
Pelline
OMUSAJJA gwe nasookerako yandabya ennaku. Yanfunyisa olubuto, olwamala n’ansuulawo. Nze Pelline Atuhire.
Twalabagana n’omusajja ono e Rukungiri gye nali mbeera mu 2008. Mu kiseera ekyo nali nsoma S2. Yali akanika masimu mu kibuga ky’e Rukungiri ate nze nga mbeera mu maka ga bakadde bange.
Okumpangula omutima kyava ku ngeri gye yali yeeyisaamu kuba yakozesa obukodyo bungi omwali n’okumpokera ssente buli kadde. Omutima gwange gwagenda gukyuka mpola okutuusa lwe yagutengula ne nzikiriza okumujjulira oluwombo lw’omukwano.
Bannange, ebibbe tebyala! Omukwano gwaffe nga gwakamala akaseera katono, makanika wange yanfunyisa olubuto.
Emisomo gyange bw’atyo bwe yagirinnyamu eggere era gyakoma awo. Ng’ategedde nti nfunye olubuto, yantwala mu maka ge ne tutandika obulamu obw’obufumbo.
Ku ntandikwa buli kimu kyali kitambula bulungi kuba yali yeeyisa bulungi era ng’andaga nti anjagala okuzaama.
Embeera za munnange zaatandika mpola okukyuka era ekiseera kyatuuka n’andaga nti ankooye. Awaka yatandika okuyingira amatumbibudde ate ng’olumu takomawo. Namala ekiseera nga mu nnyumba nsulamu bw’omu ate nga ntyamu.
Obuvunaanyizibwa bw’awaka yabusuulawo nga takyalina ky’agula wadde emmere. Kyantwalira ekiseera kiwanvu okutuusa bwe nazaala. Obulamu bwankaluubirira kuba nali sirina mulimu. Nakizuula luvannyuma nti munnange yali awasizza omukazi omulala!
Nalaba embeera eyongera kunkaluubirira, kwe kusalawo okumuviira ne nzirayo mu bazadde bange era n’okutuusa kati siddangamu kuwuliza bimufaako.
kiseera kyatuuka ne nfuna omusajja omulala eyannaazaako ennaku gye nalina ku mutima. Bannange, omusajja andaze omukwano ogutagambika ne nneebuuza nti oba yali ludda wa nga mbonaabona n’abayaaye?
Okumanya anjagadde n’anneerabiza ennaku, jjuuzi namwanjudde mu bakadde bange era tusigazza kimu mbaga.