntambula na kyamisana.
1 Okutunda amazzi: Abafumbo naddala ababeera mu bibuga bizinensi y’okutunda amazzi erimu ssente ezeegasa. Ekidomola kigula wakati wa 200 ne 500 nga n’amagoba agavaamu gasobola okukola ku byetaago byo.
2 Okutunda amanda n’enku: Kumpi buli muntu ow’omu bibuga yeetaaga amanda n’enku. Ensawo emu ey’amanda oyinza okugisuubula wakati wa 50,000/- ne 60,000/-. Mu kugapima osobola okugiggyamu okuva ku 75,000/- ne 90,000 /-. Amagoba gano mu bbanga ery’omwezi ogumu zisobola okukuyimirizaawo.
3 Okulera abaana: Abazadde bangi abakola abatasobola kugenda na baana baabwe ku mirimu. Mu mbeera eno ssinga bafuna omuntu owoobuvunaanyizibwa asobola okubalerera abaana tebayinza butakuwa mulimu. Omwana omu osobola okumufunako ssente eziri wakati wa 50,000/- ne 100,000/- omwezi.
4 Okutunga: Okutunga mulimu ogusasula obulungi mu kiseera kino. Osobola okutunga okuva ku ngoye ez’abakulu n’abaana, okukuba ebiraka n’ebirala. Bano basobola bulungi okukusanga awaka wo.
5 Okuluka: Ebiruke biri ku ttunzi mu kiseera kino. Mu bino mulimu ebibbo, eby’omu miryango, ensawo n’ebintu ebirala. Bino osobola okubiwa balo oba omuntu omulala n’abinoonyeza akatale.
6 Okufumba keeki: Okufumba keeki mulimu ogulimu ensimbi naddala ssinga ogukola obulungi n’ofuna n’akatale akagazi. Keeki zitandikira ku ntono eziriibwa omuntu omu okutuukira ddala ku nnene ez’oku mikolo.
7 Okusiika ebiriibwa: Ebinyeebwa, bbagiya, soya, entungo n’ebirala eby’ekika kino bivaamu ensimbi eziwerako. Ky’olina okukola kwe kufuna akatale ku masomero ne mu maduuka amanene. Mu ngeri endala osobola okusiika muwogo, lumonde ne gonja n’obiguza ababinywera ku caayi.
8 Okwoza engoye: Omulimu gw’okwoza engoye n’okuzigolola nagwo osobola okugukola sso nga kapito eyeetaagisa si munene.
Ekikulu mu kino be bantu okukumanya batandike okukuwa emirimu oyoole ssente.