TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Myaka ki emituufu omwana afumbirwa gy'alina okuva awaka ? Ssenga annyonnyodde

Myaka ki emituufu omwana afumbirwa gy'alina okuva awaka ? Ssenga annyonnyodde

Added 24th January 2017

Myaka ki emituufu omwana afumbirwa gy'alina okuva awaka ? Ssenga annyonnyodde

 Omukyala ng'annyonnyola

Omukyala ng'annyonnyola

NAZZIKUNO bwabeeranga buvunaanyibwa bwa bazadde okunoonyeza omwana omuwala omusajja ow’okufumbirwa olwo naalyoka ava awaka mu kitiibwa nga taswazizza luggya mw’ava.

Ate abalenzi nabo baabalabiranga abawala be bayinza okuwasa wabula bano baabeeranga wakati w’emyaka 20 ne 25. Wabula kati ebintu bikyuse n’abazadde tebakyayinza kufunira baana baabwe baagalwa nga bwe kyali.

Ennaku zino omwana ye yeenoonyeza munne era ne basiimagana. Ekiseera bwe kituuka n’amuleeta n’amwanjulira bazadde be nga kino kireetedde bangi okuva mu bakadde baabwe nga bakulidde ddala.

Kansala Mulshid Kizito ow’e Kajjansi Kansala, Petra Kabuuza okuva e Kawempe ku Medik Medical Centre, Kansala Josephine Lydia Birungi okuva mu Youth Community Health Counseling Initiative Uganda bagamba nti embeera eno etunuulirwa mu biti bibiri omuli abaana abasoma n’abo abatasoma.

Omwana omuyivu yandivudde mu maka ga bakadde be ng’ali mu myaka 24 – 25 omuwala era ng’agenda mu bufumbo. Ate atasoma emyaka 18 -20 abeera asobolera ddala okufumbirwa okusinziira ku konsititusoni ya Uganda.

Oba okunoonya omulimu n’akola nga tali mu maka ga bakadde be. Ate omulenzi emyaka 24 -27 alina okuba nga yava dda mu maka g’abakadde be kuba ku myaka egyo abeera yakula dda wadde ng’asoma ate atasoma emyaka 23 asobola okufuna munne ne beekulaakulanya.

Muky. Mukasa Scolastika Nakiwala omukugu mukubudaabuda abakyala n’abaana abawala agamba abaana bangi ensangi zino balwira ddala mu maka ga bazadde baabwe olw’ebbula ly’emirimu ssaako ensi yaffe etali ntebenkevu era si kyangu muzadde kuwaayo mwana we nga tamaze kwetegereza gy’agenda nti olwokuba akuze.

Kya buvunaanyizibwa omuzadde okumanya omwana we gy’enda aleme kumwewanisa mutima. Ey’emyaka si kikulu kuba waliwo n’abava mu maka ga bazadde baabwe ku myaka 28.

EBIZIBU BY’OMWANA OKULWA AWAKA

1 Nakiwala agamba nti omwana okulwa awaka si kirungi kuba avumaganya bazadde be naddala nnyina era abatuuze ne batuuka n’okunaawuuza bye batamanyi ng’okugeraageranya emyaka nnyina kwe yafumbirirwa.

2 Okufuna entalo wakati we ne bazadde be anti nga buli muntu gw’aleeta bamulengezza n’ekivaamu mwana kwekyawa n’asalawo okukola bibye.

3 Okumuzaalamu abaana ku luggya ate ng’abasajja bwebadduka. 4 Okuwanyisiganya abasajja oba okwagala abasajja b’oku kyalo kumpi kubamalaayo.

5 Okugattika abaana mu basajja ab’enjawulo. 6 Obutaweebwa kitiibwa ku kyalo anti nga buli omu ky’ayagala ky’amuyita saako n’obakazaako ebinyannya.

7 Okuzaala abatamanyiddwaako bakitaabwe kuba abasinga beegaana abaana.

8 Okubeera nga be bamaama ate era be bataata abasajja bbo bakoma ku kya kubatikka mbuto ebisigadde bibeera bya bamaama.

9 Si kyangu baana bawala baludde waka kufuna basajja balina ssente era ebiseera ebisinga bafumbirwa balimi be bakuze nabo ku kyalo.

EKIREMESA ABAANA OKUVA AWAKA

1 Kino kitera kusangibwa mu bazadde be naddala omukyala nga ye yeekulizza omwana we. Bano baba bavumirira abasajja mu ngeri ez’enjawulo nga kino kitiisa abaana okuva awaka.

2 Abazadde abakuza abaana nga babalaga nti byonna bye bakoze byabwe, abaana ab’ekika kino kiba kizibu okuva mu maka ga bakadde baabwe okwetongola kuba balina eby’obugagga ebisikira.

3 Abazadde bamufuna mpola nabo balemesezza abaana baabwe okuva awaka ng’omwana buli lw’akirowoozaako, maama asula mweraliikirivu kuba akassente ak’okulya abadde akaggya ku mwana we bwatyo omwana n’alemera awaka kuba maama talina wakumulabirira ate ng’alina abasajja abasobola okumuwasa naye nga maama y’alemesa.

4 Abazadde abaagala ebingi okuva mu bawala baabwe nga buli musajja ajja okumuwasa basooka kumunoonyerezaako oba mugagga baviiriddeko abaana baabwe okudiba.

5 Mulimu n’abazadde abatakkiriza nti omwana akuze nga buli kiseera amulaba ng’omuto so ng’akaddiyira ku luggya.

Ate Counselor Josephine Lydiah Birungi okuva Youth and Community Health Initiative Uganda agamba nti okulungamizibwa kw’omwana kuviira ddala buto kasita

Eno y’ensonga lwaki abaana bamanyi okugamba nti bwe nnakula njagala mbeere bwenti. Kino kiba kitegeeza nti omuntu oyo amusanyusa na bwekityo abazadde bakimanye nti omwana alina okubuulirirwa ng’akyali muto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Achile (owookubiri ku kkono) ng’ayogera eri bannamawulire. Asooka ku kkono ye Kyomya ate owookubiri ku ddyo ye Mandera Nsubuga.

Aba NRM basabye poliisi obu...

ABAKULEMBEZE b'abavubuka mu kibiina kya NRM mu ggwanga bawanjagidde poliisi okukomya omuze ogw'okulemesanga Robert...

Bp. Lwanga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Nakaggwa. Mu ggomesi wakati ye Zziwa.

Bp. Lwanga avumiridde abeek...

SSAABASUMBA Dr. CyprianKizito Lwanga avumiridde abantu abeekalakaasa ekivaako okulumya abalala n'ategeeza nti balumya...

Bobi Wine ne Dan Magic mu ddwaaliro.

Omukuumi wa Bobi Wine ne Pu...

Pulezidenti w'ekibiina kya NUP alidde kkava ekintu ekibadde ng'esasi bwe kimuyise ku mutwe. Mu kiseera kino abadde...

Ivan Boogere

Yusuf Babu owa COBAP ng'atw...

Mu Afrika U20 Uganda 3-1 Kenya GGOOLO za Ivan Bogere (2) ne Kenneth Semakula zaayambye The Hippos okwesogga...

Yusuf Babu owa COBAP ng'atwalira Paul Kayondo (Lukanga) eng'uumi.

Liigi y'ebikonde ejulidde

EKIBIINA ekitwala omuzannyo gw'ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisazizzaamu liigi yaakyo....