TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kola bino onyweze muganzi wo mu 2017

Kola bino onyweze muganzi wo mu 2017

Added 5th January 2017

Ggwe ayagala okunyweza omwagalwa wo nga tawankawanka mu mwaka guno omupya kola bino;

 Abaagalana bano baabadde mu bbaala ya Amnesia ku kabaga akamu nga beeraga amapenzi.

Abaagalana bano baabadde mu bbaala ya Amnesia ku kabaga akamu nga beeraga amapenzi.

OLINA omwagalwa, wamufuna dda oba omufunidde mu bikujjuko bya mwaka nga guggwaako?

Ggwe ayagala okunyweza omwagalwa wo nga tawankawanka mu mwaka guno omupya kola bino;

1 Omukugu mu kubuulirira abantu Stephen Kato agamba nti embeera y’ensimbi mu ggwanga ennaku zino ya kaweeregge era ebiseera ebisinga abasajja tebatera kukolagana na bakyala oba bawala babakanda ssente buli kiseera wabula beetaaga abakyala abasobola okusoma embeera n’agitambulirako ate n’abeera mugumiikiriza sso si kusigala ng’akanda omusajja ssente mu mbeera eno embi. Kale nno ggwe ayagala okunyweza omusajja wo nga talabankana weewale okumukanda ssente naddala mu biseera bino.

2 Tweyigirize okwetonda awali ensobi n’okweyama obutaddamu nsobi y’emu omulundi omulala ate onywerere ku by’oyogera ne by’olina okukola okusobola obutamenya mutima gwa munno kuba ekyo kye kivaamu okuwankawanka.

3 Olina okweyigiriza okubeera omuyiiya mu mukwano gwammwe ng’otonera munno obulabo n’omulabirira mu ngeri ey’enjawulo, mwogere ku biseera byammwe eby’omu maaso kuba bizzaamu essuubi ate biraga enkulaakulana.

4 Tandika okuteeka mu nkola ebyo byonna by’ozze osuubiza mu mwaka omukadde ate obimuwe mu ngeri ya ‘’surprise’’ munno kimuyambe okwerabira ebibi bye yali yatereka ate n’omukwano gwammwe gudda bupya.

5 Weewale ebintu ebimumalako emirembe n’emikwano egitalina kye gikwongerako naddala mu mukwano gwammwe n’enkulaakulana gyesonyiwe ofune emikwano egibagatta n’okubongerako.

6 Munno muwe obudde obumala ate weewale emboozi eziyinza okutabula omukwano gwammwe nga zinyiiza omwagalwa wo ne kimuleetera n’okunoonyaayo omulala.

7 Fuba obuteerowoozaako wekka wabula ne munno muyiiyize kuba ekyo kimuzzaamu amaanyi n’okwongera okumukakasa nti ddala omufaako era omulowoozaako.

8 Ate Yasin Ssewankambo okuva ku Namasuba College of Commerce awadde abaagalana amagezi okufuba okwerabira ebiyise mu mwaka oguwedde naddala nga bibaddemu okusoowagana n’okuyomba.

9 Bongere okwewa ekitiibwa mu mbeera z’omukwano zonna wadde nga bali mu bantu, mu maka gaabwe, ku mirimu, ne mu makubo mwe bayita, kino kijja kubayambako n’abantu abalala okubawa ekitiibwa ekibagyamu.

10 Abaagalana okweyagaliza nga bo bennyini kikulu nnyo bulijjo ate nga munno okimulaga kubanga kireeta emikisa mu mukwano gwammwe n’okwongera amazima mu bulamu bwammwe kuba omukwano bwe gutyo gutuuka wala.

11 Okwekwasa Katonda mu buli nsonga zonna kuba awatali kuluηηamizibwa kwa Mukama tewabeerawo ddembe na ssanyu mu mukwano n’olwekyo kisaanidde okusembeza Katonda mu mbeera zonna.

12 Okwesigaηηana nga buli omu akuuma ebyama bya munne ng’abaagalana sso si kumwogerako mu bantu nga bw’atanaaba. Kino kijja kuyamba okwewala obuntu obutonotono obwandivuddeko okusowagana kuba buli lwe watabaawo kukuuma byama mu mukwano tegutera kuwangaala.

13 Abakubirizza okwewala obuntu obutonotono obutazimba era obugendererwamu okwonoona omukwano gwammwe naddala nga buva mu bantu ababaliraanye n’essimu ze mukozesa. Ate n’abakyala temukanda basajja bintu bye batasobola kutuukiriza ng’embaga n’okwanjula kuba embeera gye tulimu ya kaweereege.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...