TOP

Isma labirira omusaayi gwo

Added 7th January 2017

TEMUNDABA mubiri guno ne muneesimisa naye ntudde ku maggwa mu bufumbo gye ndi olwa baze gwe nazaalamu omwana obutampa buyambi okumala ebbanga ng’akinnaguka nga bw’ajja okumulabirira ng’atuuse okusoma.

TEMUNDABA mubiri guno ne muneesimisa naye ntudde ku maggwa mu bufumbo gye ndi olwa baze gwe nazaalamu omwana obutampa buyambi okumala ebbanga ng’akinnaguka nga bw’ajja okumulabirira ng’atuuse okusoma.

Kino nnali sisuubira munnange gwe nasooka okuzaalamu omwana kukinkola ssi ku bugambo bwe yansosekanga mu biseera ebyo nga nkyatiba kuba nali kiwala kito ate ekyanywa amata ne kikkutta nga wamma ne bw’oba gwe tebukuleka wamu. Nze Nuruh Najjuma nga mbeera Nkumba-Bufulu ku luguudo lw’e Kasenyi.

Nnina omwana omu ng’agenda kuweza myaka esatu, sikola mbeera waka nga nneesigamye ku ssente za kameeza okuva ewa baze nga bwe ntetenkanya okutandikawo bizinensi eyange kuba sinafuna ntandikwa.

Ebiseera byange ebisinga nga nvubuka nabimalira Mutungo-Kitiko. Eby’okusoma saabigenda wala kuba nakoma mu S4 ne ηηenda mu ttendekero erimu e Lweza gye nnayigira eby’okutunga.

Ebiseera bino nnali nina gye nkola mu dduuka erimu eby’okutunga ne nsooka mbiwummuza. Eno abavubuka bangi baali bamperereza nga n’ab’oku kyalo mwebali olw’endabika yange.

Mu bangi abankwana nasalawo ne mpa Isma omutima gwange kuba nnalabanga atali mu bya kiyaaye nga buli kye neetaaga akimpa.

Ekirungi nali ntandise okutunga nga nfuna ku kasente ke nnayongerezanga ku kabiite wange ze yali ampa era ekyava muno lwali lubuto kyokka ekibi nga nkyabeera mu bazadde bange ekitaali kyangu kuba nali nakaamala okusoma.

Isma yampa obuyambi era ne nzaala omwana ow’obuwala okutuusa kati lw’avuddemu.

Najja e Nkumba ne nfuna ankozesa ku mwalo e Kasenyi nga ntunda bibala era nga bino tusinga kubisuubuza bakubizinga.

Ensasula teyali mbi nga bboosi tatuyisa bubi kuba yali ansuza nga n’omwana wange amulabirira.

Ekiseera kyayitawo ne nfunayo omubeezi omulala kuba nange ndi muntu eyampangula omutima na nneerabiza ennaku ya Isma kuba yankakasa nga bwatalina buzibu kundabirira n’omwana wange.

Tumaze omwaka nga gumu mu laavu era sijjula ku kabiite wange. Awabeera ekirungi n’ekibi we kijjira kale laba laavu y’ono omupya bwe yanziba amaaso ne ndeka omulimu gwange ng’ansuubizza okuntandira eyange mu bwangu.

Wano ewa bboosi navaayo ne njolekera ewa baze okutandika okugatokosa era embeera si mbi naye Isma eby’okuwa omwana obuyambi yabyesamba okuva lwe yafuna olugambo nga bwe nnafumbirwa era nti ajja kumuweerera ng’atuusizza okusoma. Isma naye yafuna omukyala omulala kyokka ansaba omwana wange kye sisobola kukola.

Ekineeraliikiriza mu ddya sirinnamu mwana kyokka waliwo essuubi ly’omusajja okutendewalirwa kuba essanyu teribeerera ng’ayinza n’okuba eky’omwana yakikkiriza lwakuba laavu ekyali nto nga biyinza okukyuka nga tuzadde kuba obuvunaanyizibwa buba bweyongedde.

Isma wadde twayawukana nkusaba ojjukire omusaayi gwo oguwe obuyambi. Nteekateeka kutandika kukola era n’omwana wakutandika okusoma ekitegeeeza nti n’ebyetaago byeyongera nga nneetaaga omukono gwa kitaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...