TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Olugoye lwa Ssekukkulu luzza buggya omukwano

Olugoye lwa Ssekukkulu luzza buggya omukwano

Added 20th December 2016

Omusajja bw’atalugula nga tumanya nti mu maka mulimu obutabanguko.

 Balaam ne Lillian Muwanguzi mu biseera byabwe eby’eddembe.

Balaam ne Lillian Muwanguzi mu biseera byabwe eby’eddembe.

BALAAM Muwanguzi ne mukazi we Lillian Muwanguzi abatuuze b’e Komamboga mu Ggombolola y’e Nakawa bagamba nti bbo eky’okugula olugoye baakigonjoola era bakyogerako bwe bati:

Okugulira mukyala wange olugoye olw’okuliiramu Kulisimaasi kya makulu nnyo gyendi kuba ge Mazaalibwa ga Kristu kuba naye yalina abaamusanyukirako ng’azaaliddwa omwali n’abaamugabira ebirabo okumulaga omukwano n’okwagala.

Okwagala kwonna kutambulira mu bikolwa ebirabika kuba bwe ngulira mukazi wange olugoye kabonero akamulaga nti mmwagala.

Ate bwe tudda ku nsonga y’obuwangwa bwaffe, omusajja yenna kyamukakatangako okusiima mukyala we by’amukolera, omuli okumukuuma, okumwagala, okumulabirira n’ebirala.

Mu maka gaffe ne mukyala wange, eky’okugula olugoye twakigonjoola kuba mmuwa ssente ne yeegulira kuba nze bayinza okunseera.

Wabula kino sikikola ku Ssekukkulu kwokka wabula n’ennaku endala.

Ate Lillian Muwanguzi agamba nti bba okumugulira olugoye olw’okwambala ku Kulisimaasi kimuwa amaanyi n’okwagala ne kyongera okunyweza laavu yaabwe.

 

SSEKUKKULU etuuse!

Nazzikuno ng’abakyala abafumbo babeera beesunga lugoye lwa Ssekukkulu okuva mu baami baabwe. Ennaku zino abasajja batono abajjukira olugoye lwa Ssekukkulu.

Annet Ddungu ow’e Najjembe Nsakya e Buikwe olugoye lwa Ssekukkulu alwogerako bw’ati; Olugoye lwa Ssekukkulu yabanga gomesi omwami gye yaguliranga mukyala we ng’amukulisa okutuuka ku Ssekukkulu, n’okumukulisa okuyita mu bizibu byonna bebibaddewo omwaka ogwo.

Olugoye luno lwayambanga okunyweza amaka kuba olw’essanyu eringi omukyala lye yafunanga n’omukwano gwabwe guttuka nga ne bwe babeera banyiize byonna biggwaawo.

Olugoye olwo lwalaganga nti omwami alina obuvunaanyizibwa eri mukyala we era nga lulaga nti amwagala kubanga omwami talinda kulumutuma.

Era okumanya lwabanga lukulu nga mu maka agamu bw’otalabamu mukyala ng’omwaka gutandika ng’omanya nti yandiba nga yanoba lwa butafuna lugoye lwa Ssekukkulu.

Nze ewaffe nakula ndaba taata alugulira maama ate nange bwe nnafumbirwa omwami wange ng’alugula December yaakatandika.

Luno ebiseera ebisinga yalumpeeranga mu kisenge. Bwe namalanga okulwekkaanya n’okusiima olwo nga nduleeta mu ddiiro nga ndulaga abaana nga wano n’ez’abaana we tuzibaweera.

Eno ye yabanga entandikwa y’essanyu mu maka gaffe, okutuusa lwe twamalangako omwaka. Wabula ennaku zino olugoye luno ndaba ng’olutakyalina makulu kubanga n’abakazi tebakyaluliko nnyo nga ffe bwe twabanga, ate kati ffenna tukola n’obwavu bungi.

Ekirala abafumbo bangi abataalaba ku kyakulabirako nga kino okuva mu bakitaabwe, era eby’okugulira omukazi olugoye takitwala nga nsonga.  

Vicent Alex Kavuma ow’e Naggulu agamba nti; olugoye olwo lukyalina amakulu mangi nnyo kubanga lw’abanga lwa kusiima mukyala, okumutenda okumwagala olw’ebyo byeyabanga akoze omwaka ogwo kubanga yabeerangawo nga tasasulwa n’azaala n’abaana, n’abalabirira. Kale ng’omwebazaolw’okwagalana ebbanga eryo lyonna.

Luleeta omukwano omupya mu bafumbo ate munno yayongeranga okukwagala. Olugoye luno lugenderako n’ebintu ebirala omuli ssente z’okulutunga, ekitambaala, engatto n‘akasawo.    

