TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Embeera ezigaana abakyala okucamuka nga bali n'abaagalwa baabwe mu kisenge

Embeera ezigaana abakyala okucamuka nga bali n'abaagalwa baabwe mu kisenge

Added 20th September 2016

Agamba nti abakyala balina obuvunaanyizibwa bungi olw’emirimu gye bakola ng’oluusi batwaliramu n’egy’abasajja gye balina okukola.

ABASAJJA beemulugunya ku bakyala baabwe obutacamuka mu buliri nga baagadde okusiitaana mu mukwano.

Crescent Mwebaze abudaabuda abantu agamba nti embeera abakyala abamu gye bayitamu olunaku lwonna oba mwezi ku mwezi tebasobozesa kucamuka mangu nga batuuse mu buliri. Agamba nti abakyala balina obuvunaanyizibwa bungi olw’emirimu gye bakola ng’oluusi batwaliramu n’egy’abasajja gye balina okukola.

Bagamba nti obuvunaanyizibwa buno n’obukoowu bwe babeera nabwo oluusi bibalemesa okucamuka mu buliri, olwo abasajja ne babakuba ku nsolobotto.

Abakyala abakola nga tebasiiba waka, olunaku lukeera n’azuukuka ku ssaawa nga 11:00 ez’oku makya n’ategekera abaana abagenda ku ssomero oba abasigala awaka. Kuno kw’ateeka n’okutegekera omusajja ekyenkya oba caayi ate nga naye alina okwekolako. 

Bw’atuuka ku mulimu n’akola egya bakamaabe ate olweggulo n’annyuka kyokka olumu n’abaana y’abakima ku ssomero ne baddayo bonna.

Olutuuka n’ategeka ekyeggulo kuno kw’ogatta okunaaza abaana n’okubayamba ku bibaweereddwa ku ssomero okukolera awaka. Bino byonna bigenda okuggwa balye ekyeggulo nga bambi akooye. Embeera eno omukyala agiyitamu kumpi buli lunaku era abamu beesanga tebalowoozezza ku byakwegatta.

Ssinga omwana afuna ekizibu ekiro oba n’akaaba, omukyala y’asituka kuba emirundi egisinga omusajja asigala yeebase. Embeera eno evuddeko abaagalana bangi mu bufumbo okuba nga bafuna obutakkaanya kubanga omukyala alemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu kisenge. Omusajja atuuka okumukwatako okumunoonya okumala ebbanga naye n’alemwa okucamuka.

Mwebaze agamba nti eby’okwegatta bitandikira mu bwongo era ssinga omukyala abeera talina mirembe waka oba nga mukoowu, kiba kizibu okucamuka ne bw’aba atuuse mu kunyumya akaboozi. Abamu beegatta kutuukiriza luwalo kyokka kino oluusi kibaleeta okulumizibwa oba okunuubulwa olw’engeri gye babeera tebabateeseteese bulungi.

Waliwo abasajja abatawa bakyala baabwe budde bumala nga bali mu mukwano ne batuuka okwagala okwegatta nga tebabateeseteese bulungi. Abakazi bagamba nti kino kye kimu ku bisinga okubalemesa okucamuka obulungi ate babbaabwe ne beemulugunya.

Abakyala lwe banyiiga kitera okubeera ekizibu okubaggyamu ekiramu. Ebintu biwerako ebinyiiza abakyala ng’okugaana okugula oba okutuukiriza kye yasabye bba, okugaana okuwaayo fi izi z’abaana, okumuteebereza okwenda n’ebirala.

Bino bitera okumalako abakazi emirembe ne batuuka mu kwegatta ne batacamuka. Anna Nalubega e Makindye agamba nti omukyala okubeera n’ebirowoozo ebingi kimukaluubirira okucamuka mu buliri kuba abeera tateredde.

Olumu omukyala obutacamuka kiva ku kifo we mugenda okwegattira ssinga muba muli mu kifo nga mwekengera okubasanga, nga mwembi muli mu kutya omukazi ayinza obutacamuka.

Ate Dr. Farouk Muyingo ow’eddwaaliro ly’e Mpigi agamba nti abakyala abamu balemwa okucamuka kubanga babeera n’endwadde okugeza ez’ekikaba nga kandida, kabootongo n’endala.

Ate bwe yeeraliikirira munne okubeerako gy’ayitira ng’ayinza okuwakankulayo siriimu nakyo kibamalako emirembe.

Veronica Namukwaya agamba nti waliwo abakyala abamu nga mu butonde balwawo okucamuka, naye olumu kiva ku musajja okuba nga tawa mukyala budde bumala ng’amunoonya. Ate olumu endwadde z’ekikaba ze zivaako abakyala okulwawo oba obutacamuka nga bali mu mukwano.

Ensonga z’okwegatta zitandikira mu bwongo noolwekyo omukyala bw’aba si mutebenkevu mu bwongo kiba kizibu okucamuka. Waliwo embeera eyeeraliikiriza abakazi okugeza abaana okubasanga nga bali mu kikolwa nakyo kiremesa omukazi okucamuka obulungi.

EBIZIBU EBIVA MU MBEERA

ENO Omukazi bw’aba tacamuka bulungi, omusajja ayinza okufuna omukyala omulala gw’anaasobola okucamula bombi ne banyumirwa ate ebiva mu kino kuleeta ndwadde mu maka nga siriimu.

Embeera eno eyinza okuvaako n’omukazi okubaliga nga naye anoonya omuntu anaamucamula. Obuzibu obulala bweyolekera ku musajja ssente ze okuziteeka mu bakazi abalala oluusi ekivaako obutatuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bw’awaka mu bya ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka omulonde Kawalya

Omubaka omulonde owa Lubaga...

Omubaka omulonde owa wa Lubaga North mu palamenti, Abubaker Kawalya, obukulembeze bwe yabutandikira mu ssomero...

Tomusange

Omuzannyi akuba munne omupi...

AMATEEKA g'omupiira agaawandiikibwa gali 17, wabula wayinza okubaawo ekintu kyonna (ekisobyo oba nedda), ng'okutuuka...

Ssenga

Omusajja alina omukazi omul...

OMUSAJJA gwe njagala tanfaako simanyi oba alina omuwala omulala nkole ki? Mwana wange mu bikolwa by'omusajja...

Byarugaba

Bakutte 3 ku by'okutemula s...

POLIISI y'e Rukiga ekutte abantu basatu abagambibwa okwenyigira mu ttemu lya ssentebe w'ekyalo eyanenyezza abavubuka...

Kyagulanyi (ku ddyo), Rubongoya ne Nyanzi ku offiisi za NUP e Kamwokya eggulo.

Kiki kye kitegeeza Kyagulan...

Kiki kye kitegeeza Kyagulanyi okuggyayo omusango mu kkooti? Bannamateeka boogedde: Munnamateeka Male Mabirizi...