TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala eyansibisa namusanga yapaala dda n'abasajja abalala

Omuwala eyansibisa namusanga yapaala dda n'abasajja abalala

Added 11th January 2017

omuwala eyansibisa nga bagamba nti yali tanneetuuka, yapaala dda n’abasajja abalala ne kirabika nti bazadde be baali tebamunjagaliza olw’obulemu.

 Ssekamwa

Ssekamwa

NZE Issa Sekamwa omutuuze mu kibuga Luweero ng’era ndi muyimbi. Wadde ndiko obulemu, nsobola ndi musajja mulema naye nga nsobola okwekolera ne mbaawo.

Nnatuuka nga ηηanza omuwala gwe nnalowooza nti yali mukulu era ng’atuuse okwesalirawo kubanga n’ebyokusoma yali yabivaako.

Omukwano gwaffe gwasooka kuba gwa kyama era nga gutambula bulungi nga buli lunaku agera ekiseera n’ajja ankyalirako.

Buli lwe yajjanga ewange nga mmuyimbiramu n’okumutonera obulabo. Wazira kye ssaamanya kwe kuba nti bazadde b’omuwala baali tebamunjagaliza ng’era bafuba okulaba nga batwawukanya.

Olw’okuba omuwala ye yali anjagala, yalemerako era omukwano gwaffe ne gusigala nga gukyatinta.

Bazadde b’omuwala baalaba eky’okutwawukanya kibalemye kwe kusalawo bansibise mu kkomera era tebaalonzalonza ne bantega akatego.

Lumu baalaba omuwala azze okunkyalirako, ne bajja ne batusibira mu nju era ne batandika okukuba enduulu.

Bankwata ne bantwala ku poliisi y’e Luweero ne bansiba era eno gye naggyibwa oluvannyuma ne ntwalibwa mu kkooti ne bansimba mu maaso g’omulamuzi eyansindika ku alimanda mu kkomera ly’e Nakasongola.

Olwo baali banvunaana musango gwa kuganza muwala eyali tanneetuuka ekitaali kituufu.

Ku alimanda nnakulungulayo emyezi musanvu be ddu ng’era ennaku gye nnalaba mu kkomera e Nakasongola ssigirabangako.

Teri kwebaka ng’ate weebaka teweekyusa olw’omujjuzo oguli mu kkomera liri. Ng’ekibonerezo kiweddeko, nnateebwa ne nzira awaka kyokka ng’obulamu bwange bwakosebwa olw’embeera y’ekkomera gye nnali ssimanyidde.

Okuva lwe nnateebwa nkyabuliddwa we ntandikira olw’okuba nnasanga emirimu gyange gigootaanye gyonna.

Naye ekisinga okunnuma kwe kusanga ng’omuwala eyansibisa nga bagamba nti yali tanneetuuka, yapaala dda n’abasajja abalala ne kirabika nti bazadde be baali tebamunjagaliza olw’obulemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...