Nnaalongo Rose Nakafuuma ow’e Nakulabye agamba nti olugoye luno terwabanga lwa tteeka, wabula abakazi bangi edda abaanobanga olw’obutalufuna.

Abasajja baafangayo nnyo okugula olugoye luno kubanga oluusi omusajja yamalanga omwaka mulamba nga tagulidde mukazi we lugoye lwonna. Noolwekyo olw’okubanga Ssekukkulu etuuka omwaka guggwaako ng’omusajja muli yeekubiriza n’agula olugoye luno ng’engeri y’okumusiima olw’okufumba n’okulabirira amaka.

Saulo ne Sarah Mikanga

 

  Saulo ne Sarah Mikanga

SAULO Mikanga ne mukazi we Sarah batuuze b’e Seeta - Nazigo bagamba nti baakamala mu bufumbo emyaka 17 naye buvunaanyizibwa bwa musajja okulabirira n’okugulira mukazi we olugoye olw’okwambala ku Kulisimaasi newankubadde ng’asobola okukola ekintu kye kimu mu nnaku endala.

“Mukazi wange bwe mbeera ηηenda kumugulira lugoye nnina okutambula naye okugenda ku dduuka gye zitundibwa era lw’asiima lwe mbeera nnina okusasula ne ssente zange”, bwatyo bw’annyonnyola.

Agattako nti okugulira mukazi we olugoye kimuyamba okukuuma n’okuzza omukwano gwabwe obuggya n’amanya nti amwagala era asiima by’amukolera ne kimwongera amaanyi agakola ebirala.

Wabula agattako nti ku lugoye olwo olwagabwanga ku Ssekukkulu lwawerekerwanga ekijjulo ky’omu kisenge ng’emu ku ngeri y’okwebaza omwami olw’okugula olugoye olwo.

Harriet Nakiya ow’e Kireka Kasokoso; Olugoye olwo lukyalina amakulu kuba omukyala okuba n’ekitiibwa alina okwambala gomesi era lulaga obuvunaanyizibwa bw’omwami we.

Omusajja bw’atalugula nga tumanya nti mu maka mulimu obutabanguko.

Lwakuba ennaku zino embeera yakyuka nti omusajja ne bw’atalugula obulamu bugenda mu maaso naye luli ng’omusajja bw’atalugula ng’omukyala ayinza okumulooopa ewaabwe oba oluusi okunoba.

Omusajja yenna alina obuvunaanyizibwa ateekwa okugulira mukyala we olugoye buli mwaka ng’agula kade esiibwamu n’olukyala ate ng’abamu beetuma bokka era nga bw’abeera n’abakyala abangi era nga bonna abagulira engoye zino.

Olugoye olwo lwalinga lulaga obuvunaanyizibwa eri omusajja kubanga ekkufulu y’omukazi kitambaala era omukazi yenna omufumbo yalabirwanga ku kwambala gomesi naye ab’ennaku zino bagula nkunamyo ate tebabiriiko, ky’ova olaba n’obufumbo bwa leero tebukyali butebenkevu ng’obwedda kuba ekyo kye kimu ku byanywezanga omukwano nga kiringa kitanda bwekizza abaagalana engulu.

Naye ffe ewaffe lwali terutunobya kubanga baali baatukuutira nti omusajja taddibwamu nga ky’asalawo kye kikolebwa.

 

EBINTU EBITONEBWA ENNAKU ZINO; Ku mulembe guno, waliwo ebintu bingi abafumbo bye beetonera ku lunaku lwa Ssekukkulu.

Ekirala okutona tekukyali kwa musajja yekka, wabula n’abakyala batonera abaami baabwe ne famire okutwaliza awamu.

Ebimu ku birabo ebitonebwa mulimu engatto, ensawo, essimu, ebyokulya, emmotoka, obutabo ne kalonda omulala okusinziira ku nsawo y’oyo atona.

Waliwo abatonera bannaabwe nga babatutteko emitala w’amayanja okulya obulamu, sso ng’abalala babatwalako awutu mu bifo ebisanyukirwamu ne banyumirwa.

Ensangi zino kizibu okulaba omukazi anoba olw’obutafuna lugoye lwa Ssekukkulu, wadde nga waliyo abakitwala obubi munne obutamugulira lugoye ku lunaku nga luno, kubanga munne ayinza okumugulira lugoye ekiseera kyonna.

Ekirala engeri abakyala abangi gye bakola ayinza obutalinda musajja kusooka kumugulira lugoye ne yeeyiwamu, era n’agulira n’omwami we n’abaana.

Ate waliwo n’abagula engoye ennyingi mu kiseera kino nga si za Ssekukkulu, wabula ng’agula z’anaayambala mu mwaka omupya kuba mu kiseera kino ziba ku bbeeyi nsaamusaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....