TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muyambe abaami bammwe okwekulaakulanya

Muyambe abaami bammwe okwekulaakulanya

Added 26th July 2016

NTUUSA okusiima kwange okuviira ddala wansi w‛omutima gwange eri mmwe bawala bange abakutte obulungi omumuli gw‛obufumb o. Omulamwa gwe muliko mutuufu nnyo kubanga y‛ensibuko y‛essanyu mu nsi yonna.

NTUUSA okusiima kwange okuviira ddala wansi w‛omutima gwange eri mmwe bawala bange abakutte obulungi omumuli gw‛obufumb o. Omulamwa gwe muliko mutuufu nnyo kubanga y‛ensibuko y‛essanyu mu nsi yonna.

Wabula ku mulundi guno ndaba nga waliwo ensonga gye mutakutte bulungi. Eno yeekuusa ku nkulaakulana mu maka gammwe.

Temukoze kimala kuyamba basajja kweggya mu bwavu era eno y‛ensonga lwaki waleti zaabwe si nsanyufu ng‛enjogera y‛ennaku zino bw‛eri.


Abasajja abafumbo abakuba empale ebiraka n‛okwambala empale ezibabiridde mmwe bakyala baabwe muvunaanyizibwa kinene. Okusooka mubasimbamu oluseke oluwanvu ne balemwa okufi ssaawo akasente ke batereka mu nsawo.
 

Ebizibu byammwe tebiggwa era mwezira kulaba musajja ng‛afunyeewo ku ssente olwo ne mutandika okwekabya n‛okusinda ebizibu. Bangi ku mmwe mu kifo ky‛okuzimba batabani bange ate mubazimbulula.

Mwagala nnyo okutambulira mu bulamu bw‛okweglaga olwo ensi ebalabe nga bwe mwatuuka okusinga okutegekera obulamu obw‛enkya.

Bw‛oba oyagala okwogerwako ng‛omukazi eyanaaba olweza olwanoga, olina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo naddala obw‛okukwata obulungi ssente z‛omusajja wamu n‛okumuluηηamya.

Eby‛okumusimbamu oluseke n‛obutamuwabula ku nsaasaanya ya ssente bijja kukufuula omukazi ayagerwako ng‛atalina mukisa mu maka.

Bangi ku mmwe mulemedde mu mizigo lwa kweggyako buvunaanyizibwa ku nsonga eno. Mufeeyo okumanya ssente omusajja z‛afuna musobole okuzitemaatema obulungi. Kino kiyinza obutaba kyangu naddala ku basajja abamu naye singa omusajja omukwata bulungi mu mukwano osobola okumuggyamu omwasi.

Eri omusajja akola omusaala, osobola okumuyamba okutereka ku ssente zino buli mwezi. Mugguleewo akawunti muterekeko ssente okumala akabanga ze muyinza okukozesa okwekulaakulanya.

Ate oyo ayingiza buli lunaku, era mukole enteekateeka z‛okutereka. Ebyo eby‛okulowooleza mu kulya buli ssente munno gy‛afuna, okugula olugoye olupya buli mwezi n‛okwejalabya bijja kubasembya.

Mu ngeri endala mweggyeemu omuze gw‛okukuula abasajja n‛okubanyaga.Abasajja bangi bali ku bunkenkene lwa bakazi baabwe kubabbako byabwe.Waleti muzikwatamu, mubakolako enjawulo sso nga n‛ebyetaago byammwe mubiyitiriza.

Bino byonna tebiyinza kubasobozesa kugenda mu maaso okuggyako okubakuumira mu mbeera y‛obwavu ebbanga lyonna.

Muyambe n‛abasajja okuba abatetenkanya mu nsi. Mubazuukuse okugenda okukola mu budde okusinga okubabikka n‛oluusi obutabaganya kukola. Akuume.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...