
Kyosaba
KITUUFU omukwano omungi guziba amaaso! Nze Rehemah Kyosaba, 37. Mbeera Nansana Wamala mu Kinyarwanda Zooni. Natuuka nga nfuna mwami wange, George mu 2007. Ono yansanga nnina ne poloti yange mwe nazimba ennyumba mwe mbeera. Twatandika okubeera naye ne mmuzaalamu abaana babiri.
Oluvannyuma yaleeta ekirowoozo tutunde we twali tubeera tupangise era ne tunoonya omuntu agulawo, anti George yali bbulooka wa ttaka. Oluvannyuma omusajja yaleeta ekirowoozo tutandike edduuka era ne tusonda ssente.
Nze naleeta 650,000/- ate baze n’aleeta 500,000/- era ne tulikola. Edduuka lyatambula bulungi era ssente bwe zaawera omusajja n’agamba ndeete ssente endala ze nali nkuηηaanyizza tugule poloti ne nzimuwa zonna.
Ssente ezo baze yazigulamu poloti kyokka aba yaakagigula ate n’ennyumba yange gye navaamu n’efunikako omuguzi era byonna ne mmwesiga nga y’abikola n’engeri nze gye saasoma ate nga nali mmwagala.
Ennyumba yange yagitunda obukadde bubiri n’ekitundu. Teebereza poloti eyali e Nansana mu mwaka gwa 2011! Kirabika ssente zaali nnyingi naye nze yaηηamba ezo. Saasooka kufaayo olw’omukwano omungi gwe yandaganga.
Bwe yamala ate ne tutandika okuzimba mu poloti gye twagula ate ne tugulayo ne poloti endala mu ssente ze nkola wabula nga naye agattako entonotono. Ennyumba gye twali tuzimba bwe yaggwa, n’aηηamba ngiyingire era edduuka ne ndizza omwo.
Ebintu byasooka ne bitambula bulungi nga ndi mu nnyumba yange empya era nga nkolera ddala bulungi. Namugamba aleete ne nnyazaala wange tutandike okubeera naye ye n’aleeta baganda be era ne mbeera nabo nga tetulina buzibu.
Oluvannyuma omusajja ekyamutabula saakitegeera. Yakeera ku makya n’aηηamba nti takyayagala kundaba mu nnyumba ye alina omukyala omulala gwe yawasa gw’ayagala okuleeta. Yampa kapoloti ke yali aguze mu lutobazzi nga mulimu akayumba mwe mba nzira n’abaana bange era n’ansibirako obwange bwonna.
Nagenda okutuuka ku kayumba nga toyinza kukasulamu nga konna kagenda kugwamu. Waliwo omu ku bakyala eyakkirizza okunsuzaako nga naguno gwaka y’akyansuza ng’akayumba ke yampa mwe ntundira omunaanansi n’amazzi.
Nasalawo okuloopa omusajja mu kkooti e Nabweru ew’omulamuzi Perry Muhumuza naye eno nayo bantambuza ne nkoowa. Nneeyongerayo mu Kkooti Enkulu eyawandiikira omulamuzi w’e Nabweru akole ku nsonga zange. Omulamuzi yaηηamba nti omusango baagusala ne bandagira okubeera mu nnyumba omusajja gye yampa kubanga terina buzibu bwonna.
Wadde abaana baabanzigyako ne babawa muggya wange naye nzikirizibwa okugenda ne mbalabako naye si kubeera nabo. Kinnuma obutaba na baana bange!
N’ekirala simanyi ani anannyamba omukazi ave mu nnyumba yange kubanga ssente ze nakolanga mu dduuka ne ze yatunda mu poloti yange ze yakozesa okuzimba ennyumba kati mwe yeeyagalira kyokka nze bansuza busuza