
Wanyana ng’anoga eddagala erireeta ag’emugga.
NAYAWUKANA ne mukazi wange ng’entabwe yava ku kufukumula g’emugga ge nali simanyidde ekyandowoozesa nti yafunyeeyo omusajja omulala n’amusiiga obulwadde bw’ekikaba,” bwatyo Haruna Katumba ow’e Kisugu bw’anyumya ku bufumbo bwe.
Agamba nti; “ Mu 2013 nnakwana omuwala ne mutwala ewange anfumbire. Mu kiseera ekyo amazzi g’ekyama yalina matono.
Okusooka kyampisanga bubi, wabula ne nkimanyiira era ne nkyesonyiwa. Wabula mu 2015 munnange yakyuka nga ndaba alina amazzi mangi ekyantiisa ne ndowooza nti osanga alina obulwadde bw’ekikaba.
Mikwano gyange nagiyitiramu ne bankakasa nti munnange alabika alinayo omusajja nga ye yamugamba akozese eddagala erireeta amazzi. Amazzi yafulumyanga mangi ne gatuuka n’okwonoona omufaliso ate nga tutya okugwanika ebweru. Kuno yagattako okuvaamu ekivundu mu bitundu by’ekyama ne tulemagana.
” Abawala n’abakazi bangi ennaku zino abanoonya amazzi g’ekyama nga bagenda mu bantu ababasuubiza okuzibukula ensulo zaabwe. baagakazizzaako lya ‘Amazzi g’e Makindye’ nga bakiggya ku basawo b’ekinnansi abakolera mu bitundu by’e Makindye abeeranga nga bwe bazibukula ensulo z’abakazi bafaanane n’abakazi b’omu Ankole abatakaliza nsulo.
KYAMA KI EKIRI MU BAKAZI B’OMU ANKOLE?
Natukunda Kemigisha ow’e Luzira agamba nti edda mu buwangwa bw’Abanyankole, omuwala bwe yawezanga emyaka 11 oba12 nga tanneegatta na musajja, mwannyina yattanga ekinyonyi ekiyitibwa ‘Ekishamutuutu’. Yakyokyanga ne kisiriira, evvu ne baliteeka mu mmere y’omuwala n’alya.
Okusinga evvu lino baalitabikanga mu nva z’ebinyeebwa, entula oba katunkuma. “Kyokka olw’abawala okukeera okuganza abalenzi ennaku zino, kati eddagala lino balibawa ku myaka 9 oba 10.
Eddagala lino likozesebwa emirundi esatu mu wiiki okumala omwezi oba okusinziira ku mazzi omuzadde g’ayagala muwala we abeere nago. Kino kye kireetera abamu okubeera n’amazzi agasukkiridde agatobya n’obuliri nga yalwawo ng’akozesa eddagala lino.”
Kemigisha agamba nti mu kiseera ng’omuwala alidde eddagala lino, omusulo gw’afuuyisa n’amazzi g’ekyama agamuvaamu gava n’olusu, wabula w’atuukira mu kiseera ky’okufumbirwa abeera yatereera nga takyavaamu lusu Kemigisha ateebereza nti abasawo abagaba eddagala erizibukula ensulo bandiba nga bagattamu evvu lino nga y’ensonga lwaki abakazi bwe balikozesa bavaamu olusu. Wano mu Buganda ekishamutuutu ly’ekkookootezi.
OMUSAJJA AYINZA OKUMANYA ‘AMAZZI G’E MAKINDYE?
Dr. Charles Kiggundu eyeebuuzibwako ku nsonga z’ekikyala akolera mu ddwaaliro e Mulago agamba nti omusajja abeera aludde ng’amanyidde mukyala we omuli obugazi, ebbugumu n’amazzi. Ssinga abaako ne ky’akola amanya olw’enkyukakyuka eba ezzeewo.
“Omukazi bw’afuna obwagazi mu ngeri entuufu afuna ebbugumu mu bitundu by’ekyama era ne bw’afuna ag’emugga gaba gabuguma. Kyokka ssinga amazzi ago gaba tegayise mu mitendera emituufu, gayinza okujja nga mangi, kyokka gaba gannyogoga kuba gaba tegava mu nsulo entuufu.” Agattako nti amazzi agazze olw’eddagala bwe gayiika ku lugoye gasala era gavaamu ekisu.
Ekirala agamba nti abakazi balwawo okucamuka, sso ng’okuleeta amazzi alina kusooka kucamuka. Noolwekyo ssinga weesanga nga munno buli kiseera oluba okumukwatako ng’amazzi gakulukuta, gandiba nga “g’e Makindye’.
Agamba nti olw’embeera eno, abawala n’abakazi abakozesa eddagala ery’ekika kino kye bava bannyogoga oluusi omusajja n’atanyumirwa.
Dr. Kiggundu agattako nti amazzi agazze olw’eddagala tegatangaala nga aga bulijjo, gabeeramu olulangirangi olw’obucaafu obuva ku bintu bye basonseka mu bukyala okufuna amazzi.
Ate Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana agamba nti omukazi bw’afuna obwagazi afuna amazzi era gaba gaseerera. Wabula waliyo abakyala abafulumya amazzi nga agabulijjo.
Gano gatera kuleetebwa ak’e Mbarara. Amazzi agaseerera kyenkana buli mukazi agafuna kasita afuna obwagazi, era gava mu bisenge by’obukyala.
Naye agava mu k’e Mbarara gava kumpi n’akakukufa okusibuka abalongo, kuba we wali ensulo efulumya amazzi ago.
Gano gatera n’okutobya essuuka wabula tegawunya. Ennaku zino abakyala abamu bafuka omusulo nga balimba abasajja nti abalina amazzi ag’enjawulo.
KIGERO KI EKITUUFU?
Dr. Kiggundu agamba nti teri kigero kituufu kuba omukazi aleeta amazzi okusinziira ku mbeera eriwo ng’ennaku ze ez’ekikyala, engeri gy’omunoonyezzaamu, n’engeri obwongo bwe gye buba bw’ateeseteese.
Ate Muky. Mukisa agamba nti buli mukyala wa njawulo. Waliyo abalina amazzi amangi ate waliyo abalina ag’ekigero.
Ennaku zino abakyala kubanga baagala okubeera n’amazzi bakola ebintu bingi okugafuna ate oluusi ne kiyitirira. Waliyo eddagala lingi erireeta ag’emugga naye olina okwegendereza ng’olikozesa kuba ebimu bye bakozesa bireeta kookolo.
OBUZIBU BW’AMAZZI BWE GAYITIRIRA.
Amazzi ag’obutonde tegasobola kuyitirira kubanga buli kintu Mukama akikola n’obwegendereza. Naye ssinga okozesa eddagala ng’onoonya amazzi, kifaananako okweyerusa ng’onoonya obweru.
Abakyala bangi abeeyerusa kati gye bujja bagenda kufuna endwadde z’olususu. Kale na kino bwe kiri. Ng’olina amazzi amangi olina okubeera omuyonjo era n’okyusa essuuka kubanga kizibu okuziddamu.
N’ekirala abasajja baagala amazzi naye sirowooza nti baagala agayitiridde. Dr. Kiggundu agamba nti buli lwe mwegatta obwongo bulina obuvunaanyizibwa bw’okuzuukusa obusimu obutali bumu okuli n’obwo obusumulula ensulo.