TOP

Mukwano gwange yantwalako eddya

Added 13th July 2016

EMIKWANO gyantama era sikyesembereza. Gwe nalina yanzibako baze n’angoba mu maka gange. Nze Aisha Kizito, mbeera Kawempe.

 Kizito mukwano gwe yamutwalako eddya.

Kizito mukwano gwe yamutwalako eddya.

EMIKWANO gyantama era sikyesembereza. Gwe nalina yanzibako baze n’angoba mu maka gange. Nze Aisha Kizito, mbeera Kawempe.

Nalabagana ne baze mu 2013 ne twagalana mu mukwano omuzito. Oluvannyuma lwa buli omu okwetegereza munne, twasalawo okukola obufumbo.

Entandikwa y’obufumbo yali nnungi kuba twali tukwatagana era nga tubeera Mpereerwe mu maka gaffe.

Buli kimu omwami wange yali akinkolera nga tanjuza. Mu kiseera kye kimu nalina mukwano gwange eyali atereka ebyama byange.

Ono namusembeza nnyo kuba ne mu kisenge yali atuuka! Okumanya twali tukolagana, engoye twayambalanga zimu, nga tucakala ffembi n’ebiringa ebyo. Saamanya bulabe bugenda kuva mu kino kuba nali mmwesiga.

Engeri mukwano gwange gye yakwataganamu ne baze ne batuuka n’okuwaanyisiganya ennamba z’amasimu yanneewuunyisa.

Mukwano gwange yatandika okunsiiga enziro ewa baze ng’amugamba nga bwe ndi omwenzi, omuyaaye n’ebirala.

Nalabira awo ng’omwami takyammuka nga n’embeera ze zikyuse. Ekiseera kyatuuka ng’omusajja takyakomawo waka, nga bwe mmukubira essimu takwata.

Amawulire gantuukako nga bw’apepeya ne mukwano gwange. Nasuula enkessi era nabakwata lubona nga basinda omukwano.

Amaziga gampitamu kyokka mukwano gwange ensonyi yazifuula busungu.

Yanzigulako empalana n’ankubiranga amasimu nga yeewaana nga bwe yansinga ‘ekitone.’ Bazadde bange ensonga nazibayitiramu ne bampa amagezi nviire omusajja.

Waayitawo akaseera katono nga nvudde mu maka, baze n’ayingizaawo mukwano gwange n’atandikirawo okufumba era bali bombi.

Ekyewuunyisa, omuwala ono kati ansaba mmusonyiwe nti tuddihhane naye nkyamwebalama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...