TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okubuulirira abalenzi: Tolemesa munno kukuyonja ng'omazeemu akagoba

Okubuulirira abalenzi: Tolemesa munno kukuyonja ng'omazeemu akagoba

Added 2nd August 2016

MPULIRA nti batabani bange abamu mulemesa bannammwe abo okubalongoosa oluvannyuma lw‛emikolo.

MPULIRA nti batabani bange abamu mulemesa bannammwe abo okubalongoosa oluvannyuma lw‛emikolo.

Mmwe abakola kino mumanye nti muli mu nsobi nnene. Ye musulayo mutya batabani? Mwebale kufaayo kulabirira bannammwe abo ne mutabajuza.

Wabula abamu ndaba ng‛ensonga z‛ekisenge muzikutte bubi. Mulowooza nti ekya munno okukulongoosa oluvannyuma lw‛emikolo nkola ya kikadde.

Abamu mwekwasa nti munno okukulongoosa kiraga nga bw‛omufuga obumbula.

Naye abamu temukimanyiimu makulu. Okusiimuula kuno kuyamba nnyo omusajja obutafuna bulwadde obuva ku ‘ssupu‛ wa munne aleetebwa akazannyo k‛okwegatta.

Ate obuwuka buno, buleeta endwadde nga n‛emu y‛eyo ereetera omusajja okusiiyibwa mu busajja n‛abeera nga yeetakula buli kiseera.

Ne bw‛abeera mu bantu aba takyakifaako kubanga abeera awulira obumusokya.

Ate oluusi ‘ssupu‛ ono ayinza okukuleetera okuwunya olwayo; kubanga oluusi oyinza okuba nga gwe weegasse naye alinamu ekirwadde ng‛avaamu ‘ssupu‛ awunya.

Laba naawe bw‛ogenda n‛ekisu ekyo ne kikubeerako! Kale nno kye kiva kiba ekirungi omusajja okukkiriza munne gwali naye mu buliri amuyiseeko olugoye luli olw‛emikolo (enkumbi) abakyala lwe bategeka nga bagenda okwegatta.

Naye waliwo amawanga agamu agatamanyi kya kulongoosa musajja ng‛akagoba kaweddemu. Mu mbeera eyo, kyandibadde kirungi omusajja n‛anaaba buli lw‛amalamu akagoba.

Ne bw‛aba takikoleddeewo naye waakiri oluvannyuma lw‛eddakiika nga 20. Oba kale bwe kaba ng‛akaboozi kaabaddewo mu ttumbi, akeere ku makya anaabe, aleme kugenda mu banne ng‛abawunyira olwayo.

Abasajja abamu ekibagaana okunaaba nga bamaze okwegatta n‛abawala, kuba kwagala kusigala nga beematiza olw‛obuwanguzi bwe baatuuseeko olw‛okunuuna ku sukaali w‛abakazi abalungi ng‛abo.

Baba nga baabatawaanya mu kubakwana! Oluusi kuba kwagala kungi kwe balina gye bali. Naye ng‛ekituufu kiri nti weeyonje ng‛akaboozi kawedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyabbye enkoko bamukubye mi...

Abatuuze baamukubye emiggo wabula nga bw’alaajana ng’agamba nga bw’atali mubbi ng’enkoko baagimuwadde buwi.

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...