TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi balaze obukodyo obubanyumira mu kisenge

Abakazi balaze obukodyo obubanyumira mu kisenge

Added 24th May 2016

Sitayiro y’ekigaali oba ‘wheel barrow’, nayo ekolera abakyala bangi. Wano omukazi atuula n’ayisa amagulu mu kiwato kya munne.

 David Nkalubo ne Sauda Prista ab’e Nansana mu biseera byabwe eby’eddembe. Bagamba nti buli lwe babeera awamu mu mbeera eno obulamu butambula ekibasobozesezza okukuumagana kati emyaka ebiri.

David Nkalubo ne Sauda Prista ab’e Nansana mu biseera byabwe eby’eddembe. Bagamba nti buli lwe babeera awamu mu mbeera eno obulamu butambula ekibasobozesezza okukuumagana kati emyaka ebiri.

EMIRUNDI mingi abaagalana bwe batuuka mu kisenge, omusajja y’avuga emikolo. Y’atandika omukwano era n’obukodyo bwonna oba sitayiro ezikozesebwa, omusajja abaamu n’omukono gwa maanyi.

Kino kiri bwe kiti kubanga abakazi bangi abatya okutandika ensonga zino, era bakyalimu endowooza nti omusajja y’ateekeddwa okunyumirwa okwegatta.

Olw’okuba empuliziganya wakati w’omusajja n’omukazi ku nsonga y’okwegatta oluusi ebeera ntono, abaagalana beesanga ng’omusajja ky’ayiiyizza era kye kikola.

Ekivaamu ye mukazi okulemererwa okugamba munne asobole okumutakula awamusiiwa, okukkakkana nga tanyumiddwa muzannyo.

 

Bukedde bwe yabuuzizza ku bakazi ab’enjawulo wamu n’abakugu abamanyi engeri emibiri gy’abakazi naddala ebitundu by’omukwano gye bikola, baatulaze obumu ku bukodyo obunyumira abakazi mu kisenge.

1 Patrick Lukandwa abuulirira abavubuka n’abafumbo ng’asangibwa Wandegeya yagambye nti akakodyo ka misonale wadde kaluddewo naye ke kasinga okumatiza omukazi. “Sitayiro eno, omukyala abeera wansi olwo munne n’akola emirimu ng’ali waggulu.

Kawa abaagalana ebbeetu buli omu okukwata ku munne buli wamu, ate engeri emibiri gye giba gikoonagana kyongera obwagazi olw’akabugumu buli omu k’aba afuna okuva mu munne.

Ekirala akakodyo kano kawa omusajja ebbeetu okunoonya akakukufa okusibuka abalongo, ate ng’eno nsonga nkulu nnyo eyamba omukazi okunyumirwa.” Agattako nti sitayiro eno naddala omusajja bw’aba abitegeera, ewa omukazi omukisa okukima ku munne nga bw’amusembeza era n’asobola n’okumunyeenyeza ku kiwato oluusi ekitabeera kyangu ku sitayiro endala.

2 Akakodyo k’omukazi okudda kungulu nako kanyumira abakyala abamu, naddala nga beekakasa enkula y’emibiri gyabwe era nga beesobola.

3 Sitayiro y’omukazi okuwanika amagulu nga munne afukamidde wakati nayo nnungi ku bakazi kuba esobozesa omusajja okutuuka obulungi ku nje (gspot) olwo omukazi n’ayongera okunyumirwa omuzannyo.

4 Akakodyo kano kasobozesa abaagalana okwenywegera n’okwenoonya mu bifo ebiterese obwagazi ate nga bwe bagenda mu maaso n’okwegatta. Jjukira nti omukazi anyumirwa nnyo ssinga munne agenda mu maaso ng’amunoonya okutuusa bwe bamalamu akagoba.

5 Waliwo n’abakyala abanyumirwa akakodyo ka munne okumudda mu mugongo ne lukoya. Bano bagamba nti wano omusajja atuukira ddala wala kuba tewaba kimuziyiza.

Sam ne Rose Muwanguzi ab’e Lusozi, Kyankwanzi nga bali mu mukwano. Bagamba nti okwagalana okwewa ekitiibwa bwe bumu ku buvunaanyizibwa bwabwe obwa buli lunaku bwe balina okutuukiriza.

 

OMUSAWO AWABUDDE:

Omukugu mu kujjanjjaba endwadde z’abakyala, Dr. Spire JB Kiggundu ow’e Zzana agamba nti obukodyo bwonna bunyuma kasita ababukozesa baba nga tebeetya ate nga n’omukyala yeetegese bulungi.

Wabula alabula abakyala ku kakodyo k’omusajja okudda mu mugongo n’agamba nti kasembeza omumwa gwa nnabaana ate buli omusajja bw’agukoonako kireeta obulumi era kiyinza n’okumuleetera obuzibu ssinga kiba kikolebwa buli kiseera.

Ku nsonga eno, Lukandwa agattako nti sitayiro zonna zisaana kuzannyirwa mu kifo nga si kya bulabe, gamba nga ku buliri, oba ekifo ekitegekeddwa obulungi.

Agattako nti sitayiro zino teziriiko myaka, kasita abaagalana bakkiriziganya era nga tewali awulira buzibu ku sitayiro gye baba basazeewo okukozesa.

Agamba nti nga temunnasalawo kakodyo ke munaakozesa, olina okubalirira munno. Okugeza omukazi bw’oba munene nnyo ku munno, tolemerako ku kakodyo k’okudda waggulu kubanga munno oyinza okumuzitoowerera n’atanyumirwa.

Agamba nti n’obudde bwe muba nabwo bukulu ku sitayiro gye muba mukozesa. Okugeza bwe muba mu bwangu, kirungi mukozese eneebanguyira so si kutandika bya kwesulika kubanga bitwala obudde bungi.

 

EBIYAMBA ABAAGALANA  OKUNYUMIRWA AKABOOZI: 

Mwetegeke nga bukyali. Kino mukikole mu ngeri ez’enjawulo, okugeza okweweereza obubaka ku ssimu obwa laavu, mwewe ebirabo, mutambuze emikono n’ebirala ebibassa mu muudu.  Weewale okukozesa essimu ng’oli n’omwagalwa wo.

Buli lw’odda mu kutigiinya essimu nga muli mu mukwano kitta muudu.  Mugunjeewo obubonero bwammwe obw’omukwano. Kiyinza okuba ekigambo oba ekikolwa nga mmwe mwekka mmwe mukitegeera.

Buli lw’okikoonako nga munno amanya nti oyidde.  Empuliziganya kikulu nnyo mu mukwano era bw’etebaawo kizibu ebintu okutambula obulungi. 

Mukozese ebigambo ebiwoomera mu kisenge. Manya nti olulimi lwe mukozesa lukola kinene mu kunyuma oba obutanyuma bw’ebigenda mu maaso.

Munno mulage nti omwesunze. Kino kimwongera ebbugumu naye n’ayongera okufuna obuswandi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.