TOP
  • Home
  • Ssenga
  • OKUBUULIRIRA ABALENZI: Yiga okufuga amaddu omatize munno laavu

OKUBUULIRIRA ABALENZI: Yiga okufuga amaddu omatize munno laavu

Added 6th July 2016

ABASAJJA abamala safaali esooka ne bataddamu kunyumya kaboozi, oba abo abalwawo okuddamu amaanyi g‛ekisajja okwongera okutwala akaboozi mu maaso ekinaabawonya okubanyooma kiikino.

ABASAJJA abamala safaali esooka ne bataddamu kunyumya kaboozi, oba abo abalwawo okuddamu amaanyi g‛ekisajja okwongera okutwala akaboozi mu maaso ekinaabawonya okubanyooma kiikino.

Okusooka byonna embeera eno etera kuva ku ki? Embeera eno etera kuva ku maddu amangi ge mufuna nga mugenda mu kaboozi. Era embeera eno eri nnyo mu bavubuka abaakatandika okwegatta ate era ne mu basajja abagenze nga bakula; emyaka gy‛akaboozi nga gitandise okubawuubira akatambaala.

Ekireeta abavubuka bassasilimu okutandika okwenyooma kwe kuba nti n‛eddakiika ze bamala mu kyeso ziba mpaawo kaaga.

Oluba okwesogga omweso, mu ddakiika waayi nga yamazeemu dda akagoba! Ate olwo nga ye omukazi abeera atandika butandisi okunyumirwa.

Oluusi abakazi ne beesooza nti tebamatidde, anti nga ggwe kitawe ogudde eri owejjawejja kabekasinge nga n‛otulo tukubbye! Kale eddagala erisooka, kwe kufuga amaddu n‛okupapa ng‛ogenda mu kaboozi.

Omukazi bw‛aba azze, aba akwagala. Leka kupapa kuyingira nnabunnya nga gy‛oli nti agenda kudduka.

Kubanga buli lw‛opapa mu by‛akaboozi, okozesa amaanyi mangi, kati bw‛ogattako n‛amaanyi agagenda buli lw‛omalamu akagoba, omubiri gwo gukoowa nnyo n‛obulwa embavu okuddamu nate luutu eyookubiri.

Wano abasajja abakuzeekuzeemu we babakubira mu kaboozi. Kubanga baba nga balabyeko.

Kati ne basobola mangu okuddamu safaali eyookubiri. Ekirala ekiyinza okutaasa omusajja alina ekizibu kino, kwe kwemalira ennyo mu kuweeweeta omukazi oba kiyite ‘lomansi‛. Kubanga buli omukazi lw‛omukola ‘lomansi‛ naye ajjula obwagazi oluusi n‛atuuka ne ku ntikko ne musobola okutambulira awamu.

Wabula n‛ekikulu ennyo, temwenyooma kubanga okulwa mu kyeso si kye kimatiza omukazi kyokka.

Wabula okumanya w‛omutakula naye n‛amalamu akagoba. Kale bino byonna bigezeeko ojja kulaba ng‛abaali bakunyooma ate batandise okukuyita bakuwe enkoko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...