TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwagalwa gwe nawola ssente zangeayagala kunzita

Omwagalwa gwe nawola ssente zangeayagala kunzita

Added 8th June 2016

NALI ndowooza nti bwe mwagalana mufuuka omuntu omu era nga buli omu alina okubeerawo ku lwa munne. Naye kirabika si bwe kiri.

NALI ndowooza nti bwe mwagalana mufuuka omuntu omu era nga buli omu alina okubeerawo ku lwa munne. Naye kirabika si bwe kiri.

Nze Jane Uyisaba 31, nga ndi mutuuze w’e Budibaga mu muluka gw’e Kalonga mu ggombolola y’e Kitenge mu disitulikiti y’e Mubende.

Mu 2013 nalina edduuka erisuubuza bbiya ku kyalo Kyegulusu mu muluka gw’e Namagogo - Bagezi e Mubende ne hhanza Alex era gye byaggweera ng’anfunyisizza olubuto!

Olubuto bwe lwaweza emyezi esatu, Alex n’antimba bbula ya laavu n’ansaba mmuwole ssente agende agulemu ekibanja mu disitulikiti y’e Kibaale ne mmuwa obukadde busatu. Nze saamanya nti eno ye yali entandikwa y’okubonaabona kwange.

Alex gwe nali njagala okuzaama, olwamukwanga ssente teyaddamu kulabika. Ekibi yandeka n’olubuto lwa myezi esatu.

Nazaala mu January wa 2014 era omwana olwaweza emyezi esatu ne bandagirira Alex gye yagula ekibanja ku kyalo Kigoma mu muluka gw’e Kakindu mu disitulikiti y’e Kibaale.

Bwe natuukayo yansanyukira n’annambuza ekibanja kye yagula nga tannazimbako nnyumba.

Yantwala mu muzigo w’apangisa kyokka nga sinnabugumya na ntebe yambuuza lwe nzirayo gye nali nvudde! Namuddamu nti sigenda kuddayo, nzize tubeere ffembi tukozese ekibanja kyaffe.

Kino tekyamusanyusa era yandeka mu muzigo n’agenda. Yakomawo n’abakulembeze ba LC1 abandagira nve ku kibanja kye mu bwangu.

Nabategeeza nti ssente ezaakigula zange ne beerema ne hhenda ku LC III. Alex yakkiriza endagaano ekyusibwe eteekebwe mu mannya g’omwana waffe.

Kyokka lumu nali nnima mu kibanja kyaffe, ssentebe w’ekyalo n’ajja n’abasajja babiri nga bakutte amajambiya ne bandagira nsalewo okuva ku kibanja oba okufiirwa obulamu. Bansobyako kirindi n’okuntema.

Nagenda ku poliisi okubaloopa kyokka nasanga abasajja bano bava ku poliisi ne Alex. Nabaloopa kyokka tebaabaggulako musango!

Nga wayise ekiseera, nakizuula nti ndi lubuto. Bwe baalaba mbalemeddeko, kwe kusindika agavubuka ne gamenya akayumba ke nali nzimbye ku kibanja nga nsulamu n’abaana bange.

Nalaba nga bongera kuntulugunya, kwe kusengukira ku kyalo Bidaga e Mubende ne ntandika okusuubula amanda n’oluvannyuma ne nkola edduuka.

Nayo bannumbayo ne bantulugunya ne bateera n’omwana wange embwa ne zimuluma n’afiira mu ddwaaliro e Mityana. Bwe nava mu ddwaaliro nasanga baanyagulula bizinensi yange obutalekaamu kantu konna.

Nabaggulako omusango ku poliisi y’e Mubende ku fayiro CRB 732/2016.

Ekisinga okunnuma, omwana wange saamuziikako, bantwala ku ddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika nga bakinsibyeko nti ndi mulalu. Kati sirina we mbeera, nfaananako abanoonyi b’obubudamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...