TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ensonga ziizino lwaki abavubuka tebakyakwana

Ensonga ziizino lwaki abavubuka tebakyakwana

Added 6th December 2016

NNAZZIKUNO ng’omusajja okufuna omukazi asooka kumwogereza ate ng’abeera n’ekigendererwa ky’obufumbo n’okuzaala abaana.

NNAZZIKUNO ng’omusajja okufuna omukazi asooka kumwogereza ate ng’abeera n’ekigendererwa ky’obufumbo n’okuzaala abaana.

Naye ensangi zino weesanga ng’abavubuka tebakyalina budde bwogereza bawala era olufuna omukisa okumutuukirira amugambirawo nti “onompa ddi ku mukwano?”

Abavubuka bano enkola eno ebalaga nga bwe batakyayagala kuwasa kuba babeera baagala kwesanyusaamu bamale beeyongereyo.

Omukugu mu kubuulirira abantu, Yasin Ssewankambo okuva mu Namasuba College of Commerce agamba nti ensonga nnyingi ezivaako abavubuka obutakwana nga mulimu zino wammanga;

1 Abavubuka ennaku zino baasukka okwagala eby’amangu ku njuuyi zombi nga kino kivaako obuteewa budde buli omu kwetegereza munne ng’abantu abalina ekiruubirirwa ky’okubeera bombi mu bufumbo.

2 Abavubuka abasinga tebaba na kigendererwa oba na nsonga eyimiridde lwaki bayingira omukwano kubanga balina endowooza enfu nti omukwano kitegeeza kwegatta era batunuulira kibikkiddwa mu mpale ey’omunda okusinga okubeerawo nga baagalana.

3 Abavubuka abasinga baagala kagwirawo tebalina budde bwa kulinda kubanga abasinga balina ekirowoozo nti abawala bayaaye oba oluusi batya okubalekawo, kale ne basalawo okutuukira ku nsonga y’okubasaba laavu.

4 Omusingi gw’omuntu nakyo kikulu mu bulamu bwe ne mu nkola y’emirimu okuviira ddala ku bantu b’atambula nabo n’emboozi ze banyumya. Abavubuka abamu abatuukira mu kusaba bw’obagoberera ogenda okukizuula ng’ebiseera byabwe ebisinga babeera banyumya mboozi za kwegadanga.

5 Abamu baba baagala kusaasaanya bulwadde era tebakifunamu buzibu kwegatta na bawala kuba tebaagala kufa bokka kye bava bakozesa omukisa ogw’okulowooza okwegattirawo nga bakasisinkana kuba abeera alowooza nti ssinga amuwa obudde obungi okumwetegereza ayinza okukizuula nti mulwadde n’amukyawa.

6 Obutambi n’ebifaananyi by’obuseegu ebitambula ennyo mu bantu olwa tekinologye bireetedde abavubuka okulowooleza mu kwegatta buli kiseera abamu ne bacamuka naye nga tebalina gwakwegatta naye awo nga gw’asanga gw'asaba olw'amaddu g’aggye mukulaba obutambi.

7 Okubulwa empisa mu mukwano wamu ne ku bantu abalala nga tebatya n’abawala obuteewa kitiibwa kiviiriddeko abavubuka okubasabanga okwegatta nabo nga tasoose nakumukwana kubanga aba amulaba nga yeeyisa nga bw’ayagala kati n’omuvubuka abeera tamuwa kitiibwa n’akozesa omukisa ogwo.

AKABI AKALI MU KUSABA OMUKWANO:

Okusabiriza kuvaamu endwadde zinnamutta nga siriimu okusaasaanira ku mutendera ogwa waggulu kubanga abavubuka bangi baakifuula mmere ya buli lunaku ate nga beewala okukozesa obupiira obwandibayambyeko obutafuna bulwadde.

Abavubuka abamu okwettanira okusabiriza weesanga nga tebalina mukwano gwa nnamaddala nga baayonooneka nga balowooleza mu kwegatta era abantu ekika kino tebatera kuwasa ekintu ekikosa famire n’eggwanga kuba abo be batera n’okukaka abakazi omukwano n’okusobya ku baana.

Okumala geegatta oba gasabiriza kiweebuula era kimalamu omuntu akikola ekitiibwa ate kiviirako n’abantu okukulowooleza n’emize emirala gy’otalina olwokuba bakulaba okola ekyo.

Ate era abakikola batera okubulwa emikwano egizimba oba egimutwala mu maaso. Kitta emikwano kuba awo buli omu abeera akwegobako olw’emize emibi n’emboozi z’onyumya buli kaseera ezitazimba.

Oggwaamu obwesige eri abantu era ne gw’osalawo okukwana ng’okitegeeza abeera alowooza oyagala kumwegattako omuddukeko kati n’osanga akaseera akazibu okufuna omubeezi oba oluusi obutafunira ddala olw'embeera abantu mwe baali bamumanyiira.

Emize gy’okubba n'okunyakula ebintu by’abalala biyinza okuviiramu oyo asabiriza kuba ebiseera ebisinga babeera banafu naye nga baagala okwegatta ate oluusi weesanga nga n'amaanyi g’ekisajja gabaggwaamu olw'okulowooza ennyo okwegadanga.

ABAWADDE AMAGEZI

Okwegatta okutali kutukuvu kuvumirirwa buli wamu okuviira ddala mu bitabo ebitukuvu era omuntu akwenyigiramu abeera amenya amateeka mu maaso ga Katonda ababikola basaana bagende mu bannaddiini bababuulireko.

Abavubuka bandisaanye okujjukira nti obulwadde gye buli noolwekyo bewale okusabaasaba buli ky’asanze oba okwegatta na buli omu.

Abavubuka bafeeyo okunoonya emirimu, kino kiyambako obutayonoona budde obwo wabula ne babukolamu ebizimba.

Bakendeeze okulaba obutambi bw’obuseegu kuba bwonoona obwongo ng’omuntu abeera alowooza kwegatta buli kiseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...