
Ssenga mukyala wange bwe tuba tugenda mu nsoga z’okwegatta ayagala nsooke mutegeeze nga sinnamukwatako. Mu butuufu sirina bigambo bye nkozesa okutumutegeeza. Mumpe ku magezi ku bigambo ebituufu.
Mwana wange ono omukyala muvumu era weesimye naye. Mu butuufu abasajja abasinga tebamanyi nti newankubadde baagala okwegatta omukyala yenna olina okumusaba ng’oyagala okwegatta naaye. Ate okumusaba tekyetaagisa kufulumya bigambo.
Oyinza okukozesa ebikolwa ebiraga nti oyagala okwegatta ng’okunoonya munno n’ebirala ng’ebyo. Ate bw’onoonya munno era musabe anti abakyala abamu baagala okuwulira ebigambo.
Mwana wange sigenda kukubuulira ngeri gy’osaba kusaba kubanga gwe asinga okumanya munno oba ayagala okukozesa Olungereza, Oluganda oba olulimi olulala. N’ekirala era gwe amanyi ebigambo ebimusanyusa mu matu.
Gezaako okunyumya naye omanyire ddala ebigambo ebituufu ebimusanyusa. Bw’onomutegeera ky’ayagala mujja kunyumirwa obulamu.