TOP

Eddiini yannemesa olulenzi

Added 23rd January 2017

NZE Majorine Nandawula mbeera Bwaise. Mbadde n’omusajja gwe njagala okuzaama nga yinginiya mu by’okuzimba.

NZE Majorine Nandawula mbeera Bwaise. Mbadde n’omusajja gwe njagala okuzaama nga yinginiya mu by’okuzimba.

Tumaze emyaka esatu nga twagalana ng’abeera mu maka ge e Busega ate nze nga mbeera ne bazadde bange.

Ekiseera kye tumaze nga twagalana tubadde tulabagana buli we twagalidde ne twesanyusa mu ngeri yonna. Era nga bino byonna mbikola mu bubba ne ηηenda ew’olulenzi lwange luno ne tupepeya n’okweraga amapenzi.

Gye buvuddeko nasalawo okumutwala mu bakadde bange bamulabe basobole okutegeera buli kimu ekyali kigenda mu maaso kuba baali babiwulira mu ηηambo nti nnina omusajja gwe nkukuta naye.

Namusaba okukyala ewaffe ne bazadde bange ne mbategeeza. Kyokka olwali okusimbula, bazadde bange ne bamuηηaana olw’okuba teyali wa ddiini yange anti yali Musiraamu ate nze ndi Mukristaayo.

Olw’okuba omusajja nnali mmwagala okukamala, twasigala twagalana wabula nga buli kimu tukikola mu kwebbirira.

Eby’okufumbirwa omusajja tebyasobola kugenda mu maaso kuba nnali sirina bwe ntenguwa bazadde bange kufumbirwa musajja gwe baηηaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...