
Omukazi mmukwata wa awamucamula amangu?
Omukazi yenna asobola okucamuka amangu ssinga omunoonya bulungi era ng’akwagala. Sigaanyi waliyo ebitundu by’osobola okunoonya omukazi n’afuna mangu obwagazi, nga amabeere, embugo n’ebirala, naye ggwe ng’omusajja olina okuyiga mukwano gwo n’omanya ebimuleetera obwagazi.
Ate n’ekirala olina okugezaako okulaba nga weegatta ne munno ng’afunye obwagazi.
Omukazi bw’afuna obwagazi aba ayagala okwegatta era acamuka mangu.
Wadde abasajja abamu balowooza nti okwegatta n’omukazi kyangu, naye si kyangu kubanga abakazi tebacamuka ng’abasajja bwe babeera.