TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Temuyombera mu bakulu gye mugenze okubatawulula

Temuyombera mu bakulu gye mugenze okubatawulula

Added 3rd November 2016

NNEEBAZA omutonzi bulijjo okubankuumira nga mukyali balamu, ggwe ate ssinga mufuna obuzibu bino nandibibuuliridde ani?

NNEEBAZA omutonzi bulijjo okubankuumira nga mukyali balamu, ggwe ate ssinga mufuna obuzibu bino nandibibuuliridde ani?

Kale nno sirema kumwebaza oyo nnannyini nsi okubakuuma ne mbasanga nga mutemya bukofu. Nabasuubiza obutajja ngalo nsa era ntuuse nga nsaba muntegere amatu mwenna bawala bange nammwe batabani bange.

Abamu mulina omuze ate nga mulabika mugukola lwa butamanya. Mugenda ne musoowaganamu mu bufumbo ng‛era eby‛amaka bwe bibeera ne musalawo mugendeko mu bakulu babataawuluze.

Naye ate bwe mutuukayo, mu kifo ky‛okulinda abakulu babaluηηamye ate mudda mu kuyombera mu maaso gaabwe, olwo ne basoberwa.

Kano kaba kabonero ak‛enkukunala akakakasa nti mu bakulu gye mugenze okubaluηηamya temubassaamu kitiibwa.

Ye olwo bwe mutandika okuyombagana mu maaso g‛abakulu olwo muba mubasuubira kubakolera ki?

Abakulu bano gye muba mugenze okubatabaganya mulina okubassaamu ekitiibwa kubanga era ekiba kibatutteyo lwa nsonga nti mulemeddwa okukwatagana.

Naye ate bwe mudda mu kweraba mu kamwa ate bbo ne mutabawa kaseera kabawabula, kiba kikyamu nnyo.

Bwe muba musazeewo okugenda okubawabulamu, buli omu akkirize ensobi ye kubanga buli lwe munaabeera nga mukubagana empawa olwo tewajja kubeerawo kutegeeragana agana wakati wammwe, newankubadde bangi ku mmwe mufumbiriganwa nga mukyali bato ddala, naye ate ne bajjajjammwe baafumbiriganwa bato wabula bbo baamanyanga engeri y‛okuwaηηana ekitiibwa olwo obufumbo ne busobila okuwangaala.

Buli lwe mugenda mu bakadde babatabaganye naye ne mudda mu kukubagana empawa, nabo balwa ddaaki ne babeetamwa ate ssi buli kasonga akanaagwawo wakati wammwe nti munaagenda mu bakadde mukababuulire, nedda.

Mulina okutuuka kunzikiriziganya mwekka nga temuyingizaamu bakulu. Mubeere bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...