TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi bye bakola ne bitulugunya babbaabwe

Abakazi bye bakola ne bitulugunya babbaabwe

Added 5th July 2016

Obadde okimanyi nti abakazi beeyongedde okutuluganya abasajja mu maka? Embeera eno etuusizza abasajja abamu okwoza ku mmunye, abalala basuddewo amaka gaabwe, okubeera mu maka ng’ekibagatta n’omukyala baana.

 Abafumbo bano be ba Ssalongo Noah Ssemaganda ne Nnalongo Carol Nassaka,basuubuzi ku katale ka Road Toll e Lukaya mu Kalungu.

Abafumbo bano be ba Ssalongo Noah Ssemaganda ne Nnalongo Carol Nassaka,basuubuzi ku katale ka Road Toll e Lukaya mu Kalungu.

“...KANNYANGUWE, madaamu bwe nsanga amaze okujjula ntuuse obutalya..,” bye bigambo Fred Mukasa ow’e Bweyogerere bye yasiibuzza mukwano gwe bwe baabadde ku dduuka erimu nga banyumyamu.

Olwo zaabadde ssaawa 2:30 ez’ekiro. Muli nasigadde nneebuuza nti buwulize bwa Mukasa eri madaamu we, oba alina engeri y’okutulugunyizibwa gy’ayitamu ng’omusajja?

Ye obadde okimanyi nti abakazi beeyongedde okutuluganya abasajja mu maka? Embeera eno etuusizza abasajja abamu okwoza ku mmunye, abalala basuddewo amaka gaabwe, okubeera mu maka ng’ekibagatta n’omukyala baana.

Omukazi kye kitonde ekiyinza okukulaga omukwano omusuffu naddala nga mwakasiimagana kyokka ate ne kikukyawa ng’omusajja alina ensobi z’akoze oba nga waliwo obutakkaanya. Wabula ekibi ekisinga kye balina kwe kusiba obusungu ku mutima. Omukazi asobola okulangira bba ekintu kye yamukola emyaka 10 egiyise.

Omukazi ng’anenya omwagalwa we. Omukazi bw’ayitiriza olukaalikaali mu maka afuukira munne ekizibu.

 

ENGERI ABAKAZI GYE BATULUGUNYA ABASAJJA:

Okumma abasajja akaboozi: Ng’oggyeeko omukazi okujjukizanga bba ensobi gye yamukola emyaka n’emyaka egiyise, ekyokulwanyisa ekirala kye bakulembeza nga batulugunya abasajja kwe kubamma akaboozi buli lwe bafunye ekibanyiizizza.

Oyinza okukkiriza nti abafumbo abamu basula mu kisenge ekimu kyokka ne kitwala omwezi, emyezi oluusi n’omwaka nga tebanyumizza kaboozi!

Ggwe gwe kitannatuukako weesuneko naye abasajja be kituuseeko, ennaku eno baagigumira dda. Embeera y’omukazi okumma bba akaboozi kye kimu ku bisinga okutulugunya omusajja nga yeebuuza omugaso gw’alina awaka.

Ndaba waliwo abatandise okuwoza nti ‘Shaa….. nsula ntya n’omukazi mu kisenge n’annyima akaboozi…..waakiri simukwata….. nga mmusimba evviivi…’ .

Abakazi abamu beesogga ekisenge nga balinga abagenda mu lutalo; munda ayinza okusoosaamu ekiwale ekimpi.

Abamu bambala na bya kkaki ate nga kuliko n’oluwuzi n’alusiba ng’alinga agenda okusindana ne Kiprotich mu misinde oba ne Golola mu nsambaggere olwo wansi mu maviivi gye kikoma nga nayo ateekerayo oluwuzi olukinyweza oba nga yakifunza ne kimukwata nga mazima ddala omusajja talina na w’ayisa lugalo kumukwatako.

Ebiwale bino abamu obawulira nga banyumiza bannaabwe nga bwe baabiwa n’amannya ‘Tosala wano’, Omukadde akwasiza ku mmere ye’ ate ab’Olungereza ne babiyita ‘No fly Zone’ n’ebirala.

Kuno bazzaako nayiti ey’ekiteeteeyi ate n’ayongerako ne ggawuni okuli oluwuzi lw’asibira ku lubuto nga mazima ddala buli omusajja lw’amukubako eriiso nga tasuubirayo mukisa gwa kumutambaalan nti ayagala kaboozi.

