TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nnasasula ewaabwe mmugabidde musiguze

Gwe nnasasula ewaabwe mmugabidde musiguze

Added 14th December 2016

Bwe nabitegeera saamulabula wabula ne ntandika okumulinnya akagere. Olw’okuba landiroodi mukwano gwange, lumu yampita n’ambuuza oba ebyali bifa ewange nnali mbimanyi era ne mutegeeza baliraanwa bye baηηamba naye kwe kunkakasa.

 Tamale

Tamale

NZE Richard Tamale 26 nga mbeera Kibiri ku lwe Busaabala mwe mmaze emyaka esatu.

Natandika okukwana omukyala gwe njogerako mu December wa 2015 ne ηηenda ne mu bazadde be mu butongole mu mwezi gwokubiri nga 22 mu 2016.

Nawerekerwako abantu ab’obuvunaanyizibwa okwali ne landiroodi wange abeera wano okumpi n’emizigo gyaffe, kojja wange omu, baganda bange babiri, mukwano gwange ne baliraanwa bange babiri.

Bazadde be babeera Kanaaba ku kyalo ekiddako okuva wano e Kibiri. Natwala ebintu ebiwera era kw’olwo lwe twavaayo ne kabiite wange ne tutandika okubeera ffembi.

Yalaga nti anjagala nga nange bwe mmwagala naye saamanya nti mpasizza mwenzi.

Olw’okuba ndi muvuzi wa bodaboda ate omulimi, ntera okugenda mu kyalo e Masaka ne nsulayo.

Olumu nga mugamba tugende ffena naye n’agaana nange nga mulekera eddembe lye ate nga yali takola. Mu mwezi gwokuna mu mwaka guno, natandika okuwulira eηηambo okuva mu baliraanwa bange nti mukazi wange alina omuvubuka gw’ayingiza mu nnyumba nga siriiwo.

Bwe nabitegeera saamulabula wabula ne ntandika okumulinnya akagere. Olw’okuba landiroodi mukwano gwange, lumu yampita n’ambuuza oba ebyali bifa ewange nnali mbimanyi era ne mutegeeza baliraanwa bye baηηamba naye kwe kunkakasa.

Yansaba nsooke nsirike mbeekwatire nzekka era nange kye nnakola. Nga wayise akaseera, nagamba mukazi wange nga bwe nnali ηηenda e Masaka okulima naye saagenda nasigala mu Kampala nga nkola, mba ndi awo ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi landiroodi n’ankubira nzijje ewange ndabe.

Nakubira omu ku mikwano gyange ne musaba amperekereko. Bodaboda twagireka ku kkubo awaka ne tugendera ku bigere.

Baliraanwa olwandaba nabo ne bakuηηaana mpola ne tuwera olwo ne nkonkona oluggi. Bwe yaggulawo, nnayingira buyingizi era omusajja ono namusanga yeegalaamirizza ku buliri bwange.

Namukwata ne mmunyweza naye landiroodi n’ansaba nneme kubaako kye mbakola era ye yantaasa kuba nandibasse.

Twabakwata ne tubatwala ku poliisi y’e Kibiri ng’omusajja bwe yeegayirira nti omukazi yali yamugamba talina musajja era ne mumugabira amuwase ne muwa n’ebintu bye byonna.

Baabaggulako omusango ku fayiro nnamba SD REF:20/06/10/16 era n’omukazi ne mwesonyiwa. Kati ali ku ssimu yange annemeddeko musonyiwe akomewo afumbe. Kati mmukolere ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omukazi lwe yeeronda n'atam...

ABASAJJA abamu babeera mu maka nga bali ku maggwa olw’abakazi abeeronda ku buli nsonga. Ab’engeri eno mu kiseera...

Akena ng’alayizibwa ku bwapulezidenti bwa UPC.

Akena alayiziddwa n'awera k...

ABA UPC baayisizza ekiteeso ekikakasa Jimmy Akena ng'omukulembeze wa UPC omuggya ekyongedde okutabula abamuwakanya....

Endabika ya Rema ecamudde a...

BAATANDISE ku Lwakutaano ku Idd, ng'amba abawagizi nga beebuuza engeri sereebu waabwe gy’ajaguzaamu olunaku engeri...

Aba Ebonies bagaanyi Corona...

Dr. Bbosa (mu katono) ng'amannya ge amatuufu ye Sam Bagenda yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza enkola empya mwe...

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

NRM eggaddewo okugaba ffoom...

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka...