TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obadde okimanyi nti waliwo enneebaza y'omukisenge ereetera Abasajja okwongeza ggiya ? Ssenga wa Bukedde akuttottoledde

Obadde okimanyi nti waliwo enneebaza y'omukisenge ereetera Abasajja okwongeza ggiya ? Ssenga wa Bukedde akuttottoledde

Added 9th August 2016

Obadde okimanyi nti waliwo enneebaza y'omukisenge ereetera Abasajja okwongeza ggiya ? Ssenga wa Bukedde akuttottoledde

 ng’awummulidde mu kifuba kya munne .

ng’awummulidde mu kifuba kya munne .

ABAAGALANA okusiima emirimu gy’ekisenge kimu ku birungo ebikulu ebiwoomesa omukwano. Ate n’Abaganda bagamba nti; weebale weebale amala ebintu, ekitegeeza nti okwebaza kulimu ekyama eky’enjawulo. Justine Kakooza, 52 omutuuze w’ e Mengo agamba nti Abaganda bassanga nnyo essira ku nsonga y’okwebaza naddala mu kisenge.

Agamba nti omwana bwe yavubukanga ng’atendekebwa ku nsonga zonna eziyamba obufumbo okutojjera. “Mu zino mwalingamu obuyonjo, okubudaabuda omwami, okumutikkula, okumuyonja, okumukulisaayo n’okumwebaza naddala emirimu gy’ekisenge. Omukazi yenna eyalemwanga okuyiga bino nga tayinza kuganja mu ddya.

” Agattako nti okuva edda ng’ebigambo by’okusiima n’okwebaza omusajja emirimu gy’ekisenge omukazi omufumbo yenna ateekeddwa okubikwata obukusu okusobola okwegulira obuganzi. Emikolo olwaggwanga ng’ateekeddwa okumwebaza n’ebigambo eby’enjawulo ebiviira ddala wansi w’entobo y’omutima gwe ate mu ddoboozi ery’eggono. ‘Nneeyanzizza nneeyanzege munnange. Nsiimye nnyo taata nsiimidde ddala, nsiimye bwongerwa.

Ndikumma okulya ne nkulyowa omwoyo.’ Ebigambo nga bino nga tebiyinza butazza mu musajja ndasi. Mu ngeri endala nga bimuyamba okwekkiririzaamu n’okwewulira obusajja mu maka. Amaka agatambulira ku mulamwa ogw’ekika kino tegatera kuva ku mmaapu olw’omukwano okutojjera. Wabula ku mulembe guno n’abakazi abateebaza basajja mirimu obanenya olekamu. Abasajja tebamanyi laavu. Abasinga bagwirana bugwiranyi mu nsonga z’ababiri. Tebawa bakazi budde bumala kwetegekera nsonga za mukwano.

Keneth Kalule annyonnyodde

 

Mu butuufu omusajja ow’ekika kino obulwa w’otandikira okumwebaza kubanga aba talina mulimu gw’akoze. Aisha Namale Nnaalongo, 52 ow’e Kyamufumba, Butuntumula mu Luweero agamba nti omukazi okutuuka ku ssa ly’okwebaza omusajja emirimu gy’ekitanda alina okuba ng’asanyusiddwa ekimala. Agamba nti mu mbeera eno omusajja alina okuba omukugu mu nsonga z’ekisenge ng’amanyi n’okuziteekamu ebisoko.

Okutuukiriza bino, omusajja alina okuba omukugu mu kutegeka munne. Kino akituukiriza ng’akozesa ebitundu bye eby’omubiri omuli olulimi, engalo n’ebitundu ebirala. Bw’alaba nga munne ayidde era ng’atandise okuyiikayiika ng’omulwadde omuyi, ng’olwo atandika emikolo nga bw’amugamba nti, Nnyabo, omugenyi wo wuuno muleke ayonke.

Ng’olabye n’omugenyi wo (kuno kusaaga). Kyokka naawe tonseera mukwano kubanga kye nkola okyagala. Hajjati, Nalubowa, Namazzi, Nanfuka, mukwano (n’amannya amalala agooleka omukwano). Kuma omuliro nkuweereze ebibyo. Naye onjokezza nnyo mukwano! Wabula bino byonna bigenda mu maaso nga n’omukazi bw’amwanukula n’ebigambo ebimuzzaamu endasi.

Kuno kw’agatta okumubudaabuda n’okumulongoosa mu ngeri ey’omukwano. Ekizibu abakazi abamu kino bakikola kweggyako. Bano bwe baba balongoosa omusajja bamufaananya ekyuma kya mmotoka. Mu kifo ky’okunyumirwa ate musajjawattu n’afa obulumi.

Mu nkola entuufu omukazi alina okumanya obulungi ebikolwa ebizza mu musajja amaanyi omuli okumuweweeta entula ne mu nkwawa. Ayinza n’okumukuula akooya kamu mu nkwawa olwo omusajja n’acankalana n’atuuka n’okuyimba ennukuta za walifu okuva ku ‘a’ okutuuka ku’ u’.

Mu kiseera kino omusajja w’amaliramu akagoba olwo omukazi n’akoleeza ebigambo by’okumusiima n’okumwebaza olw’okutabaaza obulungi akasimu.”Nneeyanzizza mukwano, kulikayo nnyo. Gwebale ogwo ssebo, nsiimye bwongerwa...” n’ebirala.

LWAKI TEBAKYEBAZA?

Namale agamba nti abakazi tebakyalina bwagazi bwa kwegatta olw’okukozesa enkola z’ekizaalaggumba. Mu mbeera eno agamba nti abasajja beerwanako bokka ne kibamalamu amaanyi.

Agamba nti eno y’ensongalwaki buli omu tekubaako afuna mbavu kwebaza munne. Ayongerako nti mu ngeri endala abakazi beefuula nnyo abakoowu y’ensonga lwaki tebakyalina mpisa za kisenge. Omusajja bw’asooloobya omukono okumuweeweeta olwo omukazi agumansula eri nga bw’amusaba akole ekyamuleese n’oluvannyuma amuleke yeebake. Ebyo ng’obitadde ku bbali, abakazi tebakyayiiyiza kisenge.

Baleka abasajja ne beekeja bokka na bokka nga bo ebirowoozo bibali walala. Tebakyakkiriza kiisi wamma abasajja ne beetamwa. Naye mu nkola entuufu, abafumbo bandibadde bayambagana mu nsonga z’ekisenge zonna omuli okuzissaamu ebisoko, okuyimba n’okwebaza.

LWAKI ABAKAZI TEBAKYEBAZA?

Keneth Kalule, 34 ow’e Nansana agamba nti waliwo ensonga ssatu lwaki abakazi ba leero tebakyebaza. 1Enkuza; Abakazi abasinga tebakyatuuzibwa kubuulirirwa ngeri bufumbo gye butambulamu. Abasajja abasinga abakazi be bawasa babasanga mu bbaala oba mu bifo by’olukale ebirala. 2 Situleesi; Abasajja bangi ebirowoozo [situleesi] ebiva ku mirimu ne mu bulamu bwa bulijjo obulala tezibaganya kumalako mu nsonga za kisenge. Bino bye bibalemesa okusanyusa bannaabwe mu ngeri entuufu.

Omukazi bw’atasanyusibwa talina w’atandikira kukiina munne. 3 Obutakkaanya mu maka; Abaagalana bangi batambulira mu bulamu bwa kusika muguwa mu maka gaabwe nga kiva ku nsonga ez’enjawulo ng’omusajja okulemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’omu maka. Mu mbeera eno abakazi bangi bayingira ekisenge nga si bamativu nga n’emimwa gibali mu nnyindo. Mu bufumbo obw’ekika kino temuyinza kubaamu kukkaanya na kwebaza.

 

OMUSAJJA ATAKUTEGEKA TOMWEBAZA

Shirat Nannungi, ow’e Kawule, Kalungu agamba nti ekigaana abakazi okwebaza abasajja lwa kubatomera butomezi. Omusajja bw’atakuwa budde kukuteekateeka n’asalawo okukutomera obutomezi ng’ayagala okwekkussa yekka tolina gy’oggya buvumu kumwebaza. Abakazi abamu baatuuzibwa kyokka balemwa okuteeka bino mu nkola lwa mbeera za basajja ez’ekika kino.

EBIGAMBO BY’OKWEBAZA BIJJA BYOKKA : Rose Kigongo ow’e Kinoni, Lwengo agamba nti ebigambo n’ebikolwa ebyebaza omusajja n’okusiima emirimu gye bijja byokka. Agamba nti omusajja bw’akola obulungi emirimu gy’ekisenge naawe ng’omukazi toyinza butamuwa bubonero na kumuwanika mu bire n’otuuka n’okumwebaza mu ngeri ey’enjawulo. Naye bw’asalawo okukola emirmu gye mu ngeri ya gadibengalye toyinza butamuggyaako birowoozo n’otuuka n’okwebikka omutwe.

ENGERI GYE BEEBAZA MU MAWANGA AG’ENJAWULO:

Haruna Mugabi ow’e Buhimba, Hoima agamba nti ewaabwe ensonga y’okwebaza ya kuyambagana. Agamba nti buli omu ku baagalana bano asobola okwebaza munne: ‘Kulikayo Amooti, weebale muno byona byonkoreire’.Wano naye asobola okukuddamu nti ‘nsiimye Adyeri’. Paul Wambede ow’e Mbale agamba nti ewaabwe omulimu gw’okwebaza gwa mukyala naddala singa munne amutuuka w’ayagala, era atera kugamba nti; ‘Wanyala naabi’. Ye Peter Kahamya ow’e Rukungiri agamba abakazi abasinga obungi ewaabwe tebamanyi kwebaza basajja oluvannyuma lw’ekigwo.

Ewaffe emikolo gy’abafumbo oluggwa ng’olwo buli omu yeebikka okutuusa enkeera’. Sarah Babirye Ndibadde ow’e Kasubi agamba nti edda abawala baatendekebwanga okwebaza abaami baabwe mu kisenge nga si nsonga wadde onyumiddwa wadde tonyumiddwa.

“Omusajja bwe yeegattanga naawe n’otomwebaza ng’akusindika ewa ssengaawo akutendeke kubanga okwebaza okwo kwe kwazzangamu omusajja amaanyi.” Ayongerako nti n’abaami abamu nabo abaali batendekeddwa obulungi beebazanga bakyala baabwe naye nga kisinziira ku ngeri gy’omusanyusizzaamu mu buliri era kwabanga kwa makulu nnyo. Omukazi eyagwangawo ng’omugogo nga teri musajja ayinza kumwebaza.

Wabula eyakuguka mu kunyeenya ekiwato ate nga ne munne amwewundira mu ngeri entuufu, nga kizibu omusajja obutamusiima.

AMAKULU AGALI MU KWEBAZA:

Okwebaza kwe kwalaganga munno nti ddala tamaze biseera okukugabira ebibye by’atawa balala. Kwatangiranga obwenzi ku njuyi zombi kubanga ssinga weebazanga munno nga tewaba nsonga lwaki ayenda nga byonna by’ayagala abifuna okuva gyoli. Okukuuma obufumbo nayo nsonga ndala lwaki okwebaza kulina okubaawo oluvannyuma lw’akaboozi. Singa ku mwembi tewaba anyega munne oluvannyuma lw’akaboozi kitegeeza nti mwembi temunyumiddwa era embeera eyo y’eba entandikwa y’amaka okuyuuga.

Okwebaza kulaga nti munno omuwa ekitiibwa. Okumala okulya n’osituka busitusi tekiraga kitiibwa eri munno. Babirye agamba nti abaagalana b’omulembe guno bangi tebamanyi kwebaza na ddi lwe beebaza. Agamba nti abasajja abamu balowooza nti tekibakakatako okwebaza munne sso ng’ekituufu kiri nti abaagalana bombi bavunaanyizibwa buli omu okwebaza munne.

WEEBAZA DDI? Mw. Abdul Ssenabulya ow’omu Kampala agamba nti okwebaza tekuliiko musajja oba mukazi, wabula buli omu alina okwebaza munne, wadde nga kikakata nnyo ku mukazi kubanga ye ebiseera ebisinga takozesa maanyi mangi mu nsonga z’ekisenge.

Okwebaza kulina kubaawo ng’omusajja amazeemu akagoba, naddala ng’agudde eri ekikoowukoowu. Wano munne w’aggyirayo enkumbi n’atandika okumusiimuula nga bw’amwebaza n’obugambo obuwoomu okugeza; “ ..bannange nnyumiddwa nnyo, kale oli muka, tewali alikunkyaaya, weebale kunfissizzaawo akadde, n’ebirala...” Ayongerako nti okwebaza edda kyabanga kya kkatala eri abaa-galana bombi naye ate ab’omulembe guno tebakyakitwalira ddala ng’ekikulu kubanga tebakimanyi ate n’ababakulira tebababuulirira ngeri ntuufu gye balina kukikolamu. Aidah Nakalanda ye agamba nti ye munne amwebaza buli lwe bamala okwesanyusa kubanga ssengaawe bwatyo bwe yamutendeka.

“Kino nze nakikwata si nsonga oba nnyumiddwa oba sinyumiddwa. Tekirina kye kinzigyako okugamba ku munnange nti, “weebale kumpa kaseera kano ak’essanyu bwe kati.” Wabula abasajja abamu balina endowooza nti tebasaanye kwebaza mukazi oluvannyuma lw’ensiitaano ng’okusiima okwabwe bakukolera mu nsawo.

Ab’engeri eno batera okugulira abaagalwa baabwe ebirabo ng’engoye, engatto n’emmotoka ng’asiima munne engeri gy’amugabira ebisoko. Ate ensiitaano bw’eteba ya waka, omusajja okusasulira ekifo, ssente z’entambula ne z’awa omukazi nga baawukana, abasinga bagamba nti bimala okwebaza omukazi nga muli e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...