TOP

Omulenzi wange mukopi

Added 9th March 2016

OMULENZI wange mukopi nnyo kuba ne bwe mba mulwadde tampa buyambi ne bwe mmugamba nti ewaffe waliyo ekizibu tannyamba.

OMULENZI wange mukopi nnyo kuba ne bwe mba mulwadde tampa buyambi ne bwe mmugamba nti ewaffe waliyo ekizibu tannyamba.

Mwana wange, ddala omusajja ono akwagala? Omuntu atafa ku bulamu bwo sirowooza nti akwagala.

Sandifuddeyo ku bizibu by’ewammwe kubanga tannafuuka balo ate omukyala omugezi olina okubeera n’akasente akukuyamba ku bizibu byo.

Naye bw’olwala, omwagalwa wo n’atafaayo ku bulamu bwo, sirowooza nti aba akwagala.

Kyokka ayinza okuba nga takuwa kubanga talina naye nga ggwe olowooza alina.

Ekirala waliyo abasajja nga bakodo era nga bw’olaba abakyala abakodo ng’akodowalira n’omwana gw’azaala.

Kale bw’aba nga mukodo, muyige buyizi naye ku ky’obulwadde alina okukufaako. Baana bange, muyige okubeera ne ssente ku luwuzi ate muyige okukola.

Omukyala alowooleza mu kumuwa ku mulembe guno, alabye nnyo kubanga abasajja nabo ssente tebaziraba ate n’embeera yakyuka, olina kukola okufuna ky’oyagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....