TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yakwananga Omukazi mutuufu abakazi n'abandaga

Baze yakwananga Omukazi mutuufu abakazi n'abandaga

Added 18th May 2016

OMUSAJJA yannema lwa mpisa ze. Nze Fatuma Namazzi, mbeera Kawempe. Nafumbirwa nkyali muwala muto nga nnina emyaka 16 mu 1992.

OMUSAJJA yannema lwa mpisa ze. Nze Fatuma Namazzi, mbeera Kawempe. Nafumbirwa nkyali muwala muto nga nnina emyaka 16 mu 1992.

Mu kiseera ekyo nali nnaakamaliriza okukola P7. Bakadde bange tebaalinda bibuuzo byange kudda ne banfunira omusajja.

Kino tekyampisa bulungi kuba nali nkyali muto ng’ebyabasajja sibimanyi ate nga nkyayagala okusoma.

Emirembe gyanzigwako naye nga sirina kyakukola okuggyako okufumbirwa nsanyuse bazadde bange.

Olw’okuba yali Musiraamu era nga tusoma eddiini y’emu, namala gagenda. Omusajja gwe banfunira yali mukulu nnyo nga kumpi yenkana kitange.

Yali mulimi wa maanyi mu bitundu by’e Bugerere. Yasooka kukyala mu bakadde bange era oluvannyuma emikolo gy’okuwoowa ne gikolebwa n’alyoka antwala mu maka ge e Bugerere.

Waayitawo omwezi gumu, omusajja n’atabuka n’anfuukira ekizibu. Yatandika okuntulugumya n’okweyisa mu mbeera etetegeerekeka.

Baze yali tayisa sikaati nga buli mukazi amusala mu maaso amukwana. Olumu yakwananga abakazi ku muliraano ate n’abandaga, ekyammalako emirembe.

Awaka yali tayagala bagenyi wadde abeewaabwe. Buli lwe yamanyanga nti waabaddewo abagenyi, ng’ayomba nti bamuliira emmere!

Okukola ku byetaago by’awaka lwali lufuuse lutalo ng’oluusi ne bwe mmusaba ssente z’omunnyo ayomba.

Sizoni y’emmwaanyi bwe yatuukanga, nga tusiiba mu nnimiro nga tuzinoga kyakka nga ssente ezivaamu tanzikiriza kuzirabako.

Embeera eno yandeetera okusiiwuuka wadde omusajja ono yansanga nnyirira okukira ekinya.

Obufumbo bwatuuka ekiseera ne bunnemerera ne nvaayo ne nzira ewaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...