Abakazi b’onenya ne bakola olusirika oba ne bayomba olukobo. Abasajja abamu batera okunenya ku bakyala baabwe nga wabaddewo ensobi kyokka kuno kuba kwetema kabazzi ku kugulu.

Mwattu nno omukyala ne bw’aba mu nsobi nga n’omwana omuto agiraba ayinza okuteekawo embeera enyigiriza omusajja n’atuuka n’okwevuma ekyabimutandisizza.

Abasajja abamu embeera ebayitirirako ate ne badda mu kwetonda, so ng’omukazi y’ali mu nsobi! Waliwo Robert Mugagga eyanenya ku mukyala we okulwawo okudda gye yali alaze ate n’aggyako n’essimu.

Mugagga agamba nti ng’omuntu ow’obuvunaanyizibwa, yagezaako okukuba essimu okumanya ogubadde nga teriiko ate munne n’alwayo. Munne teyafaayo kufuna ssimu ndala kumukubira kumutegeeza oba alina ekizibu.

Agamba nti omukazi olwamulaga obweraliikirivu okulwayo ate n’atamukubira, yatandikirawo okumuwalabula nti ‘Nakutwalidde ki? Simanyi olowooza nva mu bwenzi …… mbadde walemwa n’okungulira essimu esobola okukuuma omuliro.’

Agamba nti embeera yamubijjirira awaka omukazi n’ayomba olutakoma. Oluyombo lwazingiramu n’omu ku baana ekiwera nga n’ekiro omukazi yeekapika ‘Tontambaala’.

Abakazi abalala mu ngeri y’okutulugunya omusajja, aleeta mwana n’asulanga naye mu buliri okutangira omusajja okumulumba ng’ayagala akaboozi.

Okulangiranga omusajja ensobi gye yakolako. Abakazi abamu batulugunyiza mu ngeri ya kulangiranga musajja ensobi gye yakolako. Lw’omusabye akaboozi nga tayagala n’akujjukiza omulundi gwe wamuteeka mu muudu ate oluvannyuma n’ovuya.

Olwo buli bba lw’ayagala akaboozi ng’atandika okumulangira nti ‘ndaba ojja kutuuka eyo ovuye….’ n’ebirala ng’ebyo. Joseph Lutwama akola ogw’okubudaabuda abantu omuli n’abaagalana agamba nti abakyala abamu kye batamanyi kiri nti buli lwe mweteekateeka okwesogga ensiitaano y’omukwano n’obeerako ky’onenya omusajja mu ngeri ey’obusungu amaanyi g’abadde nago gakendeera oluusi n’alemwa n’okuddamu okukuba saluti.

Obutayogera gye balaze: Abakazi bwe bafunye ssente, n’okweguya abasajja ne kukendeera. Abakyala abamu basalawo okutambula nga tategeezezza bba, olwo omusajja n’asigala kuteebereza nti oba ali gindi oba gindi?

Kino kitulugunya nnyo abasajja nga tebamanyi kye baliko. Abasajja abamu batandika kubalowooleza kubeera mu bwenzi. Brenda Mbabazi ow’e Lubaga ng’akola ku bya misono agamba nti abakazi bongedde okwekolera ssente okweyimirizaawo olw’okukoowa abasajja okubayiwa.

Agamba nti bwe babeera ne ssente beekolera pulogulaamu zaabwe okuli n’okudigida mu bikoosi. Agamba nti abasajja abamu bayaaye nga tebakyatuukiriza buvunaanyizibwa bw’awaka ekibaleetera okunyiiga.

Okujuliza abasajja abalala: Abakazi abamu batulugunya abasajja mu ngeri y’okubalengezza nti tebasobola. Abamu batandika okujuliza abasajja abalala okugeza baliraanwa, balamu baabwe oba babba ba mikwano gyabwe.

Bano buli ekirema omusajja ng’ajuliza oli gw’agamba nti akikola bulungi era kino kinyiga nnyo abasajja, bangi ne beewulira ng’abatakyali bassemaka.

Okukozesa abasajja emirimu gy’awaka n’okubalunda. Mulimu abasajja abawalirizibwa okukola emirimu gy’awaka naddala ng’omukazi naye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...