
Ssenga, nkole ki okufuna amazzi n’okusumulula obusimu? Nkole ntya okuddamu okufuna obwagazi? Ndi nnakawere.
Mwana wange, mu butonde nnakawere tatera kubeera na bwagazi. Mukama yatutonda nga bw’omala okuzaala, oluusi osobola okulwawo okudda mu mbeera y’okwagala okwegatta. Kino kiyamba omukyala obutafuna lubuto.
Ate bw’oba oyonsa, embeera mu mubiri ekugaana okufuna olubuto kubanga obusimu obuyamba okufuna olubuto bubeera butono.
Embeera eno ya butonde. Ate waliyo bannakawere ng’embeera ey’okubeera nnakawere y’ereeta obuzibu. Abakyala abazadde mukimanyi nti okuzaala mulimu, era bannakawere babeera bakoowu naddala bw’otofuna akuyambako.
Kaale okubulwa obwagazi oyinza okuba ng’obukoowu bwe bukireeta. Era ssinga obukoowu buggwaamu, n’omubiri ne gudda mu mbeera eya bulijjo, obwagazi ogenda kubufuna.
Ekirala, bannakawere ebirowoozo okusinga bibeera ku mwana, ne beerabira omusajja era n’obwagazi eri omusajja bufa.