TOP
  • Home
  • Ssenga
  • 'Maama w'abaana komawo tuyiiye, ensi egaanyi...'

'Maama w'abaana komawo tuyiiye, ensi egaanyi...'

Added 2nd June 2016

BANNANGE maama w’abaana bw’akulekawo osigala n’ennaku ku mutima era obulamu bukukaluubirira.

BANNANGE maama w’abaana bw’akulekawo osigala n’ennaku ku mutima era obulamu bukukaluubirira.

Ate bw’aba nga yali muyiiya kiyitirira. Nze Ali Gapale, mbeera Bbanda. Nsiika capati mu katale e Nakawa.

Nga sinnajja mu Kampala, nali mbeera ku mwalo e Bukoto ogusangibwa mu Kigandaalo mu disitulikiti y’e Iganga.

Nali muvubi ng’eyo gye tupangisa ne maama w’abaana n’abaana baffe. Lumu mukwano gwange bwe twali tuvuba yaleeta ekiteeso tukuhhaanyenga ssente twekulaakulanye.

Twakola ekibiina kya bantu basatu nga buli omu aleeta 30,000/- buli wiiki okumala omwaka mulamba. Olumu bwe zambulanga nga mukyala wange ampaayo ne nsasula ezange. Nga ssente ziweze, twaggulawo akawunti mu bbanka ne tuzitereka okwo.

Eby’embi, mukwano gwaffe omu yatuyita ku litalaba n’ajingirira ebipapula n’abitwala mu bbanka n’abagamba nti ffe twagwa mu mazzi ne tubula era n’aggyayo ssente zonna n’azitwala.

Bwe yamala ebbanga nga tetumulaba, twagenda mu bbanka gye baakatutemera nti ssente zonna baazimuwa!

Eno ye yali entandikwa y’enkomerero y’amaka gange. Amawulire gano amabi olwagwa mu matu ga mukyala wange, yanyolwa era yalaba hhenze, mu nnyanja okuvuba n’asibamu ebyanguwa n’agenda.

Omwana waffe omukulu yamutegeeza nti agenze mu kibuga kugula bintu. Kye nasanga awaka kyankuba wala kubanga namagamaga munnange nga simulaba. Natunuulira abaana ne nsoberwa!

Ne ndowooza nti osanga munnange agenda kudda naye kati myaka mukaaga taddanga! Mukyala wange nali mmwagala nnyo kuba nali mmaze naye emyaka 9 era nga namusuubiza okumugulira emmotoka nga nfunye ku ssente.

Nali nsuubizza n’okumwongerera ssente mu bizinensi ye eya wooteeri gye yalina ku mwalo.

Yali mukyala muyiiya, nga bwe mmusaba ku ssente bambi tagaana. Bwe namugamba eky’okutubba, byonna yabinzijukiza nga bw’akaaba n’ayomba nti nakusabanga ssente ng’ogamba nti tuterekera biseera byaffe eby’omu maaso kubanga n’olumu namwewolangako nga mmanyi nti nja kumuddizaawo naye byajja bubi.

Okunoba kwe kwannuma nnyo kubanga yaleka n’omwana eyali ayonka nga wa myezi esatu kyokka n’agenda gye simanyi.

N’essimu ye okuva olwo teddangako wabula mpulira nti yafumbirwa. Abaana bange navaayo nabo ne tujja e Kampala ne nziramu ne njiiya nga kati nsiika capati e Nakawa.

Obuzibu bwe nnina, abaana bambuuza maama gye yalaga, nange simanyiiyo. Naye mukyala wange nali mmwagala kuba twali tukwatagana.

Njagala akomewo kuba yali muyiiya ate nga mukozi. Kati naddamu okufuna ku ssente, mmusaba yonna gy’ali ankwatirwe ekisa akomewo tukuze abaana baffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.