TOP

Kinyoozi yansiiga siriimu

Added 11th August 2016

KINYOOZI yankaka omukwano n’ansiiga siriimu. Nze Joan Namuddu, 19 mbeera Kikookiro mu kibuga ky’e Wakiso.

Namuddu

Namuddu

KINYOOZI yankaka omukwano n’ansiiga siriimu. Nze Joan Namuddu, 19 mbeera Kikookiro mu kibuga ky’e Wakiso.

Omwaka gwa 2009 gwali mubi nnyo mu balamu bwange. Omusajja omusazi w’enviiri mu saluuni emu gye nali ηηenze okunjooyoota yanneefuulira n’aggalawo oluggi.

Mu kiseera kino nali mwana muto nga nsoma mu P.7 y’ensonga lwaki saasobola kwerwanako.

Yansinza amaanyi era okukkakkana yafuna ky’ayagala. Bwe yamaliriza n’alyoka aggulawo oluggi ne nfuluma.

Bakadde bange nabategeeza ku kyali kinguddeko era ne basitukiramu okukwata omusajja ono.

Baamutwala ku poliisi oluvannyuma ne bamutwala mu kkooti n’avunaanibwa.

Mu 2012 natandika okulwalalwala endwadde ez’enjawulo ne mbeera mu mbeera eteeyagaza.

Mu mwaka ogwo gwennyini nagendako mu ddwaaliro e Wakiso okufuna obujjanjabi.

Eno gye banzigyirako omusaayi era ne bantegeeza nga bwe nnina akawuka akaleeta siriimu.

Nakkiriza okutandika obujjanjabi okusobola okutwala obulamu mu maaso. Banteeka ku ARVS era okuva olwo ndi mukazi mulamu bulungi.

Mu kiseera kino ntandise okulowooza ku ky’okufuna amaka n’okuzaala ku baana nga bannage abalala.

Nkimanyi nti okubeera n’akawuka akaleeta siriimu tekitegeeza kwawukana na mbeera ya kika kino, kubanga era mmanyi abalwadde bangi naye nga bafumbo era bazadde n’abaana abalamu.

Noolwensonga eno oba waliyo omusajja omutuufu naddala ng’alina akawuka nga nze era ng’anantuusa mu ssanyu erituukiridde ndi mwetegefu okumufumbirwa.

Ndi ku ssimu: 0776790467.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...