TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga alabudde abasajja abeepikira abakazi mu kisenge-Mumala biseera

Ssenga alabudde abasajja abeepikira abakazi mu kisenge-Mumala biseera

Added 3rd January 2017

Ssenga alabudde abasajja abeepikira abakazi mu kisenge-Mumala biseera

BATABANI bange abeepikira akaboozi mmwe mundeese.

Ye muliyo mutya ennaku zino?

Mwetegekedde mutya okutandika omwaka omupya. Mumanye nti omwaka ogujja gulabise okuba ogwa kaweereege ng‛eddya ly‛obukulu.

Kino kitegeeza nti muteekeddwa okuba abatetenkanya ennyo okusobola okumalako ng‛enjogera y‛ennaku zino bweri.

Naye ng‛ebyo mbitadde ku bbali, njagala okulabula batabani bange abalina omuze gw‛okwepikira abawala. Leero bwe gutuuka ku bano abakyaza olw‛olumu ate ne kiyitirira. Lw‛anaakyaza n‛alya bino n‛alya biri mbu asobole okuzibukula emisuwa.

Olwo ne beekatankira ne bye bataasobole mbu kubanga y‛engeri yokka omuwala gy‛anaamuwuliramu omusera.

Waliwo abatuuka n‛okwegezaamu mu ngeri gy‛anaatandikamu munne nga batuuse mu kisenge.

Bino byonna bya ppa! Wadde waliyo abasajja abaakula ne bawola, naye nga ebitundu ebisinga obunene ggwe ekyo ky‛oyita okumukaabya, abeera akuwaga oyongeremu amaanyi,naye nga tolina kinene kiri awo ky‛omukolako ekiyinza okumukaabya amaziga gennyini.

Era bwe mutuuka ku ntikko, ggwe ogwa eri ekikoowukoowu ye n‛asigala wali oluusi n‛atandika okukutegekera kacaayi; nga ggwe waweddemu dda! Ye olumala okunaaba naddala mazzi agannyogoga nga yazzeewo dda ali katebule.

Kati olwo ku mwembi aba ani yakaabizza munne?

Okuggyako abo abasajja bamulya buto mpozzi be bayinza okukaabya obuwala kuba buba bukyali buto ng‛ebinywa byabwo tebinnatuuka kwegatta, naye omukazi alabye ne ku basajja abawera tolina ngeri gy‛oyinza kumukaabya nga ggwe bw‛olowooza, okuggyako nga takwagala.

Ate batabani bange abakozesa amaanyi amangi mukimanye nti nakyo kikyamu kubanga mukoowa mangu nga bannammwe tebannabaako we batuuse.Ekivaamu kwe kulemwa okutuusa munno ku ntikko, n‛asigala ng‛awankawanka.

Kale ekisinga kwe kuyingira mu kisaawe nga naawe ozze kunyumirwa, so ssi kubonereza ng‛abamu bwe mukitwala. Kubanga laavu buli omu gy‛aba alina okuva ewa munne y‛eba ebatuusizza okwegatta mu kikolwa ky‛akaboozi. Kati ggwe bw‛obiteekamu ebya “anaandaba” obeera n‛ekigendererwa kya kulumya so si kwagala eri munno. Temwepika kubanga era tewali kya maanyi kye muyinza kukyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...