TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze teyaηηamba ku mukazi gw'alina

Baze teyaηηamba ku mukazi gw'alina

Added 22nd October 2016

NDI mukyala mulungi ddala naye ndi nnamba bbiri naye kinnuma. Ssenga omwami wange si Musiraamu.

NDI mukyala mulungi ddala naye ndi nnamba bbiri naye kinnuma. Ssenga omwami wange si Musiraamu.

Bwe nali mmufuna saamanya nti mufumbo nakitegeera mmaze okuzaala abaana basatu era nga n’okwanjula kuwedde.

Mukyala mukulu yali abeera bweru naye kati yakomawo. Ssenga nkole ntya? Mwana wange walaba nnyo omwami ono okukulimba kubanga obulimba bwe buti busobola okuleeta obutemu.

Kati watya nga mukyala mukulu akitutte bubi n’akukola obubi? Mwana wange okufumba ne mukazi munno si kyangu.

Ekibi abasajja bangi balowooza nti kyangu era ffe abakyala tulina okukigumira.

Okusookera ddala oba oyagala omusajja ono, olina okukkiriza nti oli mukyala nnamba bbiri.

Sigaanyi waliyo abasajja abamanyi okulabirira abakyala baabwe era ng’oluusi kizibu n’okumanya nti muli bangi.

Kale omusajja bw’aba alina embeera ezo ennungi ng’akulaga omukwano ate nga tolina buzibu bw’amaanyi mu maka go gumiikiriza.

Ekirala mwana wange ozadde ate si mwana omu wabula abaana basatu. Lwaki tokuza baana bo?

Ssinga onoba onoosobola okubalabirira wekka? Naye bw’oba owulira obuzito okubeera nnamba bbiri oli wa ddembe okumwesonyiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...