TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abasajja mutuukirize emirimu gy'ekisenge

Abasajja mutuukirize emirimu gy'ekisenge

Added 27th September 2016

MUSULAYO mutya batabani? Mwebale kufaayo okulabirira baana bannammwe abo naddala nga muli eyo mu budde bwammwe obw‛eddembe.

MUSULAYO mutya batabani? Mwebale kufaayo okulabirira baana bannammwe abo naddala nga muli eyo mu budde bwammwe obw‛eddembe.

Naye abamu mulabika temumanyi mu bujjuvu emirimu egibakakatako nga muli mu kitanda ne bannammwe.

Okugeza ani yabagamba nti omulimu gw‛okuwunda abazaalibwa ababiri gwa mukazi yekka?

Ye omusajja amanyi ensonga otuuka otya mu kisaawe n‛otandika okwekeja nga tokebedde ku balongo ba munno?

Manya nti okusika abalongo bano gye gimu ku mirimu omusajja gy‛alina okukola mu kitanda naddala nga temunnatandika nsonga.

Kubanga ebyomukwano biba bya kuyambagana. Ate omukazi naye anyumirwa nnyo ng‛omusajja we amusika abalongo era kimwongera obwagazi ne ttaapu ne zisumulukuka. Ekirala bw‛oba kino okikola olina okussaamu ebirungo.

Okugeza teweefunyirira ku kusika kyokka, wabula kikole nga munno bw‛omusuuliza ku luuso olumulaga nti ddala omwagala.

Kino kijja kubakolera nnyo ssinga mubeera mu kifo ekirimu ekitangaala oba ettaala. Bwe waba nga tewali kitangaala olina okukikola nga bw‛owereekerezaako ebigambo ebimulaga nga bw‛omwagala ennyo, oba okumukomba mu matu ng‛akozesa olulimi lwo.

Oba waakiri okumunyonyoogera mu kiwato. Wabula kino kyetaaga obukugu kubanga emikono gyombi ate giba gikola omulimu guli!

Omulimu gw‛okusika abalongo ba mukyala wo gulina omugaso omulala nti guleetera ssemusajja okwongera okuwaga era bw‛oba tomaze kuwaga nnyo weesanga nga togumazeemu kaseera nga temunneeriga mu kaboozi.

Ate n‛ekirala n‛omukazi naye atandika okuleeta amazzi. Era omusajja alina n‛omulimu ogw‛okuweeweeta ku mukyala we mu ngeri emulaga nti amwagala kibasobozese bombi okufuna obwagazi obw‛okukuba ekintu. So si kuva eri n‛amugwiira bugwiizi mbu kubanga ayagala akaboozi.

Bino byombi bye bimutuusa ku mulimu gwe omukulu ogw‛okusabula akaboozi. Kale abakolera omukwano mu nsiko, oluusi batera nnyo okusubya abakazi emirimu giri egisoose.

Ky‛ova owulira ng‛abakazi batera okugamba nti omukwano omubbirire tebagukkuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...