TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi abamu basasula mu saluuni okubamwa mu mbugo

Abakazi abamu basasula mu saluuni okubamwa mu mbugo

Added 5th August 2016

OKWEWUNDA kw’abakazi tekuggwaayo! Bw’oba obadde olowooza nti bakoma ku kusasulira kubalongoosa njala za ngalo n’ebigere, okubakuuta ebigere, okubakola ku nviiri ne ffeesi, oba okubyula amaaso n’emimwa, ebyo oli ku bikadde.

 Omuwala ng’akozesa ‘wakisi’ okwemwa obwoya ku magulu.

Omuwala ng’akozesa ‘wakisi’ okwemwa obwoya ku magulu.

OKWEWUNDA kw’abakazi tekuggwaayo! Bw’oba obadde olowooza nti bakoma ku kusasulira kubalongoosa njala za ngalo n’ebigere, okubakuuta ebigere, okubakola ku nviiri ne ffeesi, oba okubyula amaaso n’emimwa, ebyo oli ku bikadde.

Kati abakazi abamu bagattako okusasulira n’okubamwa mu mbugo. Abakazi abamu tebakyalina nsonyi bwe kituuka ku kwewunda.

Teebereza omukazi okugenda ew’omuntu omulala atali muganzi we oba omusawo agenda okumujjanjaba kyokka bw’atuuka eyo n’amweyambulira okumumwa mu mbugo!

Bano batera kubeera bavubuka naddala abasoma mu yunivasite n’amatendekero amalala n’abadigize nga banoonya okukola eky’enjawulo ku ngeri gye bamwa mu mbugo.

Okumwa kukolebwa abasajja oba abakazi kyokka kigambibwa nti abawala ate bettanira nnyo abasajja okubakolako nga bagamba nti be bamanyi okubakwata obulungi.

ENGERI Y’OKWESALIRA:

1 Kuno kulimu ebiti eby’enjawulo. Mulimu abakozesa ejjirita wadde nga zitera okubutula naddala ssinga ebeera nkadde.

2 Abalala bakozesa makansi ate waliwo n’abakozesa obumweso obumanyiddwa nga ‘shaver’, kyokka buno tebwetaaga asakaatidde nnyo.

Omuwala bwe yeesalira obulungi ng’ono tatya kwambala bugoye buwugirwamu.

 

3 Abasasulira okubamwa basinga kwettanira enkola ya ‘waxing’ nga wano balina oyiro oba engeri y’ebizigo bye basiiga mu kifo we baagala okumwa era amalawo akaseera katono ne bakwasizaako engeri y’akagoye nga kano ke kabembulwako obuviiri bwonna ne buvaawo ne wasigala kawerette.

4 Waliwo abakozesa ebizigo ebimanyiddwa nga ‘shaving creame’. Bino obisiiga mu kitundu ky’oyagala okwesalira n’obirekako okumala akabanga, oluvannyuma n’onaabawo n’amazzi agannyogoga. Ebizigo ebyo biba bya maanyi era w’otuukira okunaaba nga tekikwetaagisa kukozesa kintu kyonna okuggyako obuviiri obwo.

5 Waliwo abakozesa makansi okwesalira mu bifo bino. Bano bwe baba beesalira basinga kutoolako katonotono. Abantu abettanira okwemwa bagamba nti bakikola lwa kwekuuma nga bayonjo kuba buli lwe weeyambulira omwagalwa wo nga wenna osakaatidde, akulabira ddala ng’omuntu omucaafu.

Abalala bagamba nti bw’olwawo okwemwa obeera n’akasu akayinza okukuvaamu n’owunyirira banno naddala ng’otuuyanye.

ENKOLA YA ‘WAXING’:

Ayagala okumukolako agenda mu kasenge gye yeeyambulira ne bamuyiwako woyiro oba okumusiiga ebintu ebiringa ebizigo w’ayagala okumumwa ne babembulako obwoya bwonna.

Abamu bakikola mu nkwawa, abalala ku ntumbwe oba ku mikono so nga wabaawo n’abakolwako mu mbugo.

Okukukolako osasula ssente ezitandikira mu 10,000/- n’okugenda waggulu. Abettanira enkola eno bagamba nti obwoya bwe buggyibwako bwonna bulwawo okumera nga kiyinza okutwala wakati wa wiiki ennya n’omukaaga okuddamu okumera.

Moses (eyasabye erinnya lye eryokubiri lisirikirwe okwewala okutiisa bakasitoma be) agamba nti agenze okukola ‘waxing’ yeerondera omuntu gw’ayagala amukoleko kuba wabaawo abasajja n’abakazi.

Nakalema

 

Wabula agamba nti ate abawala oluusi babeewuunyisa bwe basaba abasajja okubakolako. Bano abamu bajja nga baagala kubaggyako bwoya bwa ku ntumbwe zirabike kawerette, abalala gibeera mikono na mu nkwawa.

Mulimu abaggyibwako omuttunta gw’omu maaso ate abalala basasula okubamwa ku lubuto so nga waliwo abasukkawo ne basaba okubamwa mu mbugo.

Abakolwako basooka kunaabako olwo bwe bakala nga babawa obusuuka oba engeri ya busikaati era Moses agamba nti buno bwe buwenjulwa okumwa ekitundu kasitoma ky’ayagala.

Agamba nti abaagala okubamwa mu nkola ya ‘waxing’ batera n’okukaluubirizibwa okwemwa naddala wakati mu magulu nga bwe bafuna akikola obulungi, ssente bazisasula.

Diana omu ku bawala abatagwa kubamwa agamba nti wadde olumu balumizibwamu nga bagagambula okubaggyako obwoya naye olususu lubeera luweweera ne balabika bulungi.

Agamba nti bwe kubeera kubamwa mu mbugo bambala obugoye obulinga obuwugirwamu oba obuwale obw’oluwuzi nga buno bwe bawenjula okubamwa.

Agamba nti yali akoleddwaako abakazi n’abasajja naye asinga kwettanira basajja kuba bakikola bulungi, babeera beegendereza ate bafaayo okunyiriza omulimu gwabwe yadde oluusi bafunamu ku nnyonyoogeze.

Agamba nti abakazi nabo bakola naye abasajja bamukolako bulungi. Wabula agamba nti waliwo omukazi mukwano gwe  bwe batera okusisinkana ku saluuni ebakolako nga ye akolwako mukazi munne kuba abeera awulira ensonyi n’ennyonyoogeze omusajja nga y’amukolako.

Diana agamba nti abeera yeewundira muganzi we kuba ye oluusi kimukaluubiriza okwemwa wonna w’ayagala ate nga teyandyagadde nnyo kusaba muganzi we kumumwa ng’agamba nti watya bw’abeera azise n’amulaba ng’atali muyonjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...