TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Enkula y'akabina k'omukazi eraga endigida ye mu kisenge

Enkula y'akabina k'omukazi eraga endigida ye mu kisenge

Added 26th July 2016

Obubina bw’abakazi bulimu ebika ebikunukkiriza mu mwenda ng’abagoberera enkula z’abantu bwe balaba engeri akabina gye kawundiddwa, babeera babikwataganya n’enneeyisa y’omukazi mu by’omukwano awamu n’embeera ze ez’obuntu.

 Omuvubuka ng'apimapima akabina k'omuwala

Omuvubuka ng'apimapima akabina k'omuwala

AMAASO ssinga gaali galya ag’abasajja gandibadde gakkuta dda! Omusajja buli lw’akulemberwa omukazi, amaaso gabeera tegava ku kabina ng’olwo abasinga babeera mu kukuba bufaananyi. Abalala basukkawo ne bafumiitiriza ne ku nneeyisa ye eya bulijjo.

Obadde okimanyi nti kibeera kizibu omusajja okuyita ku mukazi oba omuwala naddala ng’anyirira n’atakyusa nsingo kutunula ku kabina okulaba engeri gye katekena? Ab’amaddu amangi beesanga beekoonye oba okutomera, abalala ng’ebirowoozo byonna bissiddwa ku ‘bbuutu’ y’omukazi amuyiseeko.

Abakazi nabo akabina bakakozesa ng’akamasu okuleka abasajja nga balookalooka anti abamu babigula ne bateekamu n’ennyongeza.

Abalala beesala obuwale obw’oluwuzi ne batambula nga kasagala. Mulimu n’abatambula nga beereere munda; ηηamba nga tebataddeemu kawale olwo n’akakikinaza n’akirako ensejjere eyingira enkata.

 

 
Omusajja ng’apimaapima akabina k’omukazi.

 

EBIKA BY’OBUBINA:

Obubina bw’abakazi bulimu ebika ebikunukkiriza mu mwenda ng’abagoberera enkula z’abantu bwe balaba engeri akabina gye kawundiddwa, babeera babikwataganya n’enneeyisa y’omukazi mu by’omukwano awamu n’embeera ze ez’obuntu.

Akabina akeekulungirivu

Kigambibwa nti abakazi abalina akabina akeekulungirivu nga kaawundibwa ng’ekibala kya appo, mu bulamu bwabwe tebeemotyamotya era beewulira nga basobola buli kintu. Omukazi bwati tatya kwaηηanga buli mbeera.

Bwe gutuuka mu buliri banyumirwa nnyo akaboozi era omusajja okumwaηηanga alina okwesiba ebbiri kuba ayinza okumunywesa amazzi. Batera okubeera abeesimbu, abatuukira ku nsonga yadde oluusi banyiiga mangu.

Abakazi aboobubina obwekulungirivu gye bakoma obutatya kwaηηanga buli mbeera gye bakoma n’okwagala ensimbi.

Mu byobulamu abakazi abalina obubina obwekulungirivu tebatera kukwatibwa bulwadde nga ssukaali n’endwadde z’omutima nga puleesa.

Akabina akaggumira wansi (ab’endoddo y’ebbina):

Abakazi bano babeera n’akabina akanene nga kaakula kaggumidde ku kikolo okufaanana bbebi ayambadde ppampa ereebeeta wansi olw’omusulo omungi ogulegamyemu.

Bwe babeera batambula batekenya nnyo akabina olwo ne baleka abasajja nga beeswanta nti nnyabula oyo ne mmala mukwatako tutoloba.

Kigambibwa nti babeera bakalukalu nga bw’aba yasiimye omusajja, amutega obumasu okulaba ng’amutengula omutima. Abasinga babeera tebaweeza musajja ate balimu olugabanguzo.

Tebalina nsonyi era tebasanga buzibu kujerega musajja ssinga abeera akoze amajaani mu buliri. Bakola nnyo emikwano era batambulira nnyo ku mulamwa gw’obutaterebuka.

Ng’oggyeeko okubeera n’omulimu mw’aggya ensimbi, abakazi bano tebasanga lusozi kuggya nsimbi mu basajja olw’obumalirivu bwabwe.

Wabula Winnie Nakalyango agamba nti omukazi okubeera n’akabina akanene ebiseera ebisinga tekitegeeza kubeera musuffu mu buliri.

Agamba nti abasajja ababuuka n’abakazi ab’obubina obunene bayinza okumutwala mu kisenge n’amwejjusa. Ekisooka babeera beemanyi Enkula y’akabina k’omukazi eraga enneeyisa ye mu kisenge nti balabika bulungi era n’ebya Ssenga bo tebabitwala nga kikulu.

