TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanfunyisa olubuto nga nsoma yangalabanja

Eyanfunyisa olubuto nga nsoma yangalabanja

Added 11th June 2016

NZE Winnie Nassiwa. Mbeera Makindye kyokka nzaalibwa Butambala. E Butambala navaayo mu 2003 ne nzija mu Kampala okusobola okweyongerayo mu maaso n'emisomo gyange wabula we natuukira mu S3 nga mu kunyirira nkirako ekinya.

NZE Winnie Nassiwa. Mbeera Makindye kyokka nzaalibwa Butambala. E Butambala navaayo mu 2003 ne nzija mu Kampala okusobola okweyongerayo mu maaso n'emisomo gyange wabula we natuukira mu S3 nga mu kunyirira nkirako ekinya.

Eno y'ensonga lwaki abasajja abandabangako ng'amalusu bamira muganda.

Mu bano mwe mwali n'omuvubuka omu eyali omutunzi w'edduuka okumpi n'ewaffe eyannemerako.

Ono yantoneranga ebyokulya n'okunywa omwali sswiiti, keeki, sooda n'ebirala wamma ne nsiima bya nsusso.

Ebyava mu bino gwali mukwano omuzito gwe twasitula ne mwanamulenzi ono. Oluvannyuma lw'akaseera nneesanga ng'antisse olubuto.

Abasomesa bwe bandaba mu mbeera eno bansaba okutwala bazadde bange era bwe batyo ne bangobera mu maaso gaabwe.

Olw'okuba maama teyalina busobozi bunkuuma, yakkiriza okunfumbiza ewa nnyini lubuto.

Wabula okumanya abasajja si bangu, olwatuuka ewuwe n'atandika okungalabanja n'obutandabawo ng'enjogera y'ennaku zino bw'eri.

Teyabeerangawo ku lwange ate nga n'obuyambi bw'ampa n'omwana wange tebumatiza.

Ekiseera kyatuuka ne ndaba nga sikyasobola bulamu bwa kwejjusa buli bbanga kwe kumuviira ne ntandika obulamu obupya.

Mu kiseera kino ntandise okulowooza ku ky'okufunayo munnange anandabirira mu ngeri ematiza nnyongere n'okuzaala ku baana. Ndi ku ssimu:0750665031.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...