TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebifuga obufumbo ng'omukazi y'asinza ssente

Ebifuga obufumbo ng'omukazi y'asinza ssente

Added 3rd November 2016

MU kiseera kino mu maka mangi abakazi balina ensimbi okusinga ku basajja. Embeera eno evuddeko amaka ag’ekika kino okufuna obutakkaanya ne kigatuusa n’okusasika.

MU kiseera kino mu maka mangi abakazi balina ensimbi okusinga ku basajja. Embeera eno evuddeko amaka ag’ekika kino okufuna obutakkaanya ne kigatuusa n’okusasika.

So ng’obufumbo buba kukkaanya era bwe muba mukkaanya bulungi, tekiba kikulu ani aleese ssente, omusajja asigale nga gwe mutwe gw’amaka.

Bino bikulu nnyo mu mbeera eno;

1 Mubeere beesigwa mu mbeera zonna. Omukazi bw’azuula nti omusajja si mwesigwa mu by’ensimbi mu mutima gwe amwesalako mangu. N’omukazi bw’aba n’ensimbi ate nga si mwesigwa bba ayanguyirwa okulowooza nti akozesa ssente ze zimuyinula okweyisa nga bw’alaba.

2 Weewale ebbuba erisusse. Abasajja bangi bakazi baabwe bwe babasinza ensimbi bafuna ebbuba eritali lya bulijjo. Mu mbeera eno omukazi mukkiririzeemu era omwesige. Buli lw’omulaga ebbuba eringi atandika okulowooza ku ky’okukulekawo. N’omukazi ow’ensimbi bw’asussa obuggya nga bba amulunda buli w’alaga amusajja ajjirwa ekirowoozo nti amufuga kuba alina ensimbi.

3 Okuwaηηana ekitiibwa kikulu oba olina ensimbi oba tolina. Fuba okukola ebintu ebitalowoozesa munno nti omuyisaamu amaaso.

4 Ekirala munno tomwesamba. Oluusi omusajja bw’amanya nti omukazi wa nsimbi amwesamba, olwo mukazim wattu n’atambuza emirimu yekka. Kino si kituufu. Amaka okutambula obulungi nga mwembi mukolagana si nsonga omu ne bw’ataba na nsimbi naye aleeta amagezi agazimba amaka gammwe.

5 Mwewale okweryazaamaanya. Okugeza ssinga omu yeewola ku munne ensimbi, kirungi asasule mu budde. Oba bw’aba alemeddwa amunnyonnyole okusinga okukitwala nti tateekeddwa kusasula. Kino oluusi kireetawo okusika omuguwa.

6 Temussaawo kuvuganya mu maka okwekuusa ku by’ensimbi. Omukazi olw’okuba aguze ‘Prado’ naawe n’ogwa ku bbanja n’ogula ekika ekirala. Okuvuganya okw’ekika kino kujja kuleetawo obutakkaanya.

7 Ebibye bitwale nga bibyo. Emmaali y’omukazi togitwala nti yiye yekka ng’omuntu. Mulage nti naawe olina omugabo mu yo era omulage nti ogifaako okugikuuma. Ate era ne ku ludda lw’omusajja byonna manya nti ne munno abivunaanyizibwako.

8 Tosuulirira buvunaanyizibwa bwo. Abasajja abamu bwe balaba ng’omukazi afunye ku nsimbi, basuulira ddala obuvunaanyizibwa bwabwe obw’awaka. Kino kinyiiza abakazi ne batuuka n’obutabalabawo. Ng’omusajja sigala ng’otambuza amaka okusinziira ku busobozi bwo mu by’ensimbi.

9 Tomulekerera mu mirimu gy’awaka. Ng’omusajja ali mu mbeera eno, fuba okulaba ng’obaako engeri gy’oyamba omukazi mu mirimu gy’awaka. Eby’okudda mu ntebe okusalako olina okubyenenya n’obaako engeri gy’oyambako ku mirimu gy’awaka. Eby’okudda mu kutaayaaya n’okukuba olwali byenenye kubanga bicankalanya amaka.

10 Ensoga z’ekisenge muzituukirize. Ensonga z’ekisenge tozisuulirira mu mbeera eno. Zituukirize awatali bukwakkulizo. Kino kijja kwongera okuleetawo obumu wakati wammwe.

Wabula n’omukyala oteekeddwa okweyisa mu ngeri entuufu. Okusinza balo ssente tekitegeeza kumufuga. Oteekeddwa okutuukiriza emirimu gyo ng’omukyala mu maka era omwami omuwe ekitiibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...