TOP

Nkooye emiggo gy'omusajja

Added 12th January 2017

Mu mwaka ogw’okubiri, nafuna olubuto n’asooka alulabirira wabula bwe lwaweza emyezi ena, mukyala we omukulu n’akomawo era awo we yankyayira n’atandika okunkuba kyokka nga ndi lubuto.

 Ashaba

Ashaba

BWE nafuna olubuto omusajja nantabukira, mu kifo ky’okundaga omukwano yatandika kunkuba n’okumpisaamu ensambaggere.

Nze Viola Ashaba 20, mbeera Bulaga ku lwe Mityana. Twasiimagana ne Isma Kakande 25 ne tufumbiriganwa era obufumbo tubadde tubumazeemu emyaka esatu.

Entandikwa y’omukwano gwaffe yali nnungi kubanga yandaga okwagala era nga simusuubira nti alituuka ekiseera n’antulugunya.

Namusanga yawasaako omukyala ne baawukana naye saakifaako kuba nnali mmanyi takyalina mukyala mulala okuggyako nze.

Twasooka ne tupangisa ennyumba e Bulaga nga yagisasula era ng’andabirira bulungi.

Mu mwaka ogw’okubiri, nafuna olubuto n’asooka alulabirira wabula bwe lwaweza emyezi ena, mukyala we omukulu n’akomawo era awo we yankyayira n’atandika okunkuba kyokka nga ndi lubuto.

Nasooka ne ngumiikiriza kyokka nalaba takyusaamu ne muloopa ku poliisi wadde nga tewali kye baamukola wadde okumuvunaana.

Olubuto bwe lwali luweza emyezi musanvu, Kakande yandeka mu nju n’agenda abeera ne mukyala mukulu.

Nabonaabona n’olubuto kyokka nga nnina n’okunoonya ssente z’ennyumba kyokka nga lw’aba azze okundabako aleka ankubyekubye.

Ekiseera ky’okuzaala bwe kyatuuka, nze neetwala mu ddwaaliro ne bwe yajja okundaba yali agaanyi okunsasulira ssente z’eddwaaliro era yakubira baganda bange essimu ababeera e Bushenyi be baasindika ssente ezaaziggye mu ddwaaliro.

Wadde nga mmaze okuzaala era embeera yasigala kye kimu kati omwana wa myezi ebiri naye tewali ky’ampa kazibeere ppampa.

Nze ndabirira omwana mu buli kimu ate nga ndiko n’ogwokusasula ennyumba.

Nandibadde nzirayo ewa bazadde bange e Busheyi naye saagala kubamalako mirembe kubanga maama wange yeekaddiyidde era nze mba nnina okumulabirira.

Buli lw’ankubira essimu agamba kimu nti tafaayo ne bw’anzita kuba bazadde bange babeera wala sirina asobola kunnyamba.

Yatuuka n’okwagala okutwala ebintu by’omu nju kyokka bwe nabigaanidde n’akwata enkumbi n’atandika okunkuba katono anzite.

Ensonga nazitutte ku poliisi y’e Bulaga ne bamuggulako omusango ku fayiro nnamba SD 13/10/01/2017 wadde nga poliisi tennamukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...