TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi eyampasa angobye nga tampadde wadde ennusu

Omukazi eyampasa angobye nga tampadde wadde ennusu

Added 30th December 2016

Nze Haruna Ssekirime 54. Mbadde mutuuze w’e Ndejje- Lugga naye byambijiridde. Natuuka nga nfuna omukyala kansala Zam. Twasiimaganira ku kizinga Bufumira e Ssese. Nnali muvubi, nga nnima omuceere nga ntunda n’amazzi mu Nkambi.

BULIJJO abakazi batomera naye ku luno nze ntomedde era nakkirizza nti kituufu omusajja yateekeddwa okuwasa omukazi, kubanga bw’owasibwa omukazi ate kisukka anti takulekeramu yadde ak’ekisajja n’akamu.

Nze Haruna Ssekirime 54. Mbadde mutuuze w’e Ndejje- Lugga naye byambijiridde. Natuuka nga nfuna omukyala kansala Zam. Twasiimaganira ku kizinga Bufumira e Ssese. Nnali muvubi, nga nnima omuceere nga ntunda n’amazzi mu Nkambi.

Ate nga munnange ye atunda lino eddagala erya Bachina. Twali twemanyidde ebbanga ddene era nga tewali alina buzibu ku munne naye omwaka oguwedde bwe gwali gugwaako nnali ndi awo ng’ajja ng’aηηamba nti ayagala kukola Hijja omwaka ogwo naye yandiyagadde okujikola ng’amaze okufuna omusajja Omusiraamu nga bamaze okumuwoowa alyoke agende e Mecca.

Kye nnava mugamba nti ayogeredde ku muntu omutuufu kubanga nange nnali sirina agamba kubanga maama w’abaana bange twali twayawukana dda nga n’abaana baffe baafumbirwa.

Bwe namugamba nti nze kennyini nnoonya kye yava aηηamba nti bw’emba nkakasa bye njogera kaasooke abuuze ku bammanyi bamubuulire empisa zange.

Era kino yakikolera wiiki nnamba, n’ajja naηηamba nti yazudde sirina buzibu, era nti ayagala okumpasa naye agenda kunzigya ku bizinga antwale tutandike okubeera ffembi mu maka ge yazimba e Ndejje.

Kye nnava mugamba alina kusooka kulaba mwannyinaze n’abakakiiko babeerewo antwale ng’antutte bamutegedde. Era ne tuteesaganya olunaku n’ajja nga angulidde engoye ennungi n’obuntu obutonotono era nabo ne bakkiriza antwale, olwo n’andeeta mu maka ge e Ndejje ng’ansuubizza n'okunkolera edduuka.

Bwe twatuuka ne tubeerawo mu mukwano omuzibu olwo nga bamaze n’okutuwoowa, emyezi bwe gyayita n’akola Hijja e Mecca era n’akomawo. Bwe yakomawo ne tubeerawo nga tugenda ne ku mulimu gwe ku bizinga olulala nga tugenda Mityana.

Obuzibu bwe nafuna ku mukyala wange alina nnyo obuggya era nga bwe tuba mu kukola n’akugamba otambuze eddagala nga bw’oyimirira n’abakazi ate ng’ ajja atandika olutalo.

Waayitawo ebbanga ttono mba ndi awo ng’aηηamba nti waliwo eyamugamba nti bwe yali ku Hijja waliwo ewa Hajjat gye bandabanga era n’angoba ne ηηenda ku kizinga Malembe.

Nnali ndi awo najja ye mwennyini n’anonayo n’angamba nkomewo nfumbe. Era tubadde we tuli emyezi esatu nga tetulina buzibu bwonna, okugyako wiiki ewedde ku Lwomukaaga yagenda e Mityana nze n’andeka awaka.

Yabeerayo okuva ku Lwomukaaga okutuusa ku Lwokubiri. Nange bwe namalirizza okukola emirimu gyange ne nsalawo n’e ηηendako mu baganda bange e Busaabala era bwe namala okusaala ku ssaawa 1:00 ez’ekiro ne nsalawo nzire mu maka gaffe.

Nagenze okutuukayo ku ssaawa 3:00 namusanze yakomyewo n’andagira nzireyo gye nva era teyanzikirizza na kumunnyonnyola bisingawo. Kye navudde ntuula ku lubalaza okutuusa ssaawa 9;00 ogw’ekiro, bwe yennyudde najja nanzigulira n’aηηamba neebake wansi tanjagala mu buliri bwe.

Enkeera yagenze okukola n’akomawo n’obutunda nabukamula nange n’ampa ne ndowooza nti osanga ansonyiye era bwe navudde awo natuukidde mu buliri bwaffe. Bwe yansanzeemu kye yavudde ambuuza nti nkyakola ki mu maka ge ate nga yangoba.

Kye navudde musaba emitwalo gyange abiri gye mubanja naηηamba nti talina wadde ennusu gyagenda kumpa.

Twabiyombeddemu era okukkakkana ng’abadduukirize bantutte ku poliisi y’e Ndejje- Lubugumu.

Nze njagala ampe ssente ze mubanja z’entambula ezintuusa ewaffe oba sikyo ankwate anzizeeyo agambe abakakiiko nti omusajja annemeredde era mukomezaawo.

Wabula bwamala okunkolera ebyo mwegayiridde takomangawo mbu anoona kuba nkooye obuggya bwe n’okunjozesanga obuwale bwe obw’omunda nga ninga atali musajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...