TOP

Omukazi tanfaako

Added 23rd September 2016

SSENGA, mukyala wange takyalina budde bwange.

SSENGA, mukyala wange takyalina budde bwange. Asiiba akola kyokka bw’akomawo obudde abumalira ku baana. Lwaki tanfaako?

MWANA wange, oli mutuufu okwebuuza ekibuuzo kino. Omukyala aba alina okulabirira omwami we n’okumufaako mu ngeri ey’enjawulo.

Kale alina okufissa akadde k’awa omwami. Kyokka omukyala y’omu, alina okunoonya ssente kubanga akola, alina okulabirira abaana n’awaka.

Kale ayinza okuba ng’obutakuwa budde aba akooye. Kyokka ogambye nti afa ku baana bokka. Kino ayinza okuba ng’akikola olw’ensonga ezitali zimu. Okugeza; nga y’alabirira amaka omuli okubaliisa, okubajjanjaba, okusasula fi izi n’ebirala.

Kino kiba kiraga nti ggwe omwami totuukiriza buvunaanyizibwa bwo, era munno si musanyufu, tayinza kukuwa budde. Oba oyinza okuba ng’olina kye wakola ekyamunyiiza. Yogerako naye akubuulire ekituufu, mwetereeze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...