TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muyige okutega abaami bammwe obumasu

Muyige okutega abaami bammwe obumasu

Added 23rd August 2016

Muyige okutega abaami bammwe obumasu

 Ssenga wa Bukedde

Ssenga wa Bukedde

MUSAANYE okusiima oyo eyampa omutima ogulumirwa abalala. Ate nammwe mbasiima olw‛okujjumbira ebigambo byange n‛okubiteeka mu nkola.

Kino nange nkimpa amaanyi okwongera okubayiiyiza ebyo bye ndaba nga bijja kubayisa mu masaηη‛anzira. Ku mulundi guno ndaba nga bangi kummwe bawala bange temukoze kimala kusikiriza basajja kutuula waka.

Temukyafaayo kutega basajja bumasu mutasubwa obubaagazisa obutabava ku lusegere. Omusajja wa leero teyeetaaga kuwa ggaapu wabula okumukuumira ku lusegere mu ngeri ya ‘lyanda ku lyanda‛.Buli lw‛omuggyako ebirowoozo n‛okwefuula atalina budde bwe n‛akataayi tekasala kufuna mukazi omulala abitwala.

Ono singa bw‛akusinza ensumika ebiddirira biyinza obutaba birungi mwana wange. Mu ngeri endala muyige abasajja bammwe musobole okumanya ebyo ebibasanyusa n‛okubaagazisa awaka. Mumanye ebyo ebibaleeta akaseko ku matama n‛obumasu obubasabbalaza ng‛enjogera y‛ennaku zino bw‛eri.

Mubambalire obugoye ssonsomola obubaleka ng‛amalusu bamira muganda. Ebimalamu abasajja eyo gye bayitira by‛ebyo bye mubuusa maaso.Bangi mulowooza nti mukulanye olwo ne muva ku bintu ebisinga obungi ebukuumira ebbugumu mu bufumbo.

Mutondeewo embeera ekufuula omuntu ow‛enjawulo buli bbanga. Mukyuse emisono gy‛enviiri buli luvannyuma lw‛ebbanga eggere, mukyuse endabika y‛ekisenge EBBALUWA YA SSENGA n‛embeera y‛awaka gonna okutwalira awamu.

Omuze gw‛okwesunguusula n‛okusiba ssumbuusa temugwesembereza bwe muba mwagala okukwasa abasajja ku bumasu. Abamu mutuuka ne mu mbeera y‛okusooza abasajja, okubabigula, okubakimba n‛okubakuba obukule obw‛obunyoomi. Bino byonna bigoba abasajja n‛okuggya ebirowoozo byabwe ku mulamwa.

Abakazi naddala abakola mwe musinga okugalabanja abasajja. Abaganda bagamba nti ekisigula ennyana kiva mu kibeere. Mu mbeera eno ssente ze mufuna mulowooza nti ze zinaabamalira ebizibu byammwe ebisinga obungi ekintu ekitali kituufu. Omusajja asigala musajja era si kyangu kufuna kintu kirala ky‛omusikiza.

Ssente ezibawambye ebirowoozo ziwooma waliwo entegeeragana mu maka. Ne bw‛onoozifuna n‛ojjuza amakutiya kyokka ng‛awaka tewawali mukwano mwana wange tojja kufunamu. Ku ssente zino ze mukola muzikozese okukwegula eri abasajja n‛okwekuumira ku mulembe ku lw‛obulungi bw‛amaka gammwe.

Mweteekemu ssente okusinga okutunuulira omusajja ebbanga lyonna. Omusajja bw‛aba takuwadde ssente okugeza ez‛enviiri togufuula musango muloope.

Weeteekemu ssente onane olabe bw‛onomucankalanya. Abasajja ba leero baagala abakazi abalabika obulungi kyokka ate tebaagala kubateekamu ssente. Kino kitegeeza nti naawe bw‛onoosalawo okwekwata omusoobooza amaka gajja kuva ku mmaapu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...