TOP
  • Home
  • Ssenga
  • OKUBUULIRIRA ABALENZI: Mugaba alina engeri gy'acamula abasajja

OKUBUULIRIRA ABALENZI: Mugaba alina engeri gy'acamula abasajja

Added 28th June 2016

ABALINA amaanyi ag‛olusuluuju amagezi mbawadde ga buwa. Fuba okulaba ng‛amaaso go togaggya ku bitundu bya munno ebikusikiriza.

ABALINA amaanyi ag‛olusuluuju amagezi mbawadde ga buwa. Fuba okulaba ng‛amaaso go togaggya ku bitundu bya munno ebikusikiriza.

Ye musula mutya batabani. Mwebale kufaayo kuzimba maka gammwe nga mwe muli n‛okulabirira bannammwe abo.

Naye abamu ku mmwe mmanyi mulina ekizibu ky‛amaanyi g‛ekisajja. Sso nga bannammwe abo banyumirwa nnyo nga mucamukidde ddala, n‛alaba ng‛oliko n‛obumansuka.

Awo naye amanya nti kye mugendako kyekyo kyennyini ky‛abadde yeesunga. Okumalawo embeera eno, bw‛oba olina obuzibu n‛okucamuka obulungi, ekimu ku bitundu by‛otolina kuggyako maaso bye biriko mugaba ng‛ebisambi, amabeere, akabina ne mu nteega z‛amagulu.

Mu nteega wakola nnyo, era abasajja abamanyi akakodyo ako, bw‛aba atambuddeko n‛omwagala we, amugamba n‛akulemberamu ye omusajja n‛avaako emabega.

Kubanga n‛okulaba obulabi ku ngeri omukazi gy‛anyeenya akabina, kisitula obwagazi bw‛omusajja. Era n‛abakazi bafuba nnyo okulaba nga bwe bamala okunaaba ko nga tebannalya kyaggulo, baambala bu nayiti obumpi, n‛ajja okukuwa ekyeggulo, osobole okulaba mugaba ono.

Munnange oluusi bw‛otaba musajja nnyo n‛emmere togimala kugirya nga ssemusajja tannagalula! Era omusajja omufumbo ku kwambala nayiti zino kwamanyira nti embeera y‛akaboozi teriiwo.

Singa omukazi ayambala nayiti empanvu, kabonero akalaga nti eby‛okukiika embuga tabiriiko.

Nolwekyo omusajja atayaka bulungi, oluusi kiva ku kuba nti weesibye ku kifo kimu kyokka okukuwa obwagazi. Amaaso gazzeeko ku bifo ebirala ate olabe bw‛otambuza omweso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balumbye Mayinja okuyingiza...

Abantu abenjawulo balumbye Ronald Mayinja okuyimba ng’awaana Museveni kyokka n’ayingizaamu Bobi Wine mu ngeri gye...

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...