TOP

Maama yankweka obulwadde

Added 26th July 2016

Nazaalibwa n’akawuka ka siriimu naye okumira eddagala mu budde n’okukkiriza nti nnina akawuka ka siriimu binnyambye okuwangaala.

 Mayambala

Mayambala

NZE Isaac Mayambala 27, nazaalibwa n’akawuka ka siriimu naye okumira eddagala mu budde n’okukkiriza nti nnina akawuka ka siriimu binnyambye okuwangaala.

Nakula mmira eddagala naye nga simanyi lwaki ndimira kuba maama teyasooka kumbuulira mazima.

Bwe natuuka mu P7 ne nneekyawa nga nkooye okumira eddagala ate nga siri mulwadde. Ekiseera kyatuuka ne ntandika okulwala kuba nali sikyamira ddagala nga njagala ambuulire lwaki ndimira.

Maama yagenda ewa bakansala ababudaabuda abantu ku ddwaaliro e Kitebi n’abasaba bambuulire amazima.

Lumu maama yannimba nti waliyo omukolo e Kitebi tugende ffenna era olwatuukayo bakansala ne batwaniriza ne batutwala mu kasenge.

Baasooka kumbuuza oba mmanyi ku kawuka ka siriimu ne mbategeeza nti mpulira bakoogerako nti bulwadde bwa ttabbu nnyo era tebuwona. Baakantema nti nange akawuka ako nkalina nga nazaalibwa nako, nti y’ensonga lwaki mmira eddagala.

Ensi nawulira ng’entamye ne mpulira nga njagala kugwa maama mu bulago mmutuge. Namubuuza lwaki yanzaala n’obulwadde.

Olw’obusungu obungi nava awaka ne ηηenda ewa taata e Mengo kuba ebiseera ebyo baali baawukanye.

Bakansala bambuulirira okumala ebbanga era ne banfunira n’abampa ssente okuddayo okusoma.

Obulamu bwange natandika okubukyusa mpola era nabo bantegeeza nga bwe baali abalwadde naye weebali ate basanyufu.

Nasooka ne ndwala olw’okweraliikirira nga ndowooza ηηenda kufa naye kasita nakkiriza mu mutima nti ndi mulwadde nti ate bwe nnamira eddagala nja kuba bulungi natereera era obulamu ne budda engulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...