TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By'olina okukola ofuule omwagalwa wo mukwano gwo

By'olina okukola ofuule omwagalwa wo mukwano gwo

Added 7th September 2016

‘OLUSOMA oluwedde lwatandika sirina wadde ekuba ennyonyi. Olwa Ssande abaana lwe baalina okuddayo, nakeera kuyitaayita mu mikwano gyange nga nnoonya ayinza okumpola nzize abaana bange ku ssomero.

 Bano baasangiddwa nga banyumirwa obulamu ku bbaala ya ‘Play’ mu kibangirizi kya Bannamakolero.

Bano baasangiddwa nga banyumirwa obulamu ku bbaala ya ‘Play’ mu kibangirizi kya Bannamakolero.

‘OLUSOMA oluwedde lwatandika sirina wadde ekuba ennyonyi. Olwa Ssande abaana lwe baalina okuddayo, nakeera kuyitaayita mu mikwano gyange nga nnoonya ayinza okumpola nzize abaana bange ku ssomero.

Nga buzibye, nakomawo awaka kyokka nasangawo akasiriikiriro. Nalowooza nti abaana beebase kyokka nnyaabwe n’antegeeza nti abaana yabazzizzaayo ku ssomero! Nabuuka mu bbanga ate ne mmugwa mu kifuba nga mmwebaza okunzigya ku muguwa.

Wano we namanyira nti Betty takoma ku kya kubeera mukyala wange, wabula era mukwano gwange kubanga annyamba mu bizibu.’

Bw’atyo Jacob ow’e Bweyogerere bw’agamba. Bw’ofuula omwagalwa wo mukwano gwo, omukwano gwammwe guwangaala, anti ku mwembi tekubaako ayagala kulumya munne nga ne bwe mufuna ekizibu, mukwasiza wamu.

Omwagalwa wo bw’omufuula mukwano gwo, omukwano gwammwe muba mugugobyemu okukukuta. Buli omu aba yeeyabiza munne n’amulaga n’ejjute erimuli ku kabina. Era kizibu okubaawo akisa munne ssente z’afuna ng’abamu batuuka ne ku ssa ly’okumanya ‘ppini nnamba’ za akawunti z’abaagalwa baabwe.

MUKWANO GWO Y’ANI?

John Bosco Baliruno, omusomesa w’embeera z’abantu mu St. Lawrence yunivasite agamba; Buli omu asobola okubeera mukwano gwo n’oluusi okwefuula mukwano gwo.

Kyokka okwawula mukwano gwo naddala mu bufumbo kyangu ng’osinziira ku bikolwa by’omwagalwa wo.

Mukwano gwo ye muntu agabana naawe kyonna ky’aba nakyo, kakibe kitono kitya. Akufaako era akakasa nti oli musanyufu, akusonyiwa ng’omusobezza, akuwuliriza era n’akuluηηamya, akuzzaamu amaanyi era takoowa kukuyambako w’ozitoowereddwa.

” Ate Ssaalongo Mustafa Sayile agamba nti; ‘Omukwano ogwa nnamaddala gutandika oluvannyuma lw’abaagalana okubeera awamu okumala emyaka 7 era ssinga baguzimbira ddala okutuusa ng’abaana baabwe bakuze, awo bafuukira ddala baaluganda. Kyokka kino kisoboka ssinga abaagalana bano buli omu aggulira munne omutima, ne baba baamukwano.

LWAKI MULINA KUBA BAAMUKWANO?

Abafumbo bangi tebaafaayo ku kya kubeera baamukwano olw’ensonga ze bawa ez’enjawulo. Era bangi waakiri yeeyabiza omuntu omulala nga bagamba nti enkolagana ebeera wakati w’abaagalana ya njawulo kw’eyo ebeera wakati w’aboomukwano.

Abamu ku bano beekwasa nti, okweyabiza omwagalwa wo kubeera kussa magi go gonna mu kibbo kimu. Wabula Teopista Lutwama, kansala w’abakyala mu ggombolola y’e Ntenjeru akulaze ensonga lwaki abafumbo beetaaga okubeera ab’’omukwano.

1 Tewabeera kwekwekereza kubanga buli omu abeera amanyi bulungi munne.

2 Obufumbo bwammwe bubeera butambulira ku kwesigaηηana, kwagalana na kwagaliza.

3 Tewabaawo kwefuula ky’otoli kubanga munno abeera akumanyi bweso.

4 Mutuukiriza mangu ebirooto byammwe kubanga mubeera mukolera wamu.

5 Mugonjoola mangu obutakkaanya obubalukawo mu mirembe era nga ku mwembi tekuliiko alumiziddwa.

ZIMBA OMUKWANO NE MUNNO

Francis Lukyamuzi, kansala w’abaami mu ggombolola y’e Ntenjeru agambye nti, ‘Ng’omukwano gwonna ogwa bulijjo, obufumbo tebulina kukoma ku kwagalana kwokka.

Abaagalana balina okufuba okulaba nga babeera baamukwano nfa nfe.

Okutuuka ku kino, abaagalana bombi bavunaanyizibwa kyenkanyi era mu bye balina okukola kuliko;

 Okugabana ebiseera eby’esanyu.

Okugeza, okwegatta ku munno ssinga abeera alina ekintu ky’akola ekimuwummuza ebirowoozo gamba ng’okulaba omupiira, okulaba fi rimu, okuwuliriza ennyimba n’ebirala. Kino kimulaga nti alina omuntu asobola okwewaayo ku lulwe.

 Okumusanyukirako. Ssinga munno abeerako ne ky’atuuseeko oba ky’asuubira okukola, bw’omusanyukirako kimulaga nti omwagaliza.

 Tokuliriza nsobi za munno kubanga kino kimuleetera okuwulira nga gw’otokkiririzaamu. Bw’aba aliko ekimulemye okutuukiriza, muzzeemu buzza maanyi.

 Mwenyumirizeemu era bw’aba akusobezza, musonyiwe. Kino kijja kutondawo enkolagana ennungi era naawe bw’olimusobya ajja kujjukira bye wamusonyiwa, naye akusonyiwe.

 Mukwasize wamu mu buli kye mukola musobole okuzimba omukwano ogw’enkomeredde mu mitima gyammwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....