Agamba nti omukazi alina akabina ak’ekigero abeeramu ekirungo era abeera musuffu mu kaboozi .

 

Abalina akabina nga lubaawo.

Omusajja bw’aba wa kumutwala mu buliri alina kumutega ‘ppiro’ oba akatto okumuggyamu omwasi n’okwewala okuvaayo n’ebinuubule. Kigambibwa nti abakyala ab’engeri eno babeera baakunoonya nnyo ate baba bafunda.

Bwe basanga omusajja awera bombi bagenda okuva e Namboole nga kyenkana banuubuse.

Wabula bwe gutuuka ku kukola bizinensi babeera bafunyi ate nga balina emikisa nga bagenda mu maaso. Babeera n’ebiruubirirwa by’okugenda mu maaso era tabaweera nga tabatuuse ku buwanguzi.

Ab’akabina akeeweta ne keeveera nga kadda munda.

Kano ke kabina akaawundibwa nga kalinga akadda munda gye kasembera wansi. Abakazi abalina akabina ak’engeri eno batera okubeera ab’amazima ate nga bakkakkamu. Bano omusajja bamuwa omukwano ogwannamaddala. Bwe kubeerakugenda Namboole omusajja amuweera ddala ekyanya okunyumirwa olutabaalo.

Akabina akagaziyira mu mabbali ku makudde.

Abakazi abalina akabina akagaziyira mu mabbali wansi ne kalabika ng’ensawo baboogerako nti babeera ba mazima mu by’omukwano ne mu bufumbo. Tebatera kubeera na muze gwa kubaliga. Ekizibu kye balina tebatera kwekakasa kimala oba okubeera n’obumalirivu ku bye bakola okusobola okugenda mu maaso.

Akabina aka nsoobanye:

Abakazi abalina akabina aka nsoobanye babeera baawundibwa ng’oludda olumu lunene okusinga ku lulala.

Omukazi alina akabina ng’oludda olwa kkono lunene okusinga ku lwa ddyo tatera kubeera na mukisa gwa kubeera mu bufumbo. Ate omukazi alina akabina ng’oludda olwa ddyo lunene okusinga ku lwa kkono atera okubeera n’ebizibu mu bulamu.

Tatera kuwangaalira ku mirimu, tatera kuwangaaza basajja ng’abasinga banyumirwa kumulozaako ate ababeerako naye tebatera kuwangaala naye mu mukwano.

Bwe baba bagenze mu leeba bakaluubirirwa nnyo okusukuma omwana ng’abasinga babatwala ku kiso okusumulukuka.

Akabina akaliko obwoya

Abakazi abalina akabina akaliko obwoya babeera bantubalamu ate nga bakolaganika nabo. Bano babeera bantu ba bitone era bwe babeera bakola ekintu balaga nti bakyagala.

Bwe batuuka mu kitanda babeera basumuluzi ba nsulo balungi ate nga baanoga ne ssukaali. Abasajja bwe batuuka ku bano babeera tebaagala kubata olw’engeri gye banyumisa ekyeso.

Akabina akaliko amabala Abakazi abalina akabina nga kaakula kalina ebbala oba amabala babeera n’okwagala ate babeera bagumu. Bawangaala nnyo ku nsi so nga banyumirwa nnyo akaboozi.

Bwe bafuna omusajja ne bamwagala bayinza okumussa omukwano naye n’amatira.

Akabina ak’ebinywa.

Abakazi abalina akabina akalimu engeri y’enguudo eziraga ebinywa ne balabika ng’omuntu asitudde obuzito oba okuzimbya emifumbi babeera bekkiririzaamu, baba bagezi ate nga ba maanyi.

Abasajja bagamba nti abakazi ab’engeri eno babeera babatya nga bayinza okukufutiza mu nnyumba. Enkula yaabwe abasajja nayo tebagimatira nga bagamba nti obeera ng’ali ne musajja munno.

Wabula Dr. Robert Ssenfuma akolera e Makindye eyakuguka mu kujjanjaba endwadde z’ekikaba agamba nti enkula y’akabina k’omukazi yandibadde teyeesigamizibwako nneeyisa za mukazi eza bulijjo ne ky’ali mu kisenge.

Agamba nti abakola okunoonyereza kuno bwe bakwataganya abantu ab’enjawulo n’enneeyisa zaabwe oluusi ne zifaananamu nga bakitwala nti bonna bwe bali ky’agamba nti tekikwatagana.

Agamba nti waliwo abantu abayiza okufaanana mu nneeyisa eya bulijjo kyokka kizibu okukikwataganya n’enkula y’akabina kubanga tebirina ngeri gye bikwataganamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...