TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nayagala okuzaama yaggyamu olubuto lwange

Gwe nayagala okuzaama yaggyamu olubuto lwange

Added 11th August 2016

OMUNTU okujja mu bulamu bwo ne yeefuula akwagala kyokka ng’akumalira budde bwo kiruma okukamala.

OMUNTU okujja mu bulamu bwo ne yeefuula akwagala kyokka ng’akumalira budde bwo kiruma okukamala.

Ggwe obeera omukolera ebirungi okunyweza omukwano gwammwe kyokka nga ye akukongooza bigere.

Nze Hamuzah Bukenya Kaserezi, 27. Mbeera Matugga era ndi mufumbo.

Omukazi gwe naganza ne mmwagala n’omutima gwange gwonna yasooka n’antamya abakazi era nali simanyi nti ndiwasa ne mbeera n’amaka. Ono yantama lwa kunjagalako byange ate ng’omukwano yampanga gwa bwendo. Mwanamuwala ono gwe njogerako ye Sylvia.

Namusisinkana mu 2008 ne tusiimagana era ne mmwagala awatali kwerekerayo.

Nali nneesunga nnyo okunzaalirayo ku mwana kyokka olwafuna olubuto, yaluggyamu! Ekintu kino kyannyiiza ne ndowooza ku mukwano omungi gwe nali mmuwa awatali kwekaanya.

Nneebuuza ekyamuggyisaamu omwana wange ne kimbula! Nga yaakaggyamu olubuto, nagwa mu batemu abankuba akatayimbwa ku mutwe era kata kanzigye mu budde.

Nabeera e Mulago ebbanga ddene naye bwe nadda engulu amaaso gaggukira ku maama. Namubuuza ebifa ku mwagalwa wange Sylvia n’anziramu nti tannalinnyako mu ddwaaliro. Kino kyannyiiza ne nnyongera okumwetamwa.

Nalowooza nti osanga anaamala n’ajja naye wa! Ebbanga lye namala ku kitanda saalaba ku munnange bw’ajja kunnambula.

Awo we namanyira nti omukazi yekka gwe nnina okwesiga n’okwagala ku nsi ye maama era nsaba Mukama amumpangaalize kubanga ye mukyala yekka atayinza kunvaamu ne bwe ntuuka mu kaseera aka kazigizigi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...