TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebizza ebbugumu mu kisenge kyammwe

Biibino ebizza ebbugumu mu kisenge kyammwe

Added 4th August 2016

Buli muntu ali mu mukwano buli kiseera anoonya engeri gy’agulunga bombi basobole okunyumirwa n’okuguwangaaza. Lwakuba batono abafaayo oguguyiiyiza, n’oluusi ekivaamu kwe ‘kubowa’, oluusi buli omu essanyu n’atandika okulinoonyeza awalala.

 Abaagalana nga bali mu mukwano mu kisenge

Abaagalana nga bali mu mukwano mu kisenge

Buli  muntu ali mu mukwano buli kiseera anoonya  engeri gy’agulunga bombi basobole okunyumirwa n’okuguwangaaza. Lwakuba batono abafaayo oguguyiiyiza, n’oluusi ekivaamu kwe ‘kubowa’, oluusi buli omu essanyu n’atandika okulinoonyeza awalala. Okwewala omukwano gwammwe okutuuka ku ssa lino; buli olukya leetayo akapya akanazza obuggya laavu yammwe;

1 Weenyigiremu butereevu. Ku ludda lw’abakazi batono kino abakifaako, sso nga buli lw’olaga munno nti omuyoya ne kye mugendako okyesunze naye ayongera okuwaga era buli lw’alowooza ku kwesanyusa ggwe omujjira mu bwongo.

2. Temwesiba mu kisenge oba mu buliri wokka. Bwe mugendako awutu  munno musendesende omutwale mu kafo akaziyivu mufunireyo ka ddoozi  ak’okweyokyayokya, oba ke wandiyise ‘kwiki’.

3. Bwe muba mumanyidde kunyumiza mu nzikiza, olw’olumu ebintu mubiriire mu ttaala. Abasajja banyumirwa nnyo okulya ng’emmere agirabako n’amanya awali ssupu w’alina okukoza okusinga bw’awammanta ng’ali mu nzikiza, oluusi ekimuleetera n’okutomera ebisenge.

4. Abavubuka muyinza okugezaako akakodyo k’omusajja okusibira munne ku nkondo y’ekitanda wabula mu ngeri etemulumya ne mutandika akazannyo. Wabula kino mulina kusooka kukikkiriziganyaako, era munno bw’aba tabyagala tomukaka.

5. Mwemanyiize okulaba ku butambi oba firimu ezirimu ebyomukwano. Zino ennaku zino osobola okuzifuna mu bwangu. Kizibu okulaba firimu z’ekika kino nga muli mwembi ne mutacamuka, era nkulayirira temujja kugimalako nga temunnatandika nammwe ‘okuzannya eyammwe’.

6. Bwe mubeera eyo mwekka buli omu ategeeze munne ebimusanyusa mu kisenge. Okugeza bw’oba onyumirwa nnyo ebbakuli munno kimutegeeze n’engeri entuufu gy’alina okukikolako. Bwe mutandika emboozi eyo, kizibu obwongo obutacamuka.

7. Kozesa olulimi lw’omukwano. Abantu abamu bacamuka singa munne amuwemulamu empolampola. Bw’omanya nti kino munno kimukolera lwaki ate kikulema okumukolera? Wabula weewale okuyitawo kubanga ate biyinza okumunyiiza.

8. Bwe muba mu buliri, oluusi kijja kukwetaagisa okukozesa ku maanyi amatonotono. Kino kisinga ku ludda lwa musajja. Buli mukazi yeetaaga olw’olumu okumukwatamu n’amaanyi akuwulire nti oweramu omusera. Naye buli kiseera bw’oba omukwata ng’akwata eggiraasi tajja kukuwulira bulungi, wadde ng’ayinza obutakikugamba.

9. Yiga engeri gye weenyonyoogera mu bitundu byo eby’enjawulo ng’oli mu maaso g’omwagalwa wo mu ngeri emusikiriza asobole okucamuka. Kino kijja kumulaga nti ky’oliko okimanyi era ky’omusaba okyekakasa.

Ggwe ewuwo  kiri kitya?  Mukola mutya okukuuma ebbugumu mu kisenge kyammwe?

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.