TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mwewale okusiga obukyayi mu baana eri bakitaabwe

Mwewale okusiga obukyayi mu baana eri bakitaabwe

Added 14th June 2016

Leero ensonga gye ndaba gye mukola etesanyusa bannammwe abo ababakuuma, wadde ng‛oluusi basirika ey‛okuddira abaana be muzadde mwembi ne mutandika okubalaga nga bakitaabwe bwe bali ababi ennyo.

ESSANYU nfuna lya nsusso buli lwe nfuna ebbanga okubaako bye mbagamba. Ye musulayo mutya bawala bange? Nange sibadde bubi naye era nga bulijjo sizze ngalo nsa, anti nabasuubiza obutabasuulirira n‛okubaleka okugwa mu nsobi. Buli lwe ndaba nga waliwo ebitatambula mbulungi nnyanguwa okubawabula.

Leero ensonga gye ndaba gye mukola etesanyusa bannammwe abo ababakuuma, wadde ng‛oluusi basirika ey‛okuddira abaana be muzadde mwembi ne mutandika okubalaga nga bakitaabwe bwe bali ababi ennyo.

Ensonga eno ey‛okusiga obukyayi mu baana eri bakitaabwe yeeyongedde mu bafumbo. Kino abamu mukikola mu bugenderevu nga kye mwagala be baana abo okukyawa bakitaabwe, olwo omukwano gwonna baguwe mmwe.

Basajjabattu batuuka ekiseera nga ne bw‛aba abaana abafaako, abaana bamutunuulira kyamuli ekimumalako emirembe.

Bawala bange abamu bwe mufuna obutakkaanya n‛abaami bammwe empalana n‛obukyayi musalawo okubisiga ne mu baana be muzadde, ekintu ekitali kirungi n‛akatono.

Abamu mutuuka n‛okuwaayiriza abasajja emize gye batalina, leero nemu boonoona mu maaso g‛abaana ebitagambika.

Kati olwo omwana anaggya wa omutima ogwagala kitaawe nga tolina kalungi konna k‛omwogerako. Ate bwe kituuka ku balina ku ssente okusinga abaami baabwe ate ne kiyitirira.

Omusajja oluusi ne bw‛aba ng‛alina ekitono ky‛atoola okulabirira amaka awamu n‛abaana mubalaga ng‛abatalina mugaso gwonna mu maka.

Okuvumanga taata w‛abaana nga n‛abaana bawulira kintu kikyamu nnyo kye mulina okwewalira ddala kubanga n‛abaana muba mubasigamu emize olwo nabo bwe bakula bwe batyo bwe bajja okweyisa.

Ky‛ova olaba ng‛obufumbo bulema nnyo abawala ensangi zino kubanga aba tamanyi ngeri ya kubuddukanyaamu olw‛obutafuna musingi mutuufu.

Enkola entuufu yandibadde nti wadde omusajja omukyaye oba nga mufunye obutakwatagana mu nsonga z‛amaka, abaana balage nti kitaabwe gwe mutwe omukulu. Bw‛aba alina by‛atatuukirizza ensonga eyo ekome mu mmwe abakulu.

Okugeza ssinga omusajja alemwa okutoola ffiizi ggwe n‛ozifuna, tewali nsonga lwaki ofalaasira abaana ng‛obakakasa nga kitaabwe bw‛atabafaako era bw‛alemeddwa okusasula fi izi. Balage nti mukwatira wamu ku nsonga y‛okubalabirira.

Kino kijja kubalaga nti mwembi mubavunaanyizibwako kyenkanyi era tewajja kubaawo kusika muguwa mu bufumbo bwammwe.

Kye mulina okumanya nti omwana ne bw‛omukyayisa kitaawe n‛omulaga nti talina mugaso gwonna ku nsi, bw‛anaakula ajja kutandika okwawula ekirungi ku kibi era amanye ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...