TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri tekinologiya gy'asibye olusirika mu bafumbo ennaku zino

Engeri tekinologiya gy'asibye olusirika mu bafumbo ennaku zino

Added 21st June 2016

Abantu ababalaba nga muli mu lusirika baba babasunga era batandika okubageya ne babaggyamu ekitiibwa.

 Abafumbo nga bali ku byuma bi kalimagezi

Abafumbo nga bali ku byuma bi kalimagezi

ABAFUMBO okugenda mu lusirika si kipya kuba kibaddewo okuva edda. Olusirika luno lubaawo singa abafumbo bafuna okusoowagana ne balemwa okugonjoola ensonga mu bwangu, olwo buli omu n’asiriikirira munne.

Embeera eno ya bulabe mu bufumbo, era singa lulwawo amaka gayinza okusaanawo. Francis Kavuma 60, ow’e Gayaza agamba nti edda olusirika lwabeeranga lwa mu kisenge wokka nga bwe badda ebweru abasigadde tebamanya nti wabaddewo akaseera akazibu mu kisenge.

Agamba nti embeera yakyuka nnyo okuva mu 1990, olwo  n’ab’omu ddiiro ne batandika okutegeera naddala eri abaana nti bakadde baffe si basanyufu.

Mu kiseera kino ebintu byongedde okwonooneka kubanga abafumbo bwe baba mu lusirika ne baliraanwa bategeera, ssaako n’ab’omu kkubo gye bayita.

Agamba nti okuggyawo embeera eno, edda abafumbo baakozesanga olujjuliro, kubanga omukyala ne bwe yabanga anyiize nga bwe batuula ne munne nga tebabulwa mboozi gye banyumya.

Agattako nti ekirala, baatyanga abaana okumanya nti waliwo obutategeeragana era y’ensonga lwaki baafubanga okwetereeza nga bukyali.  

OLUSIRIKA LW’ENNAKU ZINO BWE LUBEERA:

1Abaana ennaku zino bayingiziddwa mu lusirika. Abafumbo bwe batuuka mu mbeera eno, omu bw’abaako ky’ayagala okutegeeza munne, atuma mwana. Kino kiraga omwana ekifaananyi ekibi.

2 Waliwo abasalawo okuwandiika obubaluwa ne babuleka ku mmeeza, oba mu buliri, olwo munne bw’akalaba n’amanya ky’amugamba, wabula nga tayogedde naye.

3 Oluusi bakozesa ssimu okweweereza obubaka. Ne bwe babeera mu nnyumba oba mu kisenge bayinza okusalawo okukozesa essimu buli omu okutegeeza munne ky’ayagala naye nga teboogedde.

4 Abamu bayita mu mikwano gy’abaagalwa baabwe okubaako bye babatuusiza eri abaagalwa baabwe.  

 

EBIREEMESA OLUSIRIKA OKUGGWAAWO ENSANGI ZINO:

  • Ttivvi zikoze kinene mu kuwangaaza olusirika mu maka, anti bwe basoowagana buli omu ekiwuubaalo akimalira ku ttivvi, nga yeewala okwogera ne munne.
  • Essimu nayo ekoze kinene mu kuwanvuya olusirika mu maka. Abafumbo bwe basoowagana ekiwuubaalo bakimalira ku ssimu nga baweereza mikwano gyabwe obubaka ku facebook ne Whatsapp. Mu mbeera eno atuuka ekiseera ng’alaba talina ky’asubwa ne bw’aba tayogeraganya na munne gw’asula naye.
  • Okukola ennyo okuva ku makya okutuuka ekiro nakyo kyongedde embeera eno okwegiriisiza mu maka mangi. 

Engeri abafumbo gye bataba na budde bwogeraganya olw’emirimu okubamalawo, batuuka ekiseera ne bamanyiira embeera eyo olwo olusirika ne lusiisira mu maka gaabwe.

Okusoma okusukkiridde naddala mu bakyala nayo nsonga nkulu. Omukazi bw’alaba nga yeesobola ayinza obutafaayo kwemenya eri bba.

Edda omusajja ne bwe yabanga y’asobezza, nga ku lw’obulungi bw’amaka, omukazi yeemenya basobole okutambulira awamu.   

ENGERI GY’OYINZA OKUMALAWO OLUSIRIKA

1 Bwe mufuna obutakkaanya mutuukirire omukugu mu kubuulirira abafumbo abayambe nga bukyali.

2 Mwewale okukozesa essimu n’obubaluwa okwogeranya nga muli mu lusirika kuba byongera okuluwanvuya. Mufune akadde mwogere.

3 Munno mutwaleko awutu singa mubeera mu kaseera k’olusirika, munaagenda okuvaayo ng’ebintu biteredde.

4 Bw’omanya ng’ensobi evudde ku ggwe, weetonde mu bwangu osobole okumalawo embeera y’okusika omuguwa.

5 Abaana mubaggye mu nsonga zino, kuba tezibakwatako.  

OBULABE OBULI MU LUSIRIKA:

Abantu ababalaba nga muli mu lusirika baba babasunga era batandika okubageya ne babaggyamu ekitiibwa.

Akaseera kano kayinza okuteekawo okubaliga anti omu ku mmwe ayinza okuba ng’ayoya omukwano ate nga talina bw’atandika munne. Kino kivaamu okubaliga ekiyinza okuleeta ebizibu omuli n’endwadde mu bafumbo.

Abaana mu kaseera ako batulugunyizibwa mu bwongo anti baba tebalina mukwano gumala okuva eri bazadde baabwe bombi.

Emirimu egirina okukolebwa awaka mu kaseera ako gyesiba oba okutambula akasoobo anti enteeseganya ebeera ntono mu maka ekibazza